Entandikwa


Empiisa z’Abakristaayo Abakola Obulungi Ennyo

Entandikwa


Nga  20 omwezi ogw’ekuminogumu (Musenene) 1999,  kumyaka 55, naddukiira mu paka zemiside omuludi  gwage ogusooka ne mmaliriza mu ssaawa 3 neddakiika 56, nobutikitiki 23. Omutegesi w’ emiside gino yategeza nti kyali kirungi, naye amangu ango nammanya nti nnalina okuggyako eddakiika 21 singa njagala okuyitamu  okuba kulukalala lw’abagenda okuddukiira mu miside gya Boston marathon. Namanya nga, abantu abasinga obungi bwebamanya, nti waliwo empaka ennene ez’ etutumu mu Boston. Naye saamanya nti ekizifula okuba ez’omuwedo ennyo okuziddukiramu olina kuba ng'oli kwabo abayisemu okuva mumiside emirala  — abali mutuluba ly’emyaka gyange,  balina  okuddukiira wansi we ssaawa 3 n’eddakiika 35. Ng’emyezi giyita, obude bwange bwezirukiiramu bweyogera okuba oburungi era mu miside gyange egy’omuludi ogw’omukaaga mwenayitiramu okuba kwabo abasobola okugenda ku mutedera ogudako. Awo weki eyadako nenewadiisa mu gya Boston.


Nze ne mukyala wange Char twagenda e Boston ku wiikendi nga 15 omwezi ogwokuna (muzigo) 2001, ku nnyonyi eyali kupi ng’ejjudde  badusi nga bambadde obutisati okuva mu mpaka ez’enjawulo. Twali basanyufu nga tetunnatuuka na mu kibuga kya Boston. Okutwala ebikozesebwa  mukuduka okufuna T-shirt ya Boston marathon 2001, n’okugula kabuti (jaketi) entongole ey’omwaka ogwo, kyayongera okukyamula. Mumakya ngabalaza (mande)16 omwezi ogwokuna— lunaku lwa kujukira menunula g’ America, “Patriotic’s day Massachusetts,” amangu ago  neneyuga buterevu kubadusi  abalala 15,605  okulinya bbasi ezitutwala mu byalo emiside wegyali girina okutandiikira. Mu kyalo kyebayita Athlettes,  twatuula ne tulindirira. Enyonyi ekika kya herikopita nga zibukira mubbanga nga kuliko banamawulire abali bakwata era nga bawereza buterevu ebyali bigenda mumaso, ne F-15 bbiri nga ziyitamu emirundi ebiri; - bananawulire ku TV  ngabalaga  ebigenda mumaso mubifo eby’enjawulo ku luguudo lw’empaka obuwanvu bwa mayiro 26.219; kamera za TV zaali zirabika akaserakona, era esanyu nga liri mu bire. Okutegekera  ekumi n’ekumi zabali benyigide mu mizanyo, abaddusi  bateekebwa mu bibinja bya lukumi lukumi nga zitegekedwa, era nga asinga okuduka aseberede layini gyebatadiikirako okuduka mumpaka. Ennamba yange yali 9259, ekitegeeza nti nateekebwa mu kibijja 13, oluvanyuma lwokubwatuka kwemudu esibula emiside, esawayage netadiika okubala — olwo akuma  akali ku kigere kyange ekya ddyo nekalaga nti omuddusi  9259 atandiise okuduka.


Mayiro ebbiri ezasooka tezalimbi naye nga zakwenyigiriza olw’abantu abangi, naye bwe twatuuka ku mayiro esatu ne tutandiika okudduka nga tetwenyigiriza nnyo. Naali saamanya nti waliwo ebintu bingi  ebiyinza okuzizamu amanyi  ku buusozi ne mu mayiro zonna. Okusiima n’okukuba engalo okw’abawagizi abasoba mu 500,000 mu mayiro zonna 26, kamera, ne zibadi ezikuba kon’ebibiina by’amaloboozi, abaana n’abantu abakulu ku masudiro g’amazzi byonna byali bimu ku lugero. Okwo gatako, n’ebyambalo by’abaddusi ebitobekedwa mu langi etabuletabule ezisikiriza okzama, n’okusiima okw’abawagizi abamanyi engoye zange ez’Oral Roberts University (ORU). Ne Char ne mikwano gyaffe mu Boston banjagulizanga mu mayiro 9, 19, ne 25. Okulekaniira wagulu okw’abayizzi abawala ku ssomero lya Wellesley College nga twakadukiira kumpi ekitudutudu ku misinde  n’abantu abakunjaganye mu mayiro ebbiri ezisembayo, kyasomoza okuwulira nga nina okumalako. Bino byonna byanyamba okugumya obulumi mu magulu, mu kifuba, ne mu mikono — obulumi obutera okujja n’okudduka mumiside ngagino.


Nnali nzannyiddeko mumizannyo gy’eseero (basketball ) ku yunivasite era eno nawulirako empulira eyenjawulo ekusidikiiriza okukola ekisinga. Ku lunaku lw’embaga yaffe ey’obufumbo, nnali musanyufu olunaku lwona era nekaaba n’amaziga agesanyu bwe nnalaba Char nga atambula mu lukubo lwekanisa nga mukodomi wange John amukute kumukono. Nnalina epulira eyejawulo  kulunaku lwange olwamatikira olwasooka  ku yunivasite, ne ku mikolo gyonna egy’okusoma kw’abaana baffe bwe baamaliriza ku Air Force Academy ne ku ORU.  Bwova kwesoka nanyonyola mu Ssuula 5 ne 6 mu kitabo kino, mbade n’ebiseera ebinyuvu ebiwerako ate nga byasanyu era nga bijude omukwano ogwebuziba Nekatonda. Naye nali simanyi nti okudduka emiside kwokka kusobola okuwa mu nsi eno esanyu noba ng’ali muggulu.


Naye kiyinza kitya empaka okukwata omuntu bwe zityo? Emyezi gyenamala nga nekubiriza okukola duyiyo wamu nokuteekateeka omubiri gwange muberra egusobozesa okuvuganya, era kati nali mpisewo. Bwe nnalina emyaaka 5 ne 6, nalwala omusujja gwe nyingo (rheumatic fever) ne ngalamiira ku kitanda nga sisobola kutambula. Naye oluvannyuma lw’emyaka 50, nga nnina emyaka 56, n’abantu abasoba mu 15,000 a balungi ennyo mukuduka emiside munsi, nadduka mayiro ne mayiro ne ninya ku buusozi, nengasibagaaa n’epewo, ne mpulira kyekitegeza okudukiira mu misinde gya Boston Marathon.

Era kati ntegeera bulungi ebyawadiikibwa mu Abebulaniya 12:1. “… kubanga twetwolodwa nekire ekyabajulirwa, katukasuke buli kintu kyona ekitulobera … era tudduke n’okugumiikiriza empaka Katonda z’atuteerawo.” Olunaku lujja Katonda lwa litutwala “mu maaso ge ag’ekitiibwa nga waliwo okuduumira okw’amaanyi okw’esanyu elitaggwaawo” (Yuda 24 okuva mu Living Bible). Amazima gano gampa ensonga enuugi okwagala okuddukiira mu mpaka za Katonda bulugi nawe – kubanga ebipimo binene era empeera egenda okuweebwa siyakaseera katono. Olina amaanyi okunjaguriza, era nange nnina obusobozi okukolera kyekimu.


Abantu  mu Boston bwebaba nga balina obusobozi okuzamu amanyi, kaakati ddala kigwaniira buli sekinoomu kuffe okutwala akaseera nekirowozo okwezamu ffena amannyi ne “tugumye omu ku mulala era n’okuzimbagana ” (1 Abessaloniika 5:11). Okuzibwamu amanyi okuva mubantu ng’oduka kyekifula emiside eminyuvu ennyo bwogerageranya nakasera akawavu akobuwubavu ng’oduka weka okweteegekera empaka (duyiro)  “Abalezi ba Atta! Mugede mumaso nomulimu omulungi nga mulabiika bulungi! Mukuume emirembe! Mumalirize mumaanyi! Olikupi okutuuka! Osobola okukikola! gano gemalobozi gepulira mu bantu nabadusi mu mpaka ez’emiside. Gasana ne mu mpaka ezemiside  gya Katonda.Nkwaniiriza mu kusoma kuno okusobole okusomoza okuyita mu kigambo kya Katonda okutandiikawo empisa ezikuyamba okudduka empaka zo ez’omwoyo mugeli ekugatako n’okumaliriza obulungi. Osobola okukikola!


Omulembe gwaffe guli kitundu  era ekiseera ekimu guteeberezebwa okuba empaka zemiside. Abasajja n’abakazi abagezi baabaddewo mu biseera ebyayita era tusobola okuyiga bingi okuva mu byawandiikibwa byabwe. Nga C. S. Lewis agamba mu God in the Dock, “Buli mulembe gulina efanana yaagwo. Kirungi okulaba amazima agamu ate era kisoboka okukola esobi ezimu. Noolwekyo, ffenna twetaaga ebitabo ebinakozesebwa mu kutereza esobi ezija nembala mubisera byaffe. Era ebyo byebitabo eby’edda.” Enkola eno ekola okusuka ku buwangwa obw’ekifo oba ekitudu ekimu. Tuli mu maka amanene agagata’ensi ezenjawulo mu buwangwa era tusobola okuyiga bingi okuva ku balala. Okubeera mu mawanga agali ebweru we gwanga lyange , gye namalira emyaka gyange egy’obukulu  yegeri yokufukamu owedembe okuva mundaba eyobuwangwa bwaffe eyokumpi. Nayiga bingi okuva mu Bakanada, Abakorea, n’aba chaina mu myaka 23 gye namala mu mawanga gaabwe. Nga n’abantu ab’emirembe  emirala, abantu abobuwagwa obwenjawulo bakyakola ensobi, naye nga sizezimu. Ebirowozobyange nga bimaze okugezesebwa  mu mbeera mu ntegeka y’obuwangwa eyenjawulo kimpa endaba eyejawulo okufuna ebintu bingi eby’okulondamu. Kimpaliriza okulowooza okusuka ebweru w’ennono gye mbeeramu nga njolekedde endowooza erina omugaso ogw’amagezi. Empisa zetugenda okusoma wano tezikoma zetolola amawanga gona — ze mpisa za Bayibuli. Nkwaniriza okulabulula wamu nange mu kunoonyereza ku mazima ga Bukristaayo, nga tetulemesedwa nabuwagwa bwona obwo munsi.


Abakorea n’Aba Chaina bombi balina olugero ku kikere ekiri mu luzzi — ekikere kirowooza nti ensi yonna efaanana ng’oluzzi lw’akyo. Ffenna tuli ng’ekikere ekiri muluzzi okutuusa lwe tulitadiika okugolokoka mu ndowooza zaffe olw’ebiteeso, embeera z’obulamu, n’obumanyirivu obuva ebweru w’oluzzi lwaffe. Empisa ezinyonyoledwa mu kunoonyereza kuno si mpya, ng’okwetegereza ku lukalala lw’emitwe egyiri mu kitabo kino kukakasa, naye engeri gye ziyitirwamu etuwa obutegeevu obupya ku musingi gwa Bayibuli ogutakoma.


Bingi ku biteeso bya Bayibuli bino nabifuna okuva kumuntu omulala. Nneebaza nnyo ba pulofeesa, abawandiisi, n’abayigiriza mu misomo n’amasomero. Bwe kiba kisoboka, mbalaga ensibuko y’eby’amagezi ebyo. Kasubire nti abayigiriza bange bakkiriza engeri gye nkozesaamu ebiteeso byabwe. Nga mukyala wange Char okyamutade ebali, batabani baffe Dan, Joel, bapulofeesa n’abawandiisi be njogerako, amannya amalala agali mu kunoonyereza kuno gabulimba. Mu byafaayo by’obulamu bye nkozesa okulaga emisingi gya Bayibuli, ekigendererwa kyange kutegeeza butya bwetusobola okuyiga ekola za Bayibuli n’obumanyirivu mu bulamu bwaffe obwabuligyo,  so si kusonga ku kubunafu obwabalala.


Buli musomi wanjawulo. Empisa ezimu ziyinza okukusikiriza okusinga endala. Waliwo okutambula okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, era waliwo n’okuyunga mu buli ssuula. Naye bw’oba oyagala, osobola okulonda ebitundu ebisinga okunyumira. Naye abasomi abasinga bagya kwagala okutandiikira kussuula esooka. Osobola n’okukozesa ekitabo eky’enkola (empisa ezigatako Omukulisitayo okulungamya mukusoma Bayibuli (Habits of Highly Effective Christians Bible Study Guide) ng’osoma buli ssuula bw’oba oyagala okukuza enkozesa yo. Bw’okyusa olupapula luno n’otandiika okusoma, ojja kweyongera okukula mu mpisa z’Abakristaayo abasinga okukola obulungi.