EMPIISA ESOKA: Yiga Okuva mu Bintu by’Oyitamu


Empiisa z’Abakristaayo Abakola Obulungi Ennyo

“Katonda ayogera — mu ngeri emu, oba endala — newakubade omuntu ayinza obutakitegeera.”

                                               Yobu 33:14


Omukristaayo ayize  okuyigira  mu byayita bye, aba atandise ku lugendo olutakoma olw’okukula, ayawulibwa n’ebibala ebyeyoongera mu bulamu bwe n’omugaso gwe eri abo abamwetoolodde. Katonda abade mu mulimu gw’okukulakulanya a batabani ne bawala be emyaka mingi nga tetunnalowooza n’akatono ku “kukuza abakulembeze.” Mu kukola kino, akozesezza  okuyita mu bintu ebirala bingi, ebyayita byabuli muntu, Wano tulowooza ku munze ogw’okuyigira okuva mu byayita byaffe.


Katonda ayogera gyetuli mugeri nyingi nga bwe kirambikidwa mulunyiri wagulu kumuko gw’olupapula luno. Byojja okusanga kumiko gy’epapula egidako y'engeri emu kwezo esuffu ennyo Katonda gyayogeramu – ddala ddala zitukulakulanya – okuyita mwebyo byetuyitamu bulinjo. Tusobola okuba nga tusubidwa emisomo gyaffe egy’omugaso kubanga tulemeredwa okuteegera kino. Ekitu ekirabikang’ekitalimu oba “ekigwakitalaze” mu bulamu bwetuyitamu kisobola okuba esibuko y’okukula kwaffe mu byafayo by’obulamu bwaffe.


Obutuufu bwebyo byetuyitamu bulijo 


Katonda nesanyu lingi ayogera okuyita mu Bayibuli mu ngero ne mumisomo gyayo naye ekitudutudu kyayo ekisinga kyasiziirwa kubulamu obwabulinjo obwebyo abantu bye bayitamu. Okwolesebwa kwa Katonda okuyita mu mboozi eziri mu Bayibuli zikakasa nti okuyigira mu ebyo byetuyitamu bulijo y’engeri enungamu ey’okutegeera ebifa ku Katonda wamu naffe. Eky’okutwala nga kikulu, engigirinza eyo eya Bayibuli ekwata ku kuyigira ku ebyo byetuyitamu bulijo, kintu kyamugaso nnyo  ekituyamba okunyonyola  ebyayita byaffe.  


Abakristaayo abamu, tukitegere nti basussa esira okuliteeka mu kukkatiriza  kubyebayitamu. Nga bajja emboozi  mu byafaayo byabwe, bakozesa Bayibuli mu ngeri etali ntuufu okukakasa ebyo bye balowooza nti ebyayita byabwe byebyabayigiriza. Bakozesa byebayitamu okunyonyola ebyawadiikibwa mu kifo ky’okukozesa ebyawadiikibwa okunyonyola byebayitamu. Abalala, nga bagezaako mu ngeri entuufu obutafula kukkiriza kw’Abakristaayo birubirilwa byoka nga besigama ku byebayitamu bulijo byokka, bagaanye okukankana okusoma engeri Katonda gy’atukulakulanyizaamu okuyita mu byetuyitamu. Kyoka nga Ekyawandiikibwa kitugamba “tulowooze” ku byayita by’abantu:

“Mujjukire abakulembeze bammwe abayogera Ekigambo kya Katonda gyemuli. Mutunuulire enkomerero y’obulamu bwabwe, mulowooze kwebyo ebiva mutabula z’obulamu bwabwe mukope okukiriza kwabwe” (Abebbulaniya 13:7 – akatiiriza esonga yange).


N’olwekyo si bulamu bw’abantu abawandiikibwa mu Bayibuli bokka, naye n’obulamu bw’abantu bonna buyinza okuba ensibuko y’okuyiga ku ngeri Katonda gy’akolaganamu naffe. N’olwekyo, okutegeera engeri y’okuyigira mu byayitabyo, oba eby’omuntu yena omulala  bifuka sayansi owesonga, omulimu gw’okunoonyereza ogulina esonga eyesimba n’eby’omutima gw’omutu. Abamu ku ffe tuyinza okwetaaga okukubirizibwa okuyiga okuva mu bulamu bw’abantu abalala — twetaaga okuwuliriza obulungi oba okusoma ebisingawo. Abalala bayinza okuba nga bali kuteebukye mugeri endala— bayagala okuyiga okuva mu byayita by’abantu abalala, naye nebatasobola kukimanya  nti n’ebyafayo byaffe, n’emu kiseera kye tubamu, byebimu ku bikozesebwa Katonda by’ayigiriza nabyo. Mu ssuula eno n’ezo eziddirira, ojja kusoma ebyafaayo byange ebimu ebiraga engeri gye nayigira mu byayita byange, nawe osobola okuyigira mu bibyo.


Bwe tuba twogera ku kuyiga okuva mu byetuyitamu, tetwogera ku ebyo bye tuyiga nga tufumitiriza ku byayita byokka, wadde ng’okuyiga okuva mu byetuyitamu kuteekwa okwetooloola mukuyigira okuva mu nsobi zaffe ezayita. Era kitegeeza n’okubeera n’obwerinde ku ebyo Katonda by’ayogera mu kiseera kyennyini eky’ebyayita byo. Bwoba osobola okuba kubwelinde bw’ekyukakyuka eno eyomuguddu, ojja kuba n’obusobozi obusingawo kubwabo abayigira ku byebayitamu  byokka oluvanyuma olwebibasomoza nga biwede. Okuyiga okubuuza era n’okuba nokwagala okubuuza nti, “Mukama, kiki ky’ogezaako okungigiriza okuyita mu bino byepitamu bye ndimu mu kiseera kino?” kibeera kyakugezesa ekikulu nera ekiyigiriza empisa. Okuyiga engeri enungamu ey’okubuuzamu ekibuuzo ekyo kyekiri, mu mazima, kyekirubirirwa ky’esula eno.


Enkyukakyuka mu Nndowooza Yaffe


Bwe tuba nga tutegeera nti Katonda atuyigiriza bulijjo, endowooza yaffe ekyukirawo yoka. Tutandika okunoonya ekigendererwa kya Katonda mu buli kintu, nga tuyiga nti mu kwemalirira kwa Katonda mu buli kiseera asobola okutulaga ekisinga obulungi kye tutandikirako okusinziira ku mbeera eziri mu nkulaakulana. Ye musomesa ow’ekika eky’awaggulu, era “amasomo” — embeera ezirina okubaawo okwetooloola obulamu bwaffe — asobola okugakozesa mu bukugu okutukulakulanya buli omu ku ffe. Bwe tuyita mu biseera, tutandika okulaba n’ekolagana eyeyongera wakati w’amasomo Katonda geyatuyigiriza edda, ago gatuyigiriza kati, n’essuubi lyaffe ku ngeri Katonda gy’anaatutendekeramu era gy’anaatukulakulanyizamu mu maaso.

Enkola eno ey’okuyiga ebaawo kubanga Katonda y’agitandika era ffe tuddamu okwanukula. Bwatuyita okudda gyali neri obuwerezaabwe, atuyita mu muberra ey’eremye n’ekigendererwa ekya waggulu eky’okutukulakulanya okutuuka ku byonna by’amanyi nti tusobola okuba. N’olwekyo, emirundi mingi tufuuka ebisinga bye twalowooza nti tusobola. Mu kiseera kye kimu, ebigendererwa bye eri ffe biba bigobererwa n’obusobozi bwaffe obwa nnamaddala, ekituyamba okutadiika obulamu obutalimu kweyononnesa namasanyu g’ensi sako nebirubirirwa ebikomekerera nga bituyiye (tebivamu bye twabisubiramu).


 N’obusobozi obutono, tusobola mpola mpola okukigederera ne tukiiriza okutendekebwa okuva eri Katonda era oluvannyuma netufuuka abantu abateeketeeke n’okuyamba abalala okuyiga engeri y’okufuna okutendekebwa okwo. Abakristaayo abakola obulungi bwe baba nga bayita mu nkola ya Katonda ey’okutukulakulanya ey’olubeerera, basobola okufuna obusobozi obusingawo okuyamba abalala nabo okukula mu busobozi bwabwe. Tuyiga okutegeera Abakristaayo abato Katonda mw’atandika enkola eno. Mu mazima, kaba kabonero  ak’omukristaayo akuze owekikula ky’omusajja ob’omukazi asobola okuteegera Katonda gwalonda era gwateekateeka nayongera obwagu mukukulakulanakwe.

Nakyusa endowooza yange ku kuyiga okuva mu byetuyitamu bulijo emyaka egisukka 20 egyayita, mu ssomero lya diguli ey’okubiri, mu ssomero lya Robert Clinton erya Leadership Perspectives. Ebimu ku birowoozo ebyogerwako wano nabiyigira mu kiseera ekyo. Bw’oba oyagala okumanya ebisingawo ku nsonga eno, nkusaba osome ekitabo kye ekiyitibwa The Making of a Leader(Okukola Omukulebeze). Okuva lwe nayiga ebintu bino, sikyasobola kwemulugunya lwa mbeera zange. Kati nnina okuzisunsula n’okwekenneenya kye nnyinza okuyigira muzo. Kino kinnyamba okukwata ku buzibu mu ngeri ey’amagezi mu kifo ky’okukwata ku zo mu ngeri jeziba gize. Mu ngeri y’okweyigiriza okubuza bulijjo, “Kiki kye nteekwa okuyigira mu kino?” nemulugunya kitono era ne nnyongera okuyiga.


Enkomerero Y’Erina Obukulu


Oluusi twekubagiza ku “bunafu” bwaffe nga sekinoomu  era ne twejusa okutadiika empaka zaffe “emisinde” mubunafu. Waliwo ebintu bibiri ebikulu ebitali bituufu mu kulowooza okwo okw’okwekubagiza. Ekisooka, Katonda yali alaba ku mbeera ey'obulumu bwe twazaalibwamu n’embeera z’amaka mwetwakulira, era yali akola ekigendererwa kye eky’obwakatonda ne mu mbeera ezo. Katonda ye Katonda, so si muntu, eyateeka “… ebiseera by’abantu bye baateekebwamu n’ebifo byennyini gye baalina okubeera” (Ebikolwa 17:26). Embeera gye twazaalibwamu n’amaka mwe twazaalibwa nabyo bimu ku nkola y’okukula okw’obuntu Katonda gye yateekateeka buli omu ku ffe. Bwe twemulugunya ku “bubi” obuva ku mbeera gye twazaalibwamu, tuba tugaana amaanyi ga Katonda okukola mu mbeera eyo —  tuneenya Katonda. Bwe tuba nga tukozesa bulungi embeera yaffe, erimu emikisa Katonda gye yatugerekera.


Ekyokubiri, engeri gye tutandikiramu emisinde si ya mugaso nnyo ng’engeri gye tugimalirizamu. Mu nnyanjula, nnayogera nti nga nnina emyaka 55, naadduka emiside gyange egisooka. Okuva olwo zirusse n’emilara 29 okuv’olwo. Mu misinde gyonna, mu mayiro nga kkumi ezisooka, nnatera okuyisibwa omutu omu n’omulala. Emisinde gyange egy'omuludi ogwo kusatu gwali Andy Payne Memorial Marathon — emirundi esatu okwetooloola Ennyanja eyitibwa Overholser ku bugwanjuba bw’ekibuga Oklahoma. Emisinde gyatandiikira mu nkuba entonotono ku ssaawa kuminemu n’ekitundu ez’okumakya era ne zikomekerezebwa mu kasana perekekya ak’omwezi gw’okutaano (Muzigo). Ku mayiro 20, natandika okubala abo abali bapiseko nabameka benali pisiza. Ekyanewunyisa, tewali n’omu yapisa, naye atenze nayisa abaddusi 21, abasinga kubbo nga bato okusinga. Wali owulideko nti emiside gitandikira ku mayiro 20? Nzijukira bulugi nnyo nga ndowooza ku bukulu bw’okumaliriza emisinde, nga negamba mu mayiro mukaga n’ekimukyakubiri kuzimayiro nga mpita ku badusi abalala, “esonga lwaki netedeka, nsobole okukola bino.” Nalekerawo okuwulira nga nina okwetoda buli lwe nayitanga ku muntu ne ntandika kusanyukira kuyisa abaddusi abalala — okuwangula mumpaka zemiside ng'obudde buyise — newakubade mubulumi. Naliwakifo kyakubiri mu kibinja ky’abantu ab’emyaka gyange, n’essaawa yange esinga obulungi okutuusa olwo — ssaawa 3, eddakiika 43 n’obutikitiki  15 (eddakiika 8 n’obutikitiki  31 mubuli mayiro). Ekisinga ku nsonga yange, omwaka ogwaddirira, naawangula ekifo ekisooka mu kibinja ky’emyaka gyange mu mumiside jejimu enjo. Nnaayisa omusajja eyali mu kifo ekyokubiri mu buwavu bwa bifuba 200 obusembayo! Nkakasa nti kya nnaku okuyisibwa abantu abangi mu kitundu ekisooka eky’emisinde, naye ne bwe mba n’omubiri ogukooye n’ebinywa ebisiwa, waliwo essanyu mu mutima gwange okumaliriza obulungi. Empaka zaffe ngaba nga (emiside) gy’obulamu bwaffe ng’Abakristaayo abakula gifaanana nnyo ng’ejjo. Bwe tuyiga okugumiikiriza, tusobola okumala obulungi, ne bwe tuba nga tetwatandika bulungi.

Ku Mount Vernon Bible College, nnali n’omusomi munnaange nga wakiruyi mukusaba. Nze ne mukyala wange Char twamumanya bulungi ye ne mukyala we. Char ne mukyala we baali bamikwano okuva mu buto ne mu myaka gyebiseera by’essomero lya Bayibuli. Char yatambula nabo mu lukungaana lw’abavubuka mu biseera bya kasana perekekya omuludi gumu nga ayimba era nga awereza nabo. Oluvannyuma, mu myaka gyaffe egyasooka mu Korea, nze ne Char twakola nga tuli wansi w’obukulembeze bwe. Yali wa magezi mangi era emirundi mingi nnamwewuunyanga mungeri gye yayogeramu n’engeri gye yakwatangamu abantu. Naye oluvanyuma lwemyaka nokutusa lero bayawukanada ne mukyala we era oluvannyuma lw’ebbangga ttono naawasa omukyala omulala omugagga ng’amusinga emyaka 30. Teyava ku mukyala we kuwasa mukyala mugagga, naye okwawukana nemukyalawe nawasa omuntu amusinga emyaka emingi mungeri embi kyakosa nnyo obuvunaanyizibwabwe ng’omukulembeze era Omukristaayo omulungi. Nnyolwa nnyo kulw’obusobozibwe obwabulawo mu kuweereza kwe okwomugaso eri Katonda. Okufuna emikisa gy’ebintu okuva eri Katonda si kibi, naye okukozesa embeera mu kugoberera eby’ensimbi tekimuteeka mu mbeera ya kumaliriza bulungi. Yadduka bulungi mu kitundu ekisooka eky’emusinde — singa kale yalemezaamu namaliriza bulungi.


Mungeri endala, abasinga ku ffe twekanyiza Abakristaayo abamaanyi era  a kaseera  nga bakola bulugi nnyo. Abeyoogera okukula nemubulamu obwekikadde. Emyoyo gyabwe gyamaanyi, era nga babuulizzi mu kibinja kino, okubulira kwabwe bugagga. Okuwuliriza  omuntu owegering eyo era nga mulwanyi akyakula liba sanyu lingi nnyo; bogera nokumanya okwemyaka emiji okujude obugaga bwokumanya. Tujaguza nti tebaleked’awo kukula era ebyokulabirako byabwe bituzamu amanyi naffe okumamliriza obulungi.


Waliwo abantu bangi abalabika nga balina ebirungi ebisingawo okutusinga ku ntandikwa y’emisinde gyaffe. Ffenna tusobola okulowooza ku byokulabirako. bakizibwe bange baalina ebirungi bye nneyagalinzanga nze okuba nabyo: okusoma okulungi, ensimbi eziwera, enkolagana ennungi, era nga balabika nga balina ebirabo eby’obuntu ebisingawo. Tobifangako ebyo. Bwe tweteekateeka mu birowozo byaffe okumala obulungi, tujja kulaba byetuyisemu mubulamu bwaffe ng’emikisa gy’okuyiga era ne tudduka bulungi n’okusingawo buli mwaka oguyita.


Enkulaakulana n’okuweereza okw’ebbanga eddene biva mwekyo kyetuli. Tuteekwa okukuuma obwesimbu n’obulamu bw’omwoyo singa tulina okuleeta ebirungi eby’ebbangga eddene okuva mu bulamu bwaffe. Enkulaakulana eyatuuka ku ntiko, eyalekera awo okukula, oba eyateekebwa ku bbali — nga Katonda yamugujude— emirundi mingi esobola okunnyonnyolwa okuva ku buzibu mu bulamu bw’omwoyo. Tetulina kulekera awo okukula mu ffe. Enkomerero y’erina obukulu.


Kitwala akade – akade akanene


Lidirira n’okugumiikiriza. Okweyongera kw’obumanyirivu bwaffe mu by’omwoyo buggya mu nkola ey’ebbanga eddene. Okutegeera enkola ya Katonda ey’okutukulakulanya kitegeeza nti, mu bulamu bwonna, Omukristaayo agenda yeyongera mu buvunaanyizibwa obw’omwoyo era n’alaba Katonda nga yetaba mukukula kwe buli kiseera.


Taata wange yali musumba alina okwolesebwa okw’okutandikawo amakanisa amapya. Emirundi mingi mu biseera by’essomero lyange erya junior ne senior high school, twatambulanga mu bibuga ebyetoolodde okusiiga langi n’okuddaabiriza amayumba g’amakanisa amakadde. Oluvannyuma Taata yayaambanga okufuna omuntu alina omutima gw’obusumba okubeera mu kanisa eyo. “Omuze” gwa Taata gwali tegulina sibuko ya nsimbi naye nga gwetaga  ensimbi nnyingi. Okusasula ebyo, yaasiiganga ennyumba n’ebizimbe mu kibuga kyaffe ne mu byalo ebyetoolodde. Bwenejukanyamu emabega, nze ne Taata twamala ddala akaseera kanene nnyo nga tusiga langi, nga tukola era nga tunyumya wamu mu myak’egyo. Mu kiseera ky’essomero, nnayambanga okusiga langi bwe nnava ku kukwata empapula ku nnaku ez’omu wiiki. Era nnayambanga ku Lwomukaaga. Mu kiseera ky’ekyeya, nnasiganga langi okutuusa lwe nnali nina okugenda mu wofiisi yepapula z’amawulire.

Mu kiseera ekyo, nnalowoozanga nti bakizibwe bange baali balina ebirungi ebisingawo. Kati lwetegeera nti nze nali nnina ebirungi ebisinga. Nayiga okukola awatali kukiriza kubuzibwabuzibwa. Nayiga nti tewali ssaddaaka yonna eyali enene okusinga okuyamba okuzimba obwakabaka bwa Katonda. Nayiga nti okuweereza Katonda kuleeta essanyu erisinga n’essuubi eringi ery’empeera mu ggulu okusinga okufunayo eby’ensimbi. Nayiga okwesidika era omubiri gwange n’emikono byafuuka byamanyi nnyo. Nayiga okutwala edala eryobuwanvu okutuuka ku ffuuti 40 mu bbanga ery’awaggulu. Nayiga engeri y’okubeera omutebeenkevu mu bifo ebyayinza okuba eby’obulabe. Nayiga okukwata  okukolera mu bifo eby’awaggulu. Nayiga okusigala nga ndi mutebenkevu nga ndi waggulu ku dala erya ffuuti 40 ennumba nezitaayiza engeri gye nalisemberede amaka gaazo. Nayiga okuzikiriza ennyumba yazo mubukakamu nga sisirituse kugwa kuva kuddala. Mu bumanyirivu buno, nayiga okussa essira ku kintu era n’okwengumya mu kyo. Nayiga omuwendo gw’omulimu. Era nayiga n’omuwendo gw’okusanyuka n’okuwummula. Mazima ddala waliwo amasomo amalala agayinza okuyigibwa abantu abalina emikisa gy’eby’ensimbi ng’abazadde bange. Ekikulu si nti weetaaga obuzibu oba bukendeevu okusobola okuyiga, wabula nti oteekwa okuba n’omutima ogwagala okuyigira mu mbeera zonna oba mu bumanyirivu bwonna bw’ofuna.


Ebirungi ebirala bibiri binkubiriza nnyo okusiima ebyabaawo mu myaka egyo. Ekisooka, tewali bagga wakati wange ne Taata; twasigala bamikwano mu myaka gyonna ejo. Yampitanga “pal” okutuusa lwe yafa. Bwe ndowooza kwekyo kati, ntegeera lwaki nange ebiseera ebimu mpita batabani bange bwetyo. Ekisinga obukulu, yansikiza obusobozi bw’okutwala “ebintu eby’awaggulu” ng’ebikulu. Mu kitabo kino kyonna, emiwendo gino ginaavaayo emirundi mingi. Omulimu ogw’obuvumu n’emiwendo egy’omwoyo gye nnasikira okuva eri Taata mu myaka egyo byannyamba okuyita mu ssomero lya Bayibuli era ne nkoma nga ndi munywevu mu myaka mingi egy’okuweereza eri abantu okuva mu 1965. Abantu abamu tebasiima migaso jja Katonda ejesigama ku bwakabaka bwa Katonda Taata gye yansikiza, era kuno  kwekufirwa kwabwe nange kunyolwa kwange. Mu matedekero agamu, abakulu batulabirira okwetooloola emirimu gyaffe tusobole okweyongera okukola. Naye obusobozi bw’okussa essira ku kintu n’okwerabirira ffe bennyini biva mu bumanyirivu. Nsanyuka nnyo kubanga nayiga bino mu myaka gyange egy’essomero nga nsigga ennyumba, ebyalo n’amakanisa.


Mu kukula kw’obusobozi bwaffe, enkola yaffe ey’okukula efaanana nnyo empaka ze misinde mubuna byalo okusinga emiside gy’embiro. Omutu omu kyalowoza, engeri omulala jassako essira, engeri gy’asigala agumidde ku kintu, n’engeri gye yewalamu okuwuliriza amalobozi agamu(ebinywa ebisiwa), byonna bigenda mu kaseera akokutendekebwa n’okudduka okweteegekera emiside. Mu miside egy’e mbiro, byonna bibaawo mu bwangu era biggwa mu kaseera. Mu nkola y’ebbanga eddene ey’emisinde gy’obulamu bwaffe, kirungi nnyo singa tuyiga okusiima olugendo nga lweyongera okweyoleeka. Enkola y’okukulakulanya Omukristaayo erimu obuzibu, okulinnyisa essuubi, okulinda, okusuubira, ebyewuunyisa, okukula, akadannyuna n’obuwanguzi. Ekimu ku bisumuluzo kwe kutegeera nti bino byonna nkola, era  etuteekateeka okutambula olugendo luno oluwanvu.


Okukula Kw’Omuntu n’Obuvunaanyizibwa Bwe


Okuyiga engeri y’okuyigiramu okuva mu byetuyitamu bulijo n’oluvannyuma okumala obulungi etukwatako tutya mu bulamu bwaffe obwa bulijjo? Obulamu bwo buja kweyogera okusikiriza  abo abakuliranye bw’oba n’obuyinza obw’Omwoyo. Obuyinza obw’Omwoyo bwabo abeewayo eri ennyoddo ne kizo ya Katonda okozesebwa mu bulamu bwabwe. “(kizo kyuma ekikozesebwa abaweesi okutema amabati oba abazibi kyebakozesa okusimma e ebituli mubisenge – osobola okugiyita tindo)”  Okuba asikiriza omulungi tekikwatagana nakutedekebwa, ekifo, oba obuwereza obwekikugu obwakaseera konna bwogerageranya n’omulimu ogwabulungi bwassi.  Kirina bigi mukubera omutu akula nembala ya Katonda. Okuyigiriza kwenasasula okubeera omukulebeze waba Kristayo kyakwewayo nnyo oba kyamuwedo okusinga okukola bulugi bwassi obutali bwakikugu obwobulimba. Buli Mukristaayo, simukozi mukugu asasulwa omusala yekka, ateekwa okunoonya okukula mu mwoyo, okufuuka omuntu ow’embala, era okukuza obuyinza bw’omwoyo.


Yino enyinnyonyola yange ey’Omukritayo akula, okunyonyola kuno kuleta okuteegera okwa bantu bona okwekyekanyi  okusuka ku kifo: Omukristaayo akula aweereza Katonda n’obusobozi obumuweredwa Katonda n’obuvunaanyizibwa, nga yeyigiriza okulowooza, okwogera n’okukola mu ngeri eyokulemerako. Ayagala okunenya n’okunenyezebwa, Omwoyo gwe gusomeseka, era anoonya okuba omuntu asikiriza abalala olwobulungi, nga akola byonna ku lw’ekitiibwa kya Katonda. Omuntu bw’aba bw’ati, nga Alina obwesimbu, empisa n’obuyinza bw’omwoyo by’alina, ayongera mu busobozi bwokusikiriza abalala ku lw’ebigendererwa bya Katonda.

Katonda bw’aba wakati w’ebintu byonna, endowooza yaffe eba ntuufu — tukola byonna ku lw’ekitiibwa kye. Bayibuli egamba nti byonna bye tukola tubikole n’omutima gwonna ng’eri katonda, era ekirowoozo kino kigatidwa mu kunnyonyola kuno. Okunnyonyola kugatako ekirowoozo ekirungi eky’okuweereza abalala — kitegeza nti tukola byonna ng’obuweereza. Kitwaliramu okusikiriza — abamu ku ffe tulina okusikiriza okunnene okusinga abalala, naye eno njawulo mu bunene bw’okusikiriza, si mu bukulu. Ffenna tusuubirwa okuba a sikiriza ku lw’a Katonda. Bwe tuyiga okuva mu byetuyitamu bulijo, tuba nga twongera mu buyinza bw’omwoyo. Abakristaayo mu nsi yonna bwe bakola ekyo kyebasobola Okuba abalungi ennyo, erinnya lya Katonda w’Abakristaay lyogera okumanyika ennyo. Abantu bangi bajja kuba n’essuubi okumanya Oyo gwe balaba mu ffe.


Empisa z’Omukristaayo zongera kututumu. Okuyita mu Bayibuli yonna ne mu byafaayo by’okugaziya Ekkanisa mu nsi yonna, tulaba abantu abatya Katonda nga bafuuka abantu abasikiriza. Bakozesa obusobozi Katonda bwabawadde okukwata ku buvunaanyizibwa Katonda bwabateerawo n’okusikiriza ekibiina kulwebigedererwa bwa Katonda eribo. Naawe osobola okukola bwe bityo, mu ngeri Katonda gy’akuwadde. Ffenna tusobola okuyiga engeri y’okuba a basikiriza abalala abatwetolode. Busobozi ki Katonda bwakuwadde? obuvunaanyizibwa bwo bwebuliwa? Ani ali mu bbanga  lyobuvunanyizibwa bwo? Osobola okubawa obuweereza ng’obakulembera ku bigendererwa bya Katonda? Ojja kukikola? Katonda akutendeka osobole. Enkola ya Katonda ey’okukutendeka ejja kukuyamba okukula n’okwongera obuvunaanyizibwa mu nsi yo — ebbanga ly’obuvunaanyizibwa — nga kimu ku nsi ye.


Katonda n’Okweyongera Kw’Obuvunaanyizibwa Bwo


Katonda yetegese okutumbula okusikiriza kwo. Enkola ye ey’okukutendeka etwaliramu ebintu bingi ennyo nga abantu, enkiiko, amasomo, embeera, n’okugezesebwa, by’akozesa okukulakulanya abakozi be. Katonda amanyi amaanyi g’ekyuma ky’agezesa. Mu buli kugezaako oba mu buli ssomo, Omuyigiriza Omukulu ategeera bulungi obusobozi bwo, amaanyigo agaliwo kati, n’obuzito, obw’ebbugumu, oba okunyigirizibwa by’osobola era by’olina okugumira okusobola okutuukiriza obusobozi bwo bwonna. Era, enkola za Katonda ezokukakasa ekitukiride tufu ddala. Bulijjo tusobola okuyita mu kigezo.


“Tewali kemebwa kwonna kubatukako wabula okwabulijjo eri abantu. Katonda mwesigwa; tajja kuleetera kukemebwa kusinga by’osobola okugumira. Naye bwokemebwa, ajja kuteerawo enkola ey’okukivaamu osobole okuyimirira mu kyo.” (1 Abakkolinso 10:13). Buno bwe bukakafu bwaffe — tusobola okuyita mu buli okugezesebwa kwonna. Ebigambo bino bitutuusa ku nsonga ennene era eteerabika: bwe tuba nga twalemwa, kiba kiva ku ffe!


Oluusi twenyooma. Tulowooza nti tetusobola kugumira bunene bw’okunyigirizibwa mu bulamu, ate nga Katonda amanyi nti tusobola. Twekubagiza era netwemulugunya mukusaba, naye Ye atukuumira ebigere ku muliro. Enkola y’okuyiga bwegwa , twesanga nga Katonda yali mutuufu; ffe twali bakyamu. Twasobola era ne tukola — era kati tuli bulungi okusinga bwe twali. Ebigezo bya Katonda ebisinga obuzibu bye by’afuula okuba aby’omuwendo ogusinga — bye bimutendereza. Buli kigezo kiba mungeri ya Katonda gy’atugambamu nti, “Osobola okukikola — osobola okugumira kino. Mmanyi nti osobola. Nsobola okukulakulanya okuyita mu kino.”


Obulamu Bw’Omwoyo — Ekigendererwa Ky’Enkulaakulana


Okulongoosa obulamu bw’omwoyo kwe kukulakulanya obulamu obw’omunda obw’omuntu wa Katonda, n’alyoka atabulira mukola za Kristo okusinga ezize. Mpola mpola, tulaga empisa ezifaanana ne za Kristo mu ngeri gye tulabikamu ne mu nkolagana zaffe ez’ennaku zonna. Tweyongera okulaba amaanyi n’okubeerawo kwa Kristo nga bikolera mu ffe, nga bitukozesa okukubiriza abalala okudda ku bigendererwa bya Katonda.


Okula otya mu buyinza bw’omwoyo? Buli lwota ogusajja gunagwano, mu bulamu bwo, weeyongera obuvumu era n’abalala batandika okukulaba ng’omusi wagassajja ganagwano. Ebiseera ebimu toyinza obutategeera nti olina obuyinza bw’omwoyo — wabula omanya bumanya bulungi kye weetaaga okukola mu mbeera ez’omwoyo abalala nebalyoka bakitegeera  nti obukodyo bwokozesa namagezi gogaba byona bituufu. Obutuutukirivu bwekola n’okuwabula kwo “kabonero” k’obuyinza bwo obw’omwoyo. Obuyinza bw’omwoyo bukulakulanyizibwa mu kugezesebwa nebyetuyitamu bulijo, birina okuba ensibuko y’amaanyi esinga okusikiriza a balala.

Bwe nnali n’emyaka etaano n’omukaaga, nnalwala omusujja gw’enyingo nebeeranga ku kitanda emirundi mingi mu kiseera ky’ekyeya wakati w’okutadika okusoma mu somero ly’abato wamu ne pulayimale. Mu ssomero lyange erya pulayimale lyonna, Salina manyi nga abaana abalala benasomanga nabo gebali balina. Mu biseera ebimu mumwaka ogwo, nzijukira okuda ewaka nzeka ngava ku kanisa taata wange ne mama gyebali abasumba. Nakulula entebe y’oku mmeeza ya dayiningi ne ngiteeka wakati mu diiro nefukamira nesabe. Mu kabuga kewaka wange Keokuk, Lowa, abaana ab’obulenzi ku YMCA  bafunanga akade akokutambula mu okwokwetolola ekyalo nga bwebalabula ebintu ebyenjawulo wakiri omuludi gumu mu buli wiiki ku lunaku olulabikidwa. Naye nnali nteekwa okuba n’emyaka musanvu okusobola okwetaba mu kola eno. Nafukamira ku ntebe ne nsaba nti bwe nnaweza emyaka musanvu, nsobole okugenda mukutabula kuno. Mu kyeya ekyaddirira ekya 1951, olunaku lw’amazaalibwa gange lwatukira ddala ku lunaku lwokutabula nga lutegekedwa mu wiki eyo! Olunaku lwe naweza emyaka omusanvu, nagenda kukutabula kwange okusooka okwa YMCA. Sasanyunkira manyi goka  genali tadise okufuna okusobola okwetaba mukutabula kuno, wabula nnakankanyizibwa nnyo olw’okuba Katonda yaddamu okusaba kwange mu ngeri ey’enjawulo, kubanga ku lunaku lwe nnawerezako  emyaka musanvu lwe nagenda ku kutabula kuno! Enkola y’ekyukakyuka mu bulamu bwange obw’Omwoyo bwalibutandise mu mutima gwange omuto. Katonda yali azemu okusaba kwange okusinga bwe nnakisaba! Bwenejukanyamu ku ngeri Katonda gye yalungamya ebintu mu bulamu bwange, ndaba nti yatandika nda nnyo okumanyisa engeri okusaba bwenina okukuwa ekitibwa.


Mu kyeya ekyaddirira, mu kyeya nga  kyawoona obulwadde bw’omusujja gw’enyingo, nnali nnyamba jajja wange omukyamula okuzzinga tawelo nga zitwala wabweru mu kyuma kyaffe ekipya ekyamasanyalaze ekikaza engoye. Mu kiseera kya 1950, kyali kyuma kyamuwedo nnyo ekitasagika buli wamu! Nasiiba tawulo  ku mutwe gwange nga ndowooza mu omutalabani bweyadifananye. Ne kirangirira eri jajja wange omukyala nti bwe nnakula, nzija kugenda mu Misiri, nesiibe omunagiro kumutwe bweti, era bulire abaana bayo ab’obulenzi n’abawala ku Yesu. Jajja wange omukyala amangu ango n’agamba nti, “Katukisabire.” Jajja yekka ye yampitanga “Roland” — elitali linnya lyange. Kino kikulu kubanga ekigambo ekyali mu kusaba kwe kikyali mu birowoozo byange, “Mukama, sobozesa Roland waffe okufuka omumisani omukulu ennyo asoboka.” Okuv’olwo okutusa lero ekyo, kyafuuka kigendererwa kyange okuba omumisani omulungi ennyo nga bwe nsobola.


Mumasekati g’emyaka gya 1970, obuvunaanyizibwa bwange ng’omumisani mu Korea bwali bulimu okukola olukungaana lw’abavubuka mukifo ekyesude ewalako buli kiseera kyekyeya. Mu kyeya ekimu, enkuba ennyingi yataataganya eteegeka zaffe ez’emizannyo era ne z’omwoyo. Engoye zetwali tulina okwabala mu lukungaana luno sako nebyokwebika byaffe tebyasobola kukala. Mu mbeera y’obunnyogovu obw’amaanyi, empaka zatandika mu basumba n’abasomesa abaali nga bakola nga abawabuzi. Ebibinja bino bibiri — abasumba n’abasomesa — buli kimu kyali n’endowooza yakyo ku ngeri enkambi gye yanditambuliziddwamu n’ebyandikoleddwa ku buzibu obwo. Bwe kyava kibeeranga nti ebizibu bino tebyali na kizibu ky’abantu, natwala olunaku nga nsiiba ne nsaba. Oluvannyuma lw’okulaba nga ab’oluganda bonna bafunye ekyenkya era nga amasomo g’okumakya gatandise, nnalinnya olusozi ku kkubo eryayita mu lubalama olwalimu emiti emitono mu kisiikirize ne ngenda okusaba. Nanyolwa n'amaziga negapitamu ngabwejatula eri Katonda ne njogera nti, “Mukama, nnayagala okuba omumisani obulamu bwange bwona. Bweba nga sisobola  kusaba kufuna kubo  kuva mubizibu bino, sisaanidde kuba mumisani. Bwe sisobola kuba mumisani, sisaanidde kuba mu Korea.” Nnaakaba amaziga mu maaso ga Mukama. Okusaba kwa jajja wange omukyala kwali kumwajo nnyo mu maso gange: “omumisani omukulu ennyo mungeri esoboka.” Ebigambo bino tebyazivola; byasomoza.


Ebiseera by’okusaba,okwegayirira n’okunoonya obuyambi byayita. Bwe bwali bugenderera mu tuttu lyo lunaku olwo, eggulu lyatandika okuterera nga  akabugumirize bwekakka mpola mpola, era abavubuka ne batandika okusanyukira emizannyo gyabwe. Nawulira omu ku basumba nga yewunya engeri olunaku gyelwakyuse nnyo okuva ku makya okutuuka mututtu. Namwenyamu kulwange. nate era amaanyi g’okusaba gavugibwa okuva eka negakomawo gyedi. Ekirooto ky’omwana ow’emyaka omukaaga, okusaba kwa jajja omukyala, okusaba kw’omulenzi ow’emyaka omukaaga n’olugendo lw’omulenzi ow’emyaka omusanvu byonna byali bitundu by’enkola y’okulongoosa obulamu bw’omwoyo eyanteekateeka okuvuganya n’okusoomoozebwa mu nsozi ezo eza Korea n’endala ezisingawo ezaaddirira mu bibuga. Katonda akyakozesa ebyayita oba byetuyitamu bulijo okukulakulanya obulamu bw’omwoyo — omusingi gw’obusobozi bw’abakozi be okuweereza n’okuba n’obuvunaanyizibwa. N’emyaka mingi bwe yamala okufa jajja omukyala lwe yatuuka eri Mukama, okusaba kwe kwali kukyakoma kubulamu bwange.

Obulamu Bw’Omwoyo buvuganya n’Obukugu


Ka tugeraageranye enkulaakulana y’obulamu bw’omwoyo n’enkulaakulana y’obukugu. Okuweereza n’okuba n’okusikiriza byombi biva mu ffe bennyini — mu “kuba” omuntu ow’omwoyo. Ekikula kyaffe kye kisinziirwako endowooza n’ebikolwa byaffe, era bye tukola biva mwekyo. Enkulaakulana y’obukugu, ku luuyi olulala, etegeeza okukulakulanya obusobozi obungi obukutendeka okuba n’ebintu by’ewetaaga okukola omulimu gwo obulungi.


Mu mulimu gwange gw’ediko kati— okutendeka abamisani n’abasumba —  kyangu nnyo okuyigiriza obukugu. Kisoboka okutwala abalodedwa muteekateeka yaffe n’okubawa ebikozesebwa eby’okulowooza ku kuweereza mu mbeera z’abantu ab’ennono ez’enjawulo emyaka ebiri gimala okumalako eteekateek’eno. Omuntu atendekeddwa aba mu maaso emyaka munaana okutuuka ku kkumi okusinga oyo atalina kutendekebwa kwakuwereza, eyetaaga okuyiga eby’obumisani mu ngeri yokukokon’ennyo oba okuyigira kumulimu. Naye tekisoboka mu myaka ebiri okukulakulanya omuntu mu mwoyo n’afuuka omuweereza, omusasizi, omusabi, omugumiikiriza era owekisa, ategeera eddoboozi lya Katonda, omugonvu eri Ekigambo kya Katonda nomutima ogutukiride n’Omwoyo ogumenyese. Kitwala obulamu bwonna okukulakulanya obulamu bw’omwoyo. Ebintu eby’amagezi byetaaga myezi mitono, naye empisa z’omwoyo zitwala myaka. Ebintu ebikulu eby’omwoyo bitabulira nnyo mu bulamu bwonna obw’okulongoosa omwoyo okusinga okuva mu masomo geby’amasomero. Kino kye kivaako Katonda okukola okuyita mu bazadde n’abantu abalala ab’emisingi, nga ayigiriza okugondera n’okukulakulanya empisa mu buto. Oluvannyuma, Katonda ayinza okukozesa Bayibuli, omusomesa Omukristaayo oba omukekufu owa seminary okutwala obukugu obumu. N’olwekyo, nebweweyongera obukugu ku bulamu bwo obw’Omwoyo, teweerabira okussa obulamu obw’Omwoyo mu kifo ekisooka.


Nga weeyongera okugoberera enteekateeka ya Katonda mu kumuwerereza, Katonda takiganya gwe okuwumula nemungeri erabikang’etono lubirira ekyukakyuka eyomwoyo. Goberera enkola eno nga towanika. Buli mukisa, munene oba gulabika ng’omutono, mukulu nnyo.

“  omwesigwa mu katono, aba mwesigwa  mu kinene; era oyo atalina bwesigwa mu katono, talina bwesigwa ne mu kingi.” (Lukka 16:10). Bwe tusobola mu bintu eby’emisingi, Katonda amanyi nti asobola okutwesiga mu buwanguzi obw’omu maaso g’abantu. Tewali mirimu mitono.


Okunoonya n’okwagala Katonda mu buntu bwaffe kwe kusooka obukulu. Tetulina kutwalibwa nnyo n’okwolesebwa kwaffe okusinga Mukama waffe. Bwe tunoonya Katonda olw’ekyo kyali, so si lwa buwereza bw’ayinza okutugabira, mumwoyo tuba tukula. Obuweereza bwaffe eri Mukama kukula bulungi nga tekuli kintu kisooka. Bwe tunoonya, twagala era ne tusinza Katonda okusooka, amannya nti mu lugendo oluwanvu, ettutumu lyaffe teriba katonda waffe. Tusobola okwesigwa okumugondera. Emirimu gyaffe emirungi mingi gitandikira mu kukolera Mukama. Mpola mpola nnyo emirimu gya Katonda gifuuka gyaffe. Okusoomoozebwa kwaffe kwe kufula buli mulimu okuba ogwa Mukama. Ebintu ebitono bikulu. Mazima, birabika bulabisi nga bitono. Engeri gye tubikwatamu kyekiraga empisa zaffe.


Enkola Eyeyongera


Obumanyirivu mukuyiga kutegeeza buli kintu mu byafaayo by’obulamu bwaffe Katonda ky’akozesa okututendeka okuweereza, okuzimba okukkiriza kwaffe, okuteekawo obwesimbu, oba okutuyigiriza okugondera n’obukulu bw’okugoberera Katonda. Mu nkola eno yonna, mu ngeri eno yona Katonda yali mubuyinza bwesonga yokusoma. Yayiingiza, yemusunsuzi, yakebera, yemuwandiisi, omukulu w’eby’esoma, yemuteesiteesi w’amasomo, yessentebe w’akakiiko, yemutesiteesi w’amasomo, era ye avunaanyizibwa ku kukeberwa, okugezesa, n’oluvannyuma okumaliriza okusoma. Enkola eno y’ey’obulamu bwonna.


Enkola eno egenda mu maaso! oba tugimanyiko oba tetugimanyiko. Okuteegera ekola eno kusobola okutuyamba okutegeera olugendo Katonda lw’atutwalaamu era gy’atutambuliza mukutukulakulanya. Okutegeera okwengeri eyawagulu ennyo okw’enjawulo ku nkola eno n’enkomerero yayo kutuyamba okukola wamu ne Katonda mu ngeri esinga, okusinga okumulwanyisa. Okusobozesa enkola eno okukola obulungi, tuteekwa okuyiga okubeera nga twebuuza bulijjo nti, “Kiki Katonda ky’ali okunngigiriza okuyita mu byepitamu buno?”

Mu kaseera k’ekkuba mu 1996, bwe nnali tude mu kiiko ezokulaba obusobozi bwange eziwerako bwenali ku Oral Roberts University (ORU), namanya nti nnyinza okyitibwa okufuuka omusomesa owekikugu mu seminary. Nnalwana n’okusalawo oba nve ggyenali nkolera omulimu gw’obumisani sobole okuda  mu Amerika okutendeka abamisani. Nnali ndaba obungi bw’emikisa mu China n’obusobozi bwange mu kuwandiika mu olulimi o’Luchina, nnali musanyufu nnyo okubeera mu Beijing. N’olwekyo nnalowooza ku kusalawo okusinga obuzibu kwe nnali nkoze — oba nsigale nga mumisani oba nfuuke omutendesi w’abamisani ab’emyaka egijja. Olunaku lumu ne njogera nti, “Mukama, mazima ddala nandyagadde okusigala ku mulimu gw’obumisani,” Mukama n’addamu mu ngeri entuufu nti, “Era yesonga lwaki nkwetaaga mu kibiina!” Okuva olwo nategeera nti Katonda yanjagala okuba ku ORU. Obumanyirivu buno bwanngigiriza nti Mukama w’amakugula, yatuma era asobola n’okuyiitayo jaba akutumye; safuna dembe kukitebereza  nti nnandibadde mu kifo kyenalimu mukaseerako. Era nayiga nate nti obuwereza bwange tebwali bwange; wabula Katonda yeyali nanyini bwo— lyessomo ekulu lyegizze emirundi emingi.


Okusikatiira kwange okuleka omulimu gw’obumisani n’okutandika okuweereza mu kibiina ky’amasomo mu ggwanga lyange tekwava ku kubeera nti saakintwala ng’eky’omuwendo okutendeka abamisani, wabula kyava ku kwagala kwange okungi obumisani n’okuba nga nali musanyufu okubeera ebweru. Kati mbeera n’obukeekke mu mutima wakati w’okumanya nti ndi mu kwagala kwa Katonda mu kibiina newakubade nga nnina okuyayaana okw’amaanyi ku mulimu gw’obumisani. Naye, wakiri okubeera n’obukeekke nesobozesa abasomi bange okukwata ekiruyi kyange ku mulimu gw’obumisani okusinga okufuuka omuntu atebekede mu kibiina n’okufulumya nofulumya abasomi abekibogwe.


Nze ndi muntu alowooza ennyo ku byesomesa era jagala ekisinga okuva mubayizi bange. Wabula obukugu bwange ku mulimu gwobumisani n’okwagala kwange kunene nnyo okusinga emisomo. Amasomero aga seminary gakkirizibwa okusomesa okusiziira butya bwebasomesa, ebikozesebwa mukusomesa, amasomo n’obukugu; bino byebintu nange byejagala era birina okukuumibwa. Naye tebigasa nnyo okusinga obulamu bw’omwoyo n’empisa. Awatali bino, tewali muwereza ayinza kumalako mu maaso ga Katonda ne bwaba nga yasoma ekyekanawa.


Twebaza Katonda ku bye tuyiga okuva mu basomesa n’ebitabo, naye eteekateeka ya Katonda esuka kwekyo. Erimu obukakafu bwobumanyirivu bungi mubwo mwofunira obuvumu. Era erimu ebiseera ebizibu ennyo ekija okwetagisa okwesigama kuye. Enkola ya Katonda etukiiride ey’okukulakulanya empisa zo n’okwongera ku kusikiriza kwo yatadiika dda nga tonaba nakuzalibwa. Nga tuyiga engeri gy’akolamu, buli lunaku tulina okuba abavumu kulwakino, “…nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe ajja kugumaliriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu.” (Abafiripi 1:6). Bwe tuyiga engeri Katonda gy’akozesa obulamu bwaffe okutukulakulanya, tuba tweyongera okutegeera obubaka bw’ateeka mu bwo. Byetuyitamu byaffe bye “binyonyola” mu nkola ya Katonda ey’okuyigiriza. Okuzuula “ekigendererwa” kya buli kifaananyi kwe kusoomoozebwa kwaffe, okunoonyereza kw’omusomi ow’amagezi, n’empeera yoyo akola mu kusaba okwekikugu.


Ekifaananyi Ekisinga Obunene


Enkola ya Katonda ey’okututendeka eteekeddwa teekeddwa okuvumbula ekibinja ky’abawereza abesigika — bakabaka ne bakabona — okuddukanya eby’obwakabaka bwe obw’olubeerera. Abo ajja besigisa okumukikirira mu buyinza bwe, era bajja kuba beesigwa wansi w’obuyinza bwe emirembe gyonna. Kino kye kigendererwa ekyawagulu ennyo ky’enkola ya Katonda ey’okututendeka ku nsi. Kyokka waliwo endowoza ekyamu ezitubuzabuza mudowooza biri eza bulijjo ku nsonga eno, zituleteera okubera wabwelu womulamwa gw’enkola eno.

 Ekisooka kisobola okuyitibwa “ekola eyokugenda nebigenda notasikatira kukintu kimu.” Abo abesigama kukol’eno essiira baliteeka kukutedekebwa nga ekigobererwa. Bwebannyumyamu nabantu nebababurila kubuzibu bwebayitamu, banyolwa nnyo. Basussa okuburira abantu okubera nga besalirawo bokanaboka era nebakitwala nti katonda aba yenyigide buterevu mukusalawo kwabwe. Bakiriza nti obulamu eba nggeri bugeri, era amakulu gona gebabulabamu gaba gawano era kati, kubanga tebalina kifananyi kinene, balemwa okuteegera nti obulamu buno tedekero eri obuvunaanyizibwa bwaffe mu bwakabaka bwa Katonda obutagwawo. Basubwa okubera mukola ey’emirudi ebbiri ey'obulumu bwabwe obuto (obuvubuka bwabwe) okubutabuza kulwekitiibwa kya Katonda at’era mu kiseera kye kimu okuyita mu kutendekebwa kuno, tuteekebwateekebwa kulw’obulamu obutagwawo.

Abalala ku ffe “bamativu” nti Katonda yateekateeka buli kutambula. Bateebereza nti be baakola ensalawo, naye mu mazima Katonda ye afuga buli kimu, nga asika obuguwa bwebitubye byalunda.Kubanga bagaana obulamu bwokwesalirawo Katonda bwe yatuwa, era  n’okutendekebwa mu bulamu bw’ensi nga bakyali bato (mubuvubuka bwabwe). Kubanga bagaana enkola ey’okwesalirawo Katonda gyatuwade era enkola y’okutendekebwa mubulamu obw’obuto bwabwe, bakitegeera bubi. Baleemererwa okutegeera nti engeri yokuddamu eri enkola ya Katonda ey’okutendekebwa kye kitundu ekikulu mukola ey’okutendekebwa. N’olwekyo, “sibakekufu oba abamalirivu nti bebatufu.


Omukristaayo eyewewude ekifokye kitwaliramu okutegeera ebyawadiikibwa eby’okwenyigiramu kwa Katonda no buvunanyizibwa bw'omuntu. (eddembe ly’okwesalirawo). Katonda ayagala nnyo okulaba engeri gye tumuddamu, kubanga okutendeka abakozi bobwakabaka bwe kyamuwendo nnyo gy’ali. bakabaka ne bakabona abatendekeddwa obulungi y'engeri esuffu eyawagulu gyakolamu emirimugye— engeri ye jasinga okukozesa, ekitotome kye ekikyasinze, Nga tetugaanye katemba eyetobeekede mu muzannyo gw’obulamu mu teekateeka y’okutendekebwa, omuzannyo omunene ogutekwa okuzanyibwa wabweru eyo mubuvunaanyizibwa bwaffe ng’abakozi bobwakabaka kyekisigira ddala obukulu .Endowooza eno etuwa obugumiikiriza okuyita muneyisa y’ennaku zino, essanyu, ennaku, obuwonvu nobuko. Tumanyi nti obumanyirivu buno bwa kutendeka kwokka. Tusanyuka okubeera mu buli beera yona mu bujjuvu era ne tugyamu byonna bye tusobola, kubanga tumanyi nti enkola etambulira ku Katonda ayenyingidde ennyo mu byonna ate nga atwesiga okukozesa obulungi eddembe lyaffe ery’okwesalirawo. Kyokka emirundi mingi, waliwo ekola eno “abakekufu” kuffe— oluusi twerabira nti Katonda yenyingidde nnyo mu nkola eno era nti okuziyiza enkola eyo kwe kuziyiza Katonda. Era mu ffe mulimu abamalirivu abtali bangi nnyo. Oluusi twerabira nti tulina eddembe ly’okwesalirawo era nti Katonda atutunulidde okulaba okuddamu kwaffe kulw’obulungi eri okutendekebwa kw’atuwa kw’atutegekede mu mbeera n’abantu abatwetoolodde.


Abakekufu balemererwa okulaba ekigendererwa ky’enkola y’okututendeka, ate abavumu balemererwa okulaba obuvunaanyizibwa bwabwe mu yo. Naye abo kuffe abalina endowooza ewewedwa balina ekifo ekirungi okusima ebyayita byaffe n’okwesunga okungi. Tulina okusima okumanya  kw’eby’o byebayitamu mubulamu kubanga tumanyi ekigendererwa ekiri emabega wabyo. Gye tuli, byona byetuyitamu, n’ebyo ebitono ebirabikanga ebitali bikulu, myaganya gya kukula. Bwetusubwa okukozesa emyaganya gino okweyongerayo, gifuuka ebyokwejusa. Buli mbeera guba mwaganya mupya okulaga okukakana, okwewayo, n’okutegeera obuvunaanyizibwa obumuweredwa. Tumanyi Taata waffe, ebigendererwa bye eby’olubeerera n’ebyaffe, ekigendererwa ky’enkola y’okututendeka, lwaki tuli mu yo, n’obukulu bw’okulwawo okutukolera ebintu ebimu. Tusobola okugumiikiriza okuyita mu nkola y’okututendeka. Kigenderere tuyige episa epya ez’okuyigira mubyetuyitamu, kubanga tusubiira okutikirwa — okuyozayozebwa okwekitiibwa.