EMPIISA EY’OKUBIRI: Tegeera Obusobozi bw’Okuyiga


Empiisa z’Abakristaayo Abakola Obulungi Ennyo

“… mu bintu byonna Katonda akola kulwobulungi …” Abaluumi 8:28


Mu ssuula eno, ojja kusoma ku ngeri Katonda gy’atuleramu ng’omuzadde. Abazadde bonna okuba nga benyumiriza mu baana be bazaala era n’obwegendereza bebakuziza. Kitaffe ow’omuggulu talina nnyo ngyawulo kubo.

Nga bwekiri mu maka ag’oku nsi, Sitaani ayagala okwawulamu n’okumega. Nga atuletera okulowooza nti tuyita mu kizibu ekitagumikirizikika era ekitali kyabulijjo, asuubira okutunafuya. Katonda alina ekigendererwa ekirungi mu nteekateeka ye ey’okututendeka. Okumanya kino kitukubiriza okuyigira kubuli beera gyetuyitamu. Ne bwe kiba nga kizibu kitya,, tusobola okugenda mu maaso nga tuli abantu abakuzidwa era abongedwako omuwendo. Tutekwa okunyaga okuggonjola oba Sitani okutwesoka nakubba. Kitunyweza okumanya nti abalala nabo bayise mu buzibu ng’obwaffe era amasomo agazimba obulamu gatulindiridde. Bwe twekenneenya ebika by’ebeera ezifaanana n’ezaffe, tusobola okutegeera ebikulu mubwo n’engeri Katonda gy’akozesaamu ebeera nga zino okutukulakulanya.

Mu ssuula eno, tujja kulondayo ebimu kubika ebigata ku kuyigira mubulamu bwetuyitamu bulijjo. Obumu kubulamu buno zzekenyini eyabuyitamu, wabula ate obulala kubwo nabuyiga nakwekenenya abalala  sako nokusoma. Essuula eno tegeendereddwamu kuba lukalala olujjuvu olw’ebika byonna, wabula kigera ekinnene ekimala okukulaga engeri nnyingi Katonda z’ayinza okutuyigirizamu. Okwekeneenya bino kujja kukuyamba okuteegera ebitu ebirabika ng’ebizibu ennyo era okubala ebibala mu kwekenneenya obumanyirivu bwo. Buli bumanyirivu bugwa wansi w’ekitundu eky’enjawulo eky’endabirwamu ya Bayibuli, kubanga mazima ddala Ebyawandiikibwa bye biwa omutindo ogugobererwa mu kutaputa n’okwekenneenya obumanyirivu bwaffe.


Okumanya kwe tuukko yo


Oli wa muwendo nnyo eri Katonda. Ddala alina enteekateeka ey’enjawulo ku bulamu bwo. Okutegeera ekigendererwa ky’obulamu bwo, kuva mu ebyo byewayitamu ebyakulebera okukiriza nti Katonda yenyingidde  mu bulamu bwo mu ngeri emukwatako ate nga yanjawulo. Ebikolwa ebikulu n’abantu, obobumanyirivu obulaga okuteekateeka kwa Katonda, oba engeri etali yabulijjo eson’eno eyinza okutegeza ekitu ekyomuga mu biseera by’omumaso. Bwe bisomwa obulugi okuva emabega, byongera okutulumiriza mu kukula kwokumanya kwetukko yaffe. Erinnya ly’omuntu omu  n’amakulu gaalyo, obunnabbi, ebyafaayo by’amaka, okusaba kw’omuzadde, ekolagana etufu nabatu abatufu, okumanya kw’omuzadde ku tuukko y’omwana, ekyamagero ekyekusa ku buzaale bw’omuntu, omutedesi, oba okukuumibwa kw’obulamu mu ngeri ey’enjawulo, byonna bisobola okugata etofali ku kumanya nti Katonda alina ekigendererwa eky’enjawulo ku bulamu bwo. Okuwona kwange okuva mu bulwadde, awamu n’obuyambi bwa bajjajja abalaba eky’omwoyo mu bulamu bwange obwobuto, kyampa epulira eyetuukko okuva mu buto bwange.


Mu Ssuula esooka, wasoma ku bulamu bwange ku bulwadde obw’omusujja gw’enyingo. Mu kiseera ky’obulwadde obwo n’okuwona kwabwo, esaala okuba omumisani omulungi nga nnina emyaka mukaaga, n’okugenda mu kutabula okwo’kwetolola ekyalo kwe nnasaba ku lunaku lwamazalibwa gange ag’emyaka omusanvu, tebyannyweza bunyweza kukkiriza kwabutobwange mu manyi ge saala, naye era kyampa okumanya etuukko yange. Okukakasa kwa bajjajja bange abakyala bombi mu bulamu bwange bwona obw’obuto bwayongera okukuza  okukkiriza okwo. Natandika okunoonya buli kintu Katonda kye yanteekera teekera. Siyinza kujjukiira kaseera wesakkiririza nti waliwo ekintu eky’enjawulo kye nina okukola nokwagala okunene..


Okukwata ku kufa nabyo bisobola okukakasa okumanya kwaffe okwetuukko. Buli kaseera Dawudi lweya simatuuka efumu ly’obusungu bwa Ssawulo, okumanya kwe tuukko ye bwe kuyinza okuba nga “kwakakasibwa nnyo (1 Samwiri 19:10). Emirundi ebiri mu bulamu bwange nga ndi mukulu, nandifude. Bwe nnali kyali muvubuka, bwennali mpugga nzekka mu Nnyanja Heritage okumpi ne Gettysburg mu Pennsylvania. sadiwuzze nzekka mu nnyanja ennene era enzijjuvu okukamala, kyali nakyabusiru nnyo okugezaako okuwugga okujisala. Bwe nnakoowa  neva kusuubi lyokusala enyajja, ne nkyuka okudda ku lubalama ne nwana kulw’obulamu bwange addakiika 20 agaddirira. Nnalowooza nti nnali kumpi n’enziwakaki z’eggulu, wadde nga nzisa amaanyi gange gonna mu kusika omukka sobole okusa n’okukola obukodyo obulala n’emikono gyange ko n’ebigere ebyali bikooye. Ku nkomerero, nayaniirizibwa bitoomi n’amayinja kulubalama. Nga ngalaminde bwepeekera sako no kussesema ku lubalama, obulamu bwafuna amakulu amapya. Nategeera nti Katonda yanzirizza okusigala mu bulamu bwange obw’oku nsi olw’ekigendererwa kye.

Omuludi gwange ogw’okubiri ogwandibadde gunsuula mu kufa gwabaawo mu Taejon, Korea. Bwe nnali zita ekuyege, nakwatako kuligwa ely’obusagwa ne nfuna obulwadde obw’amangu ennyo — akatonnyeze kamu ku ligw’elyo kasobola okutta ente! omusawo yagamba mukyala wange Char nga bweyali amanyi nti naliwakufa. Mu ngeri ey’eky’amagero, nawona okuyita mukaseera akali akazibu akokujajabibwa obusagwa. Bwe nategeera obuzibu obw’okuva ku nsi kwange okumpi, nakiraba nti Katonda yali akyalin’ekigendererwa ku bulamu bwange. Pawulo ayinza okuba nga yalina okutegeera okufaanana kutyo buli lweyawonanga okufa, wadde nga ebyafaayo bye byali bikulu nnyo okusinga ebyange.


Mu kyeya kya 2000 mu bitundu by’amabuka gobuvanjuba bwe Buyindi, ekibinja ky’abasumba nga 110, bakazi baabwe n’abayizzi b’assomero ga Bayibuli, baakuŋŋaana okuva mu bitundu by’e gwanga lya Buyidi bitaano nemirirano Bhutan, Bangladesh ne Nepal  ku kutendekebwa eby’obukulembeze. Bwe nnali njogera kukumanya etuukko y’obulamu n’okukuumibwa kw’obulamu, nababuuza bameka kubo abaali babuzeko kumpi katono okufa — 22 ku bo kyabatukako! Kyali kya ssanyu okunnyweza kyebayitamu  okiraba mu ngeri empya ng’ekigendererwa eky’olubeerera. Katonda akkiriza ebitutukako bino okutuyigiriza nti alina ekigendererwa ku bulamu bwaffe. Okumanya bumanya kino kyokka kituwa obavumu nokusubiira okunene mu maaso. Katonda alina abantu ab’enjawulo mu ggye lye, era atutemyako okutulaga nti alina enteekateeka ey’obwakatonda okuyita mu byetuyitamu oby’enjawulo — emirundi egimu nga tuyinza n’okufa.


Okuyayaana kwo ku kitabo kino kulaga nti oyagala okuzuula empisa ezikutuusa ku kutuukiriza etuukko y’obulamu bwo n’obusobozi bwo. Kirowoozeko ng’okuyayaana kuno kwakutekebwamu Katonda, osobola n’okutegeera etuukko yo ey’obwakatonda. Osobola okusanga  abantu abawandiikibwa ko mu Bayibuli ne muberra  zabwe nga byebayitamu binnyonyolera ddala nawe kyoyitamu mubulamu bwo. Taata wa Samusooni ne mama we ddala bamugambako ku  kukyalibwa kwabwe okwa Malayika ekyagoberera okuzalibwakwe (Ekyabalamuzi 13:3ff). Abazadde ba Samwiri nabo bateekwabuteekwa kuba nga bamugamba butya Kaaana  bweyewayo okusobola okufun’olubuto azaale omwana omulenzi, era nti bwanamuzaala wakumuwayo awerezenga Katonda (1 Samwiri 1:11ff). Samusooni ne Samwiri  tebaalina pulira y’etuukko  ya bulamu bwabwe ng’elabikidwa bulungi? Ng’obukulu bwobuzale bwabwe bwali n’okubikulirwa ne Katonda naabeyawulira okuva ku baganda babwe olwekigedererwa? Olowoza epulira y'etuukko yabwe yabawa amanyi? Funa okwolesebwa era mu buwombeefu noonya okutuukiriza.


Katonda y’afuga byonna. Atutunga mu lubuto lwa bannyaffe (Zabbuli 139:13–16) era ateegekera buli omu ku ffe okuzalibwa mu kifo n’akaseera keyelondedde ye yennyini (Ebikolwa 17:26). Bwe tukkiriza ekyo, tuba tukkiriza era nti obusobozi Katonda bw’atade mubulyomu kuffe, mu by’obuwangwa n’eteegeka y’ebyafaayo byaba yelondedde, nabyo byamakulu. Tuyinza kuyiiga ki mubino? Embeera z’omu kitundu, ez’eggwanga, n’ez’ensi yonna ezetooloola okuzaalibwa kwaffe yateekateeka. Kyandibadde kitya singa buli kiseera twekenneenya bye tuyiga mu mbeera Katonda gye yafuga okututendeka mu ngeri ey’enjawulo? Toli mu nkola ya kuyiga ntono okusinga Dawudi — naye Daniyeri — yali mu yo. Daniyeri yali musajja wa by’obufuzi; si musumba wa kiseera kyonna. Oba tozaaliddwa mu Bbulaniya n’otwalibwa e Babulooni ng’omusibe okutendekebwa okuweereza mu kooti y’abagwira, naye olina olugendo lwo lwennyini. Katonda alina ekirooto ku lulwo, era alina enteekateeka ey’enjawulo okutwala ekirooto ekyo mu maaso. Osobola okulowooza Omusajja Omukugu omukulu nga asekerera mu “wokop,” nga atambula wakati mu by’okulabirako bye eby’obulungi, nga akutamye ku by’obulungi bye, ng’akozesa mu ngeri ey’okwagala “ebikozesebwa” bye — ennyanja, enta, n’“ebyafaayo ebyawandiikiddwa nga tebiteekeddwa” — okufulumya amabala agasinga obulungi n’okuyaka okusinga okuva mu bantu be ab’omuwendo — ggwe oli omu ku bo!

Mu nkomerero, obumanyirivu bwa leero bugattibwa n’obulala bwonna mu bulamu bwo okutuusa lwe bukwatagana wamu. Okukuŋŋaanyizibwa kw’amasomo g’ebbanga eddene wamu n’okutegeera ekigendererwa ky’obulamu biteekateeka omukkiriza omukulu okuweereza mu ngeri ennungi mu biseera eby’omu maaso. Okutegeera ekigendererwa ky’o kugatta byoyitamu bulijo byonna oby’okuyiga wamu, kkuwa akaguwa k’awamu n’omutwe omukulu ogugoberera enteekateeka ya Katonda ey’enjawulo ku bulamu bwo. Abakozi Abakristaayo abato bangi tebategeera kino era tebaatuuka ku mutendera guno ogulimu ebibala ebingi. Sigala kukyo. Kifuka kiringi— kirungi nnyo.


Abantu Abakusikiriza Mu Bulamu Bwo


Ekikozesebwa ekirala Katonda ky’akozesa kwe kusikiriza abalala mu maka gaffe. Ab’omu maka gaffe bakulu nnyo mu kukula kw’omuntu kubanga, nga C.S. Lewis bw’akyogerako mu  Kwagala Okwokuna ( The Four Love) , tetulonda bantu baffe; tulina kuyiiga kubagala. Mu maka gaffe mulimu abantu abakulu, embeera, n’endowooza ezituusa ku kweyongera kw’obuvunaanyizibwa bwaffe nga Abakristaayo. Yokaana Omubatiza yalina okusikirizibwa kw’abazadde ab’atya Katonda n’Ab’yudaya (abaali ab’enjawulo mu by’obutukuvu mu biseera bye). Okusikiriza kwabwe mumulimu gw’obulamu bwe kyakulabirako kirungi engeri byetuyisemumu mubuto bwaffe gye bikulaakulanya Omukristaayo omukozi.


Kiki ky’oyiga okuva mu mbeera yo ey’abantu gy’obeeramu kati? Muliraanwa wo? Muno gwosula naye? Gw’otula naye mukibiina? Gw’okola naye? Olowooza nti abantu abakwetolode baaliwo bubezi kyokka? Watyanga Katonda yateeka abantu abo mu bulamu bwo okukuyigiriza ekintu? Bwe kiba bwe kityo, tetufiirwa ekitundu ky’okutendekebwa kwaffe bwe tuziyiza amasomo agava mu nkolagana zino? Katukitwale nti bebantu abasinga omuwendo mubulamu bwaffe, naye n’abantu abalala ab’omu maka gaffe bakola n'omulimu omunene ennyo.

Jajja wange omukyala yalabikanga buli kyeya n’atujjira n’akola emirimu mijji egy’okulongoosa ennyumba. Kino kye kivaako okuba nga yali awo bwe nnalwala omusunja gw’enyingo n’okuva mu kiseera ky’okuwona kwange. Katonda yamukozesa onkukubiriza, okwagala obimisani, n’okusaba okuzimba obulamu bwange. Era nayigira okubeera omuwombeefu, okwefuga, okugumiikiriza, n’obutaddamu mu lutalo okuva mu nkolagana zange n’abantu abalala ab’omu maka gaffe. Buli kimu ku bino kyali kitundu ku bulamu bwange, era Katonda yabikozesa okuteereza. Watya nga buli waluganda lwo — ayagalikika oba atayagalikika — Katonda yeyamuteka mu bulamu bwo ng’ekikozesebwa mu kukulakulanya? Tuli mu kugondera enkola eno oba tulimugiwakanya? Bwe twewaayo okuyiga okuva mu buli nkolagana, obulamu buba ekisaawe eky’okusoma ekitaggwaawo. Buli nkolagana na buli kukubagana bigenda mu lujjudde lw’okukulakulanya ebibala by’Omwoyo.


Atekumbera ezirimu okututuza? Omwana oba omuzzukulu w’aboluganda abatutuza ye anakola atya? Waliwo eky’okuyiga mubulamu buno mukutoloka oba okwewala okunyigiriza okwo? Ebibuuzo bino bizibu, naye okukkiriza kwaffe mu bw’etegerede bwa Katonda kutuwaliriza okuziggyaamu amasomo. Nga ndi muvubuka, nasanyuka nnyo ku kukubiriza kwe nafuna okuva eri omusomesa wange wa tennis mu ssomero lya sekondale. Naye okuba omuntu eyakosebwa mu by’okweligomba kwe ebitaliimu butuufu kwampa amasomo agenjawulo. Ekimu kyali nti wadde nga nayiga tennis okuva gy’ali, nnali waddembe okugaana empisa ze ez’obulamu bw’okweligomba. Ekirala kyantwalira emyaka, naye mukomerero nezula ekintu ekikulu ennyo — ekibi kyokweligomba kyali tekisigisa musango lwakuba nali kosedwa lwakyo. Era eky’okusatu, nayiga obukulu bw’okunyweza batabani bange n’abavubuka abalala babeere n’omwoyo ogw’amaanyi okusobola okuziyiza eby’okuyingirira ebitalabikiddwa.


Tusobola okulonda kye tuyiga n’eri oyo gwe tuyigirako. Emirundi egimu tuyiga kye tukola okuva mu byokulabirako ebirungi. Emirundi emirala tuyiga kye tutalina kukola okuva mu byokulabirako ebibi. Obubi bukola mu nsi, era tuteekwa okusaba n’amaanyi okubulwanyisa. Tetulina kusiba Katonda ku bibi — oba mu bantu baffe oba mu balala. Abantu bakola ensalawo, era ezimu ku zo mbi. Saba Katonda alwanyise obubi bw’akyawa. Mu mbeera ezo, tetulina kugondera bantu ababi nga tewali kisinga, wabula tugondera Katonda. Noonya okutegeera ekigendererwa kye mu mbeera ezo era oyige okuva mu zo.


Obukugu


Katonda atuwa obukugu bwetwetaaga okukola omulimu gw’atuyitira okukola. Nneebaza nnyo abasomesa b’olulimi abalungi abaakola ennyo okusinga eby’essomero n’ekiragiro kyabwe okutumbula obukugu bwange mu lulimi. Twafuna emikisa mingi egy’okuweereza mu Korea ne China kubanga twasobola okwogera mu nnimi z’abantu baayo. Katonda ataggwaawo atutonda mu lubuto lwa bannyaffe ng’atuteekamu obukugu obumu obw’obuzaale. Oluvannyuma atuyita okukola mu bitundu ebyetaaga obukugu obwo. N’olwekyo, obukugu bwaffe obw’obuzaale buba akabonero ku kigendererwa kya Katonda ku bulamu bwaffe. Ate ggwe, obukugu bwo obw’emisingi buli butya? Obumu bwa buzaale, ate obulala bwakuyigirizibwa. Buli gwe kyoli kiva mu mitendera gy’empisa w’oyiga mu nkulaakulana y’obukugu buno.

Mu kiseera eky’emisingi mu bulamu bwo, kiki kye wayiga Katonda ky’asobola okukozesa mu biseera eby’omu maaso? Katonda yakola mu bulamu bwa Pawulo bwe yali ayiga Ekitabo Ekitukuvu ekya Ddala ku bigere by’omu ku basomesa abasukkulumu mu biseera bye. Okweteekateeka kuno kwaliwo Pawulo nga tannaba kufuuka omukkiriza agondera, era kiraga engeri Katonda gy’ayinzizza okukola mu byafaayo byo okutumbula obusobozi bwo nga tonnaba kumumanya. Obukugu bw’olina busobola okukulaga kiki Katonda ky’ayagala okukola, oba mu gavumenti, mu by’obusuubuzi, mu kkanisa, mu by’amakolero, oba mu by’okusomesa.


Ebigezo by’Obwesimbu


Buli omu ku ffe oluusi ayita mu mubulamu obumukebera empisa ze nga tewali muntu mulala amanyi. Waliwo ebiseera we tusobola okuba abatali beesigwa oba okukola ebikyamu awatali muntu yenna kukitegeera. Katonda mu bugenderevu atuteeka mu mbeera ezo tusobole okukula mu bwesimbu bwaffe era n’okukakasa nti empisa zaffe n’ebikolwa byaffe bigattiddwa wamu.


Lumu nnasobya ne nteekateeka enkiiko bbiri mu kiseera kye kimu. Olukiiko olumu lwali lwa mukyala eyayagala okunsisinkana okumanya ku kufukibwako amafuta wamu n’okusibwako emikono okusabirwa olw’obuvunanyizibwa mu kkanisa. Olukiiko olulala lwali n’omuteesiteesi gwe nnali nandyagadde okubuuza ebibuuzo eby’omuwendo gyendi. Olukiiko olwasooka nasabibwa okulubamu nezikiriza, ate olulala nze eyalweteegekera. Nalina okusalawo luliwa lwesazaamu. Omukyala bwe nnalemwa okumutuukako ku ssimu, ne ndeka obubaka obwamaloboozi ku kyuma kye ekyesimu. Era ne ndeka ebitabo n’ebbaluwa ebinyonyola enkola ey’okufukibwako amafuta nokusibwako emikono, okusabirwa mu buvunanyizibwa bw’okuwereza mu Kanisa ku mulyango gwa ofisi yange ne ŋŋenda ku lukiiko gye nnayagala. Bwe nnakomawo ku ofisi, nnesanga nga ebitabo nobuwadiike yabitute. Ne nsanyuka nnyo. Oluvannyuma ne twogera ku ssimu ne mmuwa n’amawulire amalala ge saateeka mu bbuwadiike bwenamuwa. Ne nsanyuka nate. Obuvunaanyizibwa bwange gy’ali bwali buwedde. Naye olw’okuba nga nasazaamu olukiiko lwe nnalina okukuuma n’eŋŋenda gyennayagala olw’obwegendereza bwange, omutima gwange gwennyika. Mu mutima gwange mmanyi nti nnalina kusazaamu lukiiko lwe nnayagala ne ngenda ku lw’omukyala — lwadde nga telwali lwa kwagala nnyo gyedi. Okuv’olwo, nayiga nti okwagala okuweereza abalala ate n’okukola ebikola ku lwange kiba tekigatta. Mu maaso, nsuubira okuba omuntu atalina kweyagaliza nnyo era omwetegefu okulowooza, okwogera n’okukola mu ngeri egatta.


Mu mutima gw’okwekenneenya empisa ezitendereza Katonda mulimu endowooza y’obwesimbu — okubeera n’obumu obw’amaanyi wakati w’endowooza, ebigambo n’ebikolwa by’omuntu. Katonda akozesa ebigezo by’obwesimbu okukebera ebigendererwa by’emitima gyaffe n’okugatta eby’omunda n’ebirabika ebweru. Akola bino byonna ng’omusingi gw’okwongera obusobozi bw’Omukristaayo okuweereza. Awatali bwesimbu, obusobozi bwaffe tebusobola kutuukirira kubanga abantu tebatwesiga. Yusufu yali abulina. Dawudi yasobola okukulembera abantu kubanga yali mwesimbu. Abantu baamwesiga. Danyeri ne mikwano gye esatu nabo balaga obwesimbu. Katonda ayagala okubukulakulanya mu buli omu ku ffe.


Okuyiga Okuwulira Edoboozi Esendekerevu


Kiki ku busobozi bw’okugondera eddoboozi ly’Omwoyo Omutukuvu? Kino kibeera kitundu eky’enjawulo eky’obumanyirivu obw’okuyiga, Katonda mw’agezesa okuddamu kw’omukkiriza eri amazima gaamwoleseza. Okugonda kuyigibwa mu bulamu bwo buto era  kuyigirwamu  mubli kiseera. Ekivaamu eri abo abaddamu obulungi kyokka kitera okuba okuggulirwa amazima amalala. Okugeza, tuyiga nti emikisa emirala giba “kukyakalanya” ate okukyakalanya okumu kuba “mukisa.” Okutegeera enjawulo, okunyweza omukisa, n’obutakowa kukyakalinyizibwa, byebimu ku bitundu by’okuyiga obulamu bw’okugonda. Nnina  eddakiika nga ssatu  okuva  omuntu lwakonkona ku mulyango gwa ofisi yange okutuusa lwe mmuggulirawo oluggi. Mu ddakiika ezo essatu kkulu nnyo, ntera okusaba mangu Katonda ampe obusobozi okwewala okukyakalanyizibwa oba okukwata omukisa ogunidiride ku luuyi olulala olw’olujji. Oluusi addamu mu ngeri emu, oluusi mu ngeri endala, naye mu mbeera zombi njagala yaba assalawo. Okulowooza ku nsonga zino kumpaliriza okwaniriza emikisa egy’okukubiriza abasomi nga beetegereza omulimu gw’obulamu bwabwe — ne bwe baba nga tebateekedwateekeddwa kusisinkana nange.


Omulimu Gw’Obuweereza


Bwe tumanya nti omulimu gw’atuteekebwa gukozesebwa Katonda ng’omukisa gw’atuwadde, tuteekwa okulekera awo okulaba emirimu ng’emirimu gyokka. Mu ndowooza empya, osobola okuyiga ekintu ekipya ku kuyamba abantu. Mu nkomerero, tuliwa embalirira eli Katonda, newakubadde nga okuwa ebalirira eri abantu nakwo kukulu nnyo. Omukkiriza akula ategeera kino era ayagala okusanyusa Mukama mu buli mulimu gw’obuweereza. Mu ndaba y’abantu ababulijjo, emirimu gino  gyadirabiika ng’egyabulijjo, oba n’okulabika ng’egitazaamu maanyi, naye gibeera mirimu okuva eri Katonda. “Webale nnyo, omuwereza omulngi era omwesigwa! Obadde mwesigwa mu bintu ebitono; ndikwesigisa ebintu ebingi.” (Matayo 25:21)

Nnayitibwa okwogera eri ekibiina ky’abamisani era  nali mwetegefu okwogera mu kizimbe ekijjude abantu. Bwe nnatuuka, nnasanga abantu babiri bokka. Wadde nga nanakuwala olw’abantu abatono abaaliwo, nakola ekisinga obulungi nga bwesobola. Bwe ndaba kasasiro ku ttaka oba ku mabali ng’oluguudo, ngezako okujjukira omusingi guno era mbulonda wo. Katonda yasitula abantu. Okumaliriza obulungi omulimu ogwasooka byebisanyizo ebikuwesa emirimu emiggya. Olugendo lwa Balunabba okudda e Antiyokiya oluwandiikiddwa mu Bikolwa bya Batume 11 lwandibadde lulabika ng’olutali lwa mugaso nnyo, naye lwakolebwa n’obwesigwa n’obulungi. Yafuuka omuteesiteesi wa Pawulo Omubaka! Oli mwesigwa mu mikisa emitono?


Okugezesebwa kw’Okukkiriza Kwaffe


Katonda emirundi mingi atwala abaana be okuyita mu bigezo eby’okukkiriza. Kino kikwata ku nsonga ezigezesa okutegeera kwaffe ku mazima ga Katonda n’obwesigwa bwe. Obumanyirivu buno obw’okuyiga buzimba okwesiga okutukkiriza okwesiga Katonda mu nsonga ennene ennyo mu biseera eby’omumaaso. Buli lwe tuyita mu kimu ku bino, tuba tweteekateeka obulungi okukwatagana n’ekirala.


Nze ne Char twaweereza nga basumba mu kkanisa entono mu bitundu by’ebyalo mu maserengeta ga Ontario, Canada, okumala emyaka egiwera. Mu kiseera ekyo, nnakkiriza omusajja omu mu kkanisa okufuna ekifo kye yayagala ng’omusomesa w’ekibiina ky’Abakulu ku Ssande. Ennaku ntono oluvannyuma nga nsaba, nategeera nti yali sobi. Yali tannatandika buvunaanyizibwa bwe. Mu ngeri y’obuwobefu nga bwenali sobola, nentonda olw’ensobi yange era ne mmugamba nti waliwo omulala anasomesa ekibiina ekyo. Ekyavaamu kulwebyo empisa ze gyendi ne ku bukulembeze bwange zakyukiira ddala era naatandika okumpakanya. Mu nkola y’okukakanya obusungu bwe, amaka ge n’amaka amalala asatu ne basalawo okulekulira ekkanisa yaffe. Olunaku lumu mumalya gekyemisana , oluvannyuma lw’okukyalira amaka g’omu kwabo eyali akyamiziddwa, ne mpakinga emmotoka yange mu ggalaagi wansi w’ekifo eky’ekkanisa ne nkaaba. Kiki kyenandikoze omwana gwediga omuwere gwe twakulebera eri Omulokozi, obulamu bwe n’amaka ge ebyali bikyuse mu ngeri ey’ekitiibwa, gwe twalera n’okwagala n’obwegendereza, okuba nga yatwawukanako ng’alumizidwa? Olw’ensobi yange, omulabe yafuna kubuwanguzi. Naye obuzibu obwo tebwatuletera kuleka mulimu.


Si kya bbanga ddene, omukubiriza waffe yatukyalira n’atuwa ekkanisa endala. Nnalowooza nti kino kyali kutoloka buzibu. Okutuusa lwe twali twamaliriza ensonga ezo n’ekkanisa ne yeetereeza, ne tusalawo obutagenda. Salina kirowoozo nti obugumiikiriza n’okulemerako Katonda bye yali akulakulanya mu nze byali biteeketeekere okungumira enbeera yomubuyaga gw’amaanyi gye twali tugenda okufuna mu Korea. Bwe nnaddamu okulowooza ku myaka gye twamala mu Canada egyalimu embera eyesanyu wamu neyenaku, nategeera nti byatuteekateeka ku biseera eby’omu maaso. Twanyweza obusobozi bwaffe okugumira okubonabona nga tusigala mu kkanisa eyo n’okulaba ng’ekula wadde nga waliwo amaka agatwabulira. Tetwandisobodde kugumira mubuyaga mu Korea singa tetwayita mubuyanga ezitali zamanyi nnyo mu Canada. Ekigezo kino eky’okukkiriza kwaffe era kyali kigezo kyakwewayo kwaffe. Okuyita mukyo, twategeera okwewayo kwaffe okubeera mu buweereza. Mu Korea, twalekulirwa, twalibwamu olokwe, n’okumalirwamu amanyi. Era twasigala tukyali kumulamwa okuyita mwebyo byona. Ebigezo ng’ebyo biyinza okunyweza omukozi akula mu kwagala kwe okubeera ng’akozesebwa Katonda mu ngeri yonna gy’alaga. Ebeera ndagaano ey’omunda wakati w’Omukristaayo omukozi akula  ne Katonda.  Ekintu ekimu mu ffe bwekifa, ekirala  kiramuka n’amaanyi okusingawo. Naye kino tetukimanya  okutuusa Katonda lw’atuyisa mu biseera byokukiriza   n’okugezesebwa kwokwewayo kwaffe.


Okutendekebwa okw’Etegeka


Ekitabo kino kikubiriza okwenyigira buterevu mukyokola, obumanyirivu n’empisa ez’omwoyo Katonda zayagala okutukulakulanya okusobola okufuuka Abakristaayo abakozi ennyo. Tekikatiriza nnyo ku kusoma bitabo byokka, naye okuyiga okuva mu bitabo kibeera kitundu kinene nnyo mu kutendekebwa okutongole. Yemu ku ngeri Katonda z’akozesa okukulakulanya omuntu. Kuba Katonda ayinza okutulagiriza okusoma mu masomero, tusaanidde era okulowooza ku kutendekebwa okutongole mu ssuula eno.

Okuyiga okuva mu bitabo, emirimu gy’omu kibiina, nezidiguri mukusoma si y'engeri yokka oba  esinga obulungi mu kuyiga butya bwebaweerezamu. Era tebijja kufulumya buweereza ku bwabyo byokka. Naye byongera nnyo ku miganyulo j’omwoyo. Okuyiga okuva mu byetuyitamu  byokka kuba   kwewuzikira kuluda lumu  mu kukulakulana kw’obuyigirize. Okufuna obukugu mu buweereza kitegeeza okuyiga obukugu obuyamba omuntu mukuweereza — amanyi kyakola era nga akikola nobukugu oba atanaaba kumanya bulungi kyakola. Okutwala olusoma mu ssomero oba okwetaba mu lukungaana lw’abakulebeze okutendekebwa kuyinza okutuyamba okukulaakulanya obusobozi obuggya obwongera ku busobozi bwaffe okuweereza. Yiga engeri y’okukwata mu obutakanya, okuteekateeka enjiri, okuteekateeka obukiiko, oba okuteekessa mukola enkyukakyuka, olwo otunuule olabe engeri Katonda gy’akozesa — oba gy’atasobola kukozesa — obukugu bwo obuggya.


Mu mwezi gwa Gatonya (omwezzi ogusoka mumwaka) 1977, oluvanyuma lwe myaka esatu n’ekitundu ku myaaka etaano egy’obumisani mu Korea, natandika okusiiba kwange okw’enaku essatu mubuli mwezi ogusooka mu mwaka. Nga ntambula okuyita munimiro yomukyere ogukwatiride obunyogovi wamu ne balafu mu buvajuba bwa Taejon okumpi n’ensulo zamazzi angokya mu Yusong, Mukama yateeka mu mwoyo gwange okutegeera nti nnali nsaanidde okudda mu masomero. Mu kiseera ekyo nnali nnina diguli ya Bachelor of Theology. Endowooza y’okusoma okusingawo yali mpya, naye namanya nti yava eri Mukama. Nategeera nti ekisinga obulungi eri okusoma kw’omimisani kwekukola omulimu gwe ogwobumisani (missiology). Ekifo ekisinga okubaawo kyali School of World Missions, ekisangibwa nga ddakiika amakumi abiri okuva ku nnyumba yange ey’okuwummuliramu gye nnali nateekateeka okubeeramu okumala omwaka gumu. Okulagirizibwa okwo okw’enjawulo okuva eri Katonda kwakola enkyukakyuka ennene mu lugendo lw’obuweereza bwange. Okusoma eby’obumisani kwongera obulungi ku buweereza bwange era kyafuga nnyo ku mulimu gwange ogw’omu maaso nga ndi mumisani ngatendeka abamisani. Tetulina kuyiga okuva mu bitabo, basomesa, n’ebifo eby’amasomo byokka. Naye obumanyirivu bwaffe busobola okugattibwa ku byo. Okutendekebwa kwo tekulina kuba kwa bumanyirivu bwokka oba kwa masomero gokka — wabula byombi byetaagisa.


Okuzuula Ebirabo


Okugattibwa kw’ebintu Katonda bye yakuwa mulimu obusobozi obuzaale, obukugu bw’oyize, n’ebirabo eby’Omwoyo. Mu lugendo luno olw’okukulaakulana kwo ng’Omukristaayo ow’omugaso, osobola okuzuula ekirabo kyotamanyangako nti okirina. Mu myaka mingi, nasanyuka nnyo mu pulogulaamu z’amasomo ag’okusinga, wadde nga saazuula kirabo kino okutuusa Nga nina emyaka 33. Emyaaka 12 egyasooka egy’obuweereza bwange gyalimu emyaka 8 nga ndi musumba mumabuka g’Amerika n’emyaka 4 nga ntendeka abasumba ba Korea mu tedekero lya Bayibuli  mu Asia. Bwe twaddayo mu Amerika okubeera ku luwummula lwange olwasooka, natandika amasomo gamatikira gange. Oluvannyuma lw’emyaka 12 egy’obuweereza, tebereza essanyu okuzula okukyamukiriza, okuganyulwa, n’omugaso gw’amatikila g’amasomo agamalirizidwa.


Osobola okuba n’ebirabo by’otonazuula. Gezeko obuwereza obw’enjawulo. Bwe waba ng’oweereza mu kkanisa yokka, gezeko okuweereza ebweru waayo. Bwoba tonnatambula mawanga malala, lowooza ku kwogera ne mukwano gyo emimisani oba ekitongole ky’obumisani, era okukyalira ku mulimu gw’obumisani. Tetusobola kutukiriza kiragiro kino ekinene n’okukyalirwa kuno kwokka. Naye okukyaliwra kuyamba nnyo mu nteekateeka ennene ey’okuweereza okw’olubeerera kubanga kuyinza okuba ekikozesebwa ekirungi ennyo mu kusunsula abamisani. Okuzuula ebirabo byo — naddala okuzuula n’okukozesa n’obuvumu ebirabo byo eby’Omwoyo — kitundu kikulu nnyo mu nkulaakulana yo. Okuzuula obuweereza bwo n’engeri gye wekulaakulanyaamu luba lugendo olutaggwaawo era olujjudde essanyu. Osobola  ggwe kennyini okwewunya.


Omuteesiteesi


Wali osisinkanyeko omuntu atabuza obulamu n’okuweerezakwe mu ngeri gye wadyagade okukoppa? Kino si kyakutebereza butebereza kwokwa. Omuntu alina omutima ogw’okuweereza, ogw’okugaba, ogw’okukubiriza — omuteesiteesi — alaba obusobozi mu muntu alina ebirabo ebifaanana naye n’obusobozi obutannakulakulana — omusomi. Omuteesiteesi atwala omusomi okutuuka ku kutegeera oba n’okuzuula obusobozi bwe. Abantu abamu baweereddwa ekirabo eky’enjawulo eky’okutegeera obusobozi mu balala. Mu bwangu baddamu okufaayo ku basomi baabwe, okubalonza n’okubaluŋŋamya. Bwe tunula emabega ku bemanyi abange abasooka ab’omuwendo — nga bali nga mukaaga — ndaba nti abamu ku bo baandaga, ate abalala nze nabanoonya. Oluvannyuma nasoma kye nnali nayigira mu byafaayo byange — nti enkolagana eno esobola okutandikirwa ku muntu yenna ku bombi.

Mu mwaka gwange ogusembayo, omukulu w’abayizi mu ssomero lya Bayibuli eryali etono mwe nnatikirwa yansaba okuba ku kukitabo kyabakozi bomwaka. Namuwuliriza naye nga safaayo nnyo, nga ndowooza ku nsonga nnyingi lwaki nnalemererwa okuweereza. Nali musumba wa bayizi nga nnina obuvunaanyizibwa mu kkanisa era saasobola kussa maanyi mu mirimu egy’ebweru w’essomero. Ku mwaka ge’okutunda kwe, yangamba nti yandyagadde nze mbe omwekeenenyi  w’ekitabo okusobo okugojola esobi eziyinza okubamu — ekyo kyali kya kusoomooza! Okuneyimirira, ne nkolera mu kifo ekyo era nzikiriza nti twafuna ekitabo kyabakozi ekisinga omwak’ogwo. Byonna byali bisanyusa — okukulembera enkiiko, okusisinkana abayizi okuva mu masomero agasoma ekiro nag’emisana, okusisinkana buli muntu ku ttimu okwekkaanya emirimu gye n’okulaga engeri gyonna gye gyali gigattiddwa, okusisinkana omukiise w’ekitongole ekifulumya ebitabo, era okusingira ddala okukola n’omukulu w’abayizi gwe nnatya ng’ennyo. Nzikkiriza nti gwali mwaganya gukulakulanya nga gusizirwa kubeera ezisuka kukufuga kwange.


Ebeer’eyo  yayongera okumanyisa n’omukulu w’abayizi. Oluvannyuma yambuuza oba nandibadde njagala okuweereza mu ssomero lya Bayibuli mu kugenda ku lugendo lw’okuyimba n’okubuulira mu kyeya ekyaddirira oluvannyuma lw’amatikira. Twali tulanga essomero lya Bayibuli. N’olwekyo natambula mu bitundu bingi eby’obuvanjuba bwa Amerika, nga mbuulira mu makanisa n’enzikiriza z’abavubuka.


Nga nanyini mmotoka, nayiga obukulu bw’okutegeeza ku nsonga z’ensimbi nga tetunnaba kukola olugendo ng’ekibiina. Ng’omwogezi wa ttimu, nafuna okukkakasibwa obwetaavu bw’empisa y’okusaba mu ngeri eyobutakowa. Omukulu w’abayizi yali amaanyi ekyukakyuka eyomuguddu ey’obulamu bwange mu kiseera ekyo n’okuyita mu myaka. Nneebaza Katonda olw’omuteesiteesi ono — ekikozesebwa mu mukono gwa Katonda — okuntereza n’okunkulakulanya. Kati nga ali mu kuwummula kwe, nkyayiga okuva ku kyokulabirako kye eky’empisa enuungi, okukola mu ngeri ey’okusanyusa, n’okugumiikiriza mu nkolagana n’abantu.


Ensonga Ezirina Embeera zayo


Ebimu ku bintu bino Mukama by’akozesa okutendeka ffe bisinga okuba eby’embeera — eby’ennono, eby’obufuzi, eby’eby’obulamu bw’ensimbi oba eby’abantu be tuba nabo — okusinga okuba eby’enkolagana yokka. Ebintu Katonda by’ateekateeka mu mbeera z’omu kitundu, ez’eggwanga, n’ez’ensi yonna bifuga okukula kw’omwoyo n’okweyongera kw’obuvunaanyizibwa bwaffe. Bino bye bintu ku byo bye tutalinako buyinza. Tulina omwaganya omunen’ennyo ogw’okuyigiramu bwe tusobola okubitegeera, okuraba  omukono gwa Katonda mubyo, era mubugederevu, mubulungi, era ey’okutetekanya okusinga okubiddamu mu ngeri ey’amagezi g’abantu. Embeera ezimu abantu ze balowooza nti eba ttuko zinyonyolwa ng“ebikozesebwa” eby’ekyama mu mukono gwa Mukama wafe omukugu atwagala.


Mu kyeya kya 1965, ekibiina ky’abantu mu byalo ekyali mu bitundu by’obwabuka mayiro nga 70 okuva ku ssomero lyaffe elya Bayibuli kyali kyetaaga omusumba. Nnabuuzibwa oba nnandibadde nnyinza okuyimirira ku Ssande ezimu. Kino kyadirira okuyitibwa okubeera omusumba w’abayizi mu kifo ekyo. Mu mwaka ogwo gwe naweerereza ng’omusumba waabwe, okukungaana kw’abantu abajjanga ku kkanisa buli mwezi kweyongera — okuva ku 8 okutuuka ku 24 ku Ssande ku makya. Mu mwaka gwange ogusembayo gwonna, nayiga okwesiga Katonda, okwagala abantu, okuwakanya ebikyamu mu abantu n’obukakamu obw’ekitalo, wamu n’obuzibu bw’okuba nga siri mufumbo mu buweereza. Omukisa ogw’okuweereza ng’omusumba w’abayizi gwagattibwa ku kuyiga kwange okw’omu kibiina. Gwanngigiriza ku nsonga endala ez’okukulembera ekkanisa ng’okukuuma ebitabo by’ensimbi n’okwagala abantu bonna awatali kusosola.


Era nate, okulodebwa tekwali mukusalawo kwange, naye Katonda yagukozesa ng’ekifo ky’okukula mu bulamu bwange. Obwesigwa bwange eyo n’olugendo lw’okubuulira mu kyeya ekyaddirira oluvannyuma lw’amatikira gange byadetera emyaganya emirala. Nayitibwa okuweereza ng’omusumba adirira omusumba omukulu n’okubera omukulembeze w’abavubuka mu emu kukanisa enene yenzikuriza yafe mu bitundu by’Obuvanjuba mu kiseera ekyo. Katonda yali akozesa embeera y’ekitongole n’embeera z’abantu okukunza. Nnali nngiga okubeera omwesigwa mu buli mulimu gw’agaba.


Kati ate ggwe? Watya mu mbeera zo, osobola okutandika okulaba  mukitangala kino ekimpya? Okukkiriza nti Katonda afuga, ne bwoba nga sigwe? Kiki Katonda ky’ali okukuyigiriza mu byo?


Enkyukakyuka Mu Ndowooza


Enkola y’Endowooza (paradigm) ye nkola y’amagezi gye tuteekamu endowooza zaffe — enkola gye tukozesa okwekenneenya ebyetooloode obulamu bwaffe. Emirundi egimu, ebintu ebizibu ennyo bituwaliriza okukyusa oba okugaziya endowooza yaffe mu ngeri ey’amaanyi ennyo okutuusa lwe tufuna enkyukakyuka mu ndowooza. Enkyukakyuka ezo ziba za maanyi nnyo, n’olwekyo okutuuteekateeka ku zo — oba okutufuula abaagala okuzikkiriza — Katonda alina okukozesa enkola ez’amaanyi.

Enkyukakyuka mu ndowooza zitera okuleetebwa ekizibu ekinene — Ekifo ekyekyukakyuka. Mubeera ezibu, enkyukakyuka mu ndowooza kigendererwa kya Katonda. Awatali ndaba eno, tulaba buzibu bwokka obw’ekiseera ekyo, ate nga mazima ddala buba bwa Katonda okutuukiriza ekigendererwa kye, — okutukulakulanya n’okuleetera erinnya lye ekitiibwa. Katonda akozesa obuzibu obumu oba obusingawo okutulaga endowooza empya ennene ku ye oba ku buweereza bwaffe gy’ali. Endowooza eno empya etuleetera okuwulira ng’abantu abaabadde basibiddwa mu nkola etono ey’amagezi ate kati abasumuluddwa. Endowooza empya kuvubula kwasanyu okwongera mubusobozi bwaffe okuyiga, newakubadde ng’enkola eno nzibumu.


Olw’enkyukakyuka mu ndowooza, tusumululwa okulaba ebintu mu ngeri empya. Tuyinza okuyita mu kusomozebwa okumala ebbanga eddene okukitegeera. Oluvannyuma lw’ebbanga, tutegeera mu bwongo kye twafuna era tusobola okukitegeeza mu bigambo. Okukyuka kw’omuntu okuba Omukristaayo kwegamba kirimu enkyukakyuka mu ndowooza. Okukyuka kwa Pawulo, nga bwe kwawandiikibwa mu Bikolwa by’Abatume essuula 9, kye kyokulabirako ekisinga obulungi.


Enkyukakyuka yange esinga obunene yajja mu kizibu ekinene mu buweereza kye nnayitamu mu kaseera  kyekyeya kya 1979. Ekibinja ky’abantu mu kkanisa yaffe mu Korea kyagaana obukulembeze bwange. Okuyita mu kizibu kino n’okusiiba okwakigoberera, nayiga okutegeera eby’omwoyo, nayiga nate amaanyi g’okusaba, era nafuna amagezi ku lutalo lw’omwoyo. Era nayiga nti ne bwe mba nga ndi mutufu, singa empisa zange si nnungi, mba ndi mukyamu. Singa tewali munnamawulire munene gwe nnayitamu mu kiseera ekyo, sandibadde ngategeera amazima gano amazibu.


Okuyiga okuyita mu kizibu kyetaaga okuddamu mu ngeri entuufu ku kkizibu ekya maanyi Katonda ky’akozesa okutugezesa n’okututendeka okwemalirira. Okuddamu mu ngeri entuufu kwetaaga omwoyo oguyigirizika. Okumalirira okw’amaanyi okugenda munda mu mutima gwa Katonda mu ntandikwa y’ekizibu kusobola okutuyamba okukiwangula. Ekivaamu ku nkomerero ye mukozi wa Katonda omunywevu, alina obumanyirivu obuzito ku kwagala kwa Katonda n’obusobozi obusingawo mu by’omwoyo. Engeri gye tuddamu mu kizibu y’ensonga enkulu. Mazima, okuddamu kwaffe kwe kintu ekikulu — mu nteekateeka ya Katonda, okuddamu ku kizibu kusinga n’okukigonjoola. Engeri gye tukuliramu y’ensonga enkulu.


Okukwatagana n’Ensi Etalabika


Ensi etalabika etambula n’ensi elabika. Ebizibu eby’obulamu bw’ensimbi, eby’obufuzi, eby’abantu, eby’amaka, eby’obuweereza n’ebirala byonna by’omu bulamu biba bizito nnyo era bizibu okusinga bwe birabika ku ngulu. Omukristaayo akula ayiga okutegeera engeri ensi etalabika gy’efugaamu ensi elabika. Obuweereza bwaffe bulina emitendera ebiri egy’emirimu. Omutendera ogusooka gwesigama ku kusobola okutegeera “ebikolebwa mu kyama” mu nsi y’omyoyo, ebisobola okuleetera Omukristaayo okufuga embeera ezirabika. Abantu sibebalabe;  wabula Sitaani. Akozesa abantu ng’“ebikozesebwa,” naye tetulina kulwana n’ebikozesebwa. Tulina kulwana ne Sitaani era twagale bakozesa. Mu mbeera eno, bakozesa nabo bali mubuwambe, basibe era abetaga okununulwa. Omutendera ogwokubiri ogw’okukola kwe kwakwenyigira  mu kisawe kyebikwatibwako kwebyo ebimaze okolebwako mu nsi eyomwoyo okuyita mukusaba. Omutendera ogusooka bwe gukolebwa obulungi, ogwokubiri guba mwangu.


Mu mirembe gya Eriya, waaliwo enjala eyamala emyaka esatu bweddu. Enjala yalabika mu mbeera ey’oku nsi, naye waaliwo emirimu mingi egy’amaanyi mu nsi etalabika. Okuwakana kw’amaanyi g’emyoyo kwatuuka ku ntikko ku Lusozi Kalumeeri, Eriya — omusabi ow’amaanyi — mulujude lw’abantu yakowola Katonda okusidiika omuliro okuva mu ggulu. Okwo kwali kuwakana kw’amaanyi. Olutalo lw’omyoyo n’okuwakana okw’amaanyi bituyigiriza okumanya esibuko y’ebizibu mu nsi ey’omyoyo ebirabika mu nsi ey’obutonde. Olutalo olwadala lw’amyoyo era lulwanibwa n’ebikozesebwa eby’omwoyo. Bwe tuwangula, si lutalo lwokka oluwangulwa, naye n’omulwanyi akulaakulanyizibwa. Mu bigambo ebirala, si mulwanyi yekka akulaakulanyizibwa, naye n’olutalo luwangulwa. Ebintu byombi bya mugaso nnyo, era Katonda afaayo ku byombi.


Ojja kukijjukira nti waliwo amaka 4 agava mu kkanisa yaffe mu kyalo kyetwalimu mu Canada? Tweyongera okusiba n’okusaba bulinjo okusobala okunvunuka ebizibu ebyo. Twategeera nti olutalo olutuufu lwali lutalo lw’amyoyo  olwaleetera amaka ago okwabulira ekanisa. Tweyongera okusaba era Katonda n’addamu! Mu kiseer’ekyo, abavubuka abagudivi balokoka era ne bafuka ababuulizi b’Enjiri mu bavubuka b’omu kitundu kyaffe. nekolera njange ne mukyala we nabo batandika okujja mu kkanisa yaffe era ne baleeta endowooza empya nnyingi. Bino byonna byali mu kiseera kye twali mukusosolebwa okw’amawanga n’okuvuganyizibwa okw’amaanyi. Kubanga tweyongera okusaba, Katonda yatuwa empeera yokukiriza kwaffe n’atukubisamu obungi.

Okumegana nga bwekyali mu nsi y’omyoyo, nazula ebintu ebiwerako mu biseera byange ebyokwegayirira by’okusaba okw’amaanyi n’okusiba. Okusaba kunafuya emizimu. Ffe tuyinza okuwulira nga tunafuwa, naye mu Mwoyo tufuna amaanyi agasingawo. Era okukuba engalo nga tusaba kutuyamba okussa ebirowoozo byaffe kukusaba mu biseera ebimu. Tukkakana bulungi essiira netuliteeka ku kintu kimu. Emirundi mingi kino kiyamba mu kusaba nga mu ngeri ey’akabonero tulwana n’omulabe era tujaguza amaanyi ga Katonda. Okutendereza Katonda domboozi erilumba badayimoni, nga eddoboozi ly’amazindaalo oba ebidde mu matu g’abantu. Laba ekifananyi ekibeera mu nsi y’omyoyo emizimu nga giwoowola era nga gidduka olw’eddoboozi ly’okutendereza Katonda. Okusaba nga tuyambibwako Mwoyo Omutukuvu kitusobozesa okusaba nga tugoberera ekigendererwa kya Katonda, ne bwe tuba nga tetumanyi bulungi nsonga ez’enjawulo ze tusaanidde okusabira (Abaruumi 8:26, 27).


Waliwo ebintu bibiri ebitakola makulu bulungi mu ndowooza zaffe okusiziira ku mugundu ensi y’omyoyo gy’efugaamu ensi ey’obutonde. Ekimu kubyo kwe kukkiriza nti buli kizibu kyonna kiva mu lutalo lwa myoyo. Tulina okujjukira nti tubeera mu nsi eyaggwa era nti ebintu ebibi bituuka ku abantu abalungi. Si buli nsobi nti eva ku Sitaani. Ekitakola makulu ekirala y’endowoza nti tewali lutalo lwa myoyo mu butakanya n’ebizibu by’obulamu n’obuweereza bw’Abakristaayo. Tulina okujjukira nti waliwo omulabe atalabika atera okuleeta ebizibu.


Nelwakubadde tuyinza obutamanya ekola omulabe gya tadikamu ebizibu Nga bino, Katonda akola okutukulakulanya mu mbeera zonna. Ye mukozi omukulu atalabika mu kazanyo k’obulamu. Mu bigambo ebirala, buli kizibu kirina ekitundu eky’omwoyo; era tusobola okuyiga ekintu mu mbeera zonna, ne bwe kiba kyonna — wadde nga kya kuyiga ku nkola y’obulamu yokka.


Okutendekebwa mubukugu  olw’omulimu


Kyona kyolinamu obukugu, Katonda ebiseera ebisinga akola okuyita mu bakozesa ne bokola nabo okukulaakulanya obusobozi bwo. Okutendekebwa mubukugu, emirimu gy’olagiddwa, n’obumanyirivu obw’omulimu bisobola okuba ekitundu ku nteekateeka ye era ne bikuyamba okukuzibwa. Okuyita mu bakozesa  mu mirimu gyo, Katonda akuwa okutegeera okupya okugaziya obusobozi bwo n’obuvunaanyizibwa bwo. Mu biseera nga waliwo omulimu ogukuweredwa, oyiga obukugu obupya. Era osobola okufuna okutegeera okupya ku kitegeeza okutumbula omulimu n’okukulakulanya abalala. Mu bufunzi, emirimu egy’obukugu giba bikozesebwa bya Katonda okukufuula ow’omugaso ennyo eri abakozesa kumulimu n’eri Mukama wo.


Mu sekendale, nga neteekateeka kulwomulimu gw’obusumba. Mu kyeya ekyali wakati w’omwaka gwange ogw’okusatu n’ogw’okuna, nnasabibwa okudda mu kkanisa y’omukyalo eli okumpi okuba omusumba waayo. Ndaba omulimu ogwo ng' ekitudu ky’ekisumuluzo Katonda mu teekateeka y'okutendekebwa kwa Katonda. Gwanngigiriza amasomo ku kusaba, okusiba, obwesigwa, okugumira, okwewaayo, okussa ebirowoozo, empisa mu kuteekateeka enjiri y’okubuulira, n’engeri y’okwagala abantu.


Tunulako emabega ku buvunanyizibwa bwe watukirizza edda, era owandiike amasomo gewayiga. EKyo kituyamba okutegeera kiki Katonda kyeyatuyigirizza. Okuisingira ndala kusikiriza bwe tulaba okuterezebwa wakati w’ebyo byeyatuyigiriza mubisera ebyayita n’eby’o byatuyingirizal kati.


Mu mwaka ogwo, natambula okugenda mu kkanisa emanyiddwa ennyo eyitibwa Cathedral of Tomorrow mu Akron, Ohio, okugenda ku kusaba kw’omwaka omupya okwa Rex Humbard. Bwe nnali njogera n’abantu ab’omu kkanisa ku lugendo luno, nnalaga nti nsobola obutagenda. Oluvannyuma nakyusa endowooza ne ngenda. Kyesasobola kukakasa mukaseera ako, nange  kennyini, kyali nti saayagala kugenda nabo kubanga bali bantu babulijjo abomukyalo. Nga ndi mu kkanisa eyo, nasisinkana omukulu w’essomero lya Bayibuli, mukyala we n’abantu abalala be nnali mmanyi. Okusaba kwali kulungi nnyo, era  nezira mu kkanisa gyesumba mukyalo. Besumba bwebaamala okukiteegera nti ngenze, naye nga siri nabo, omu ku bazadde b’abavubuka yanenya butereevu:

 “Wayagade okugenda; naye nga toli naffe.”

Nnejjusa nnyo olw’amalala gange okuba nga saayagala kwetaba nabantu Mukama beyanesigisa. Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga, abamu ku bavubuka bange bajja ku mukolo gw’okumaliriza okusoma kwange. Ne bwe baali balabika nga bali wala nnyo ku mbeera yange ey’ebyamasomo, nasanyuka nnyo era n’omwoyo gwange ne gukwatibwako nnyo olw’okuja kwabwe.

Jjukira ekibuuzo: “Kiki kyenina okuyiga mu kino?” Mu kusomo, tekibangako kibi omuyizi okubuuza omusomesa nti ekifaananyi kino kitegeeza ki. Obuvunanyizibwa bwaffe obw’ekikugu kwe kunnyonyola ebyo Katonda byakola, era emirundi egimu twetaaga okuyambako okufun’ensonga. Kisinga nnyo okubuuza okusinga obutategera songa. Enkola za Katonda mu kutendeka ziraga biki byali okututeekerateekera. Tusobola n’okulaba ekola ezigya zediggana  , amasomo agaddayo n’okuddamu okwekkaanya. Bino biraga Katonda by’ali okukolako mu ffe. Essomo bwelibanga ly’amugaso gy’ali, n’eri ffe lirina okuba ly’amugaso. Obulumi bwaffe buba bwabwerere singa tetufuna musomo oguli mu bwo.


Okweyawula


Nga basawo mu malwaliro bwe batera okwawula abalwadde abali mu mbeera ez’enjawulo ne babateeka mu kifo ky’okuba bokka, ne Katonda mubugenderevu ateeka abakozi be mu biseera ez’okuba bokka. Ayinza okwawula omukulembeze okumala ebbanga, silwakubanga amumalirizza, naye lwakuba tannamalirizza naye. Katonda ayinza okuba nga akozesezza buli kintu ky’ayinza okuyita mu ye okutusa ngoy’omuntu akulaakulanyizibwa era atambuzibwa mu kuteekateeka kwe. Ebbanga ly’okuba “ku bbali” liba kiseera kirungi okubuuza nti, “Kiki kyenina okuyiga mu kino?” oba “Mukama, kiki ky’oli okungamba?” Olwo ekigendererwa kya Katonda mu kutwawula n’emirimu gyaffe egyabulijjo kisobola okutuukirira mu bujjuvu. 


Kiyinza okuba ekiseera ky’obulwadde, okuganibwa okuweereza mu lujjudde, okuwa omuntu ekifo ekya wansi mu bugeederevu, okugobwa, okwezamu amaanyi oluvannyuma lw’akabenje, oba wadde okuteekebwa mu kkomera. Mu biro ebiyise, nze ne Char twawuliriza omwogezi eyali ayogera n’obuziba obw’amaanyi okumala essaawa nnya. Yatugabira amagezi amalungi ennyo ge yayiga mu kusoma Bayibuli ng’ali mu kkomera. Singa obuweereza bwe bweyongera nga bwebwalabika okukulanana mungeri eya mannyi, yandibadde muwereza wamanyi nnyo. Naye kubanga yabikula omutima gwe mu nkola ya Katonda ey’okwawulibwa, yafuna okutegeera okw’omwoyo okw’amaanyi ennyo.


Tetulina kutya Katonda bwatekawo mubugenderevu ebeera etukuumira mu kwogerezeganya naye. Ayagala, yetaaga, era agwanidde okuwuliriza kwaffe kwonna mu biseera nga bino. Mu mazima, ekyo kye kigendererwa kennyini.Okwawulibwa kuggyawo ebibuzabuza era kutuyamba okuteeka ebirowoozo byaffe wamu n’okuwulira. Omukulu w’okukulakulanya abantu mu Bwakabaka bwa Katonda ye Katonda omufuzi, era ajja kukozesa okwawula mu bugenderevu kulwekigendererwa kye..


Singa weesanga mu mbeera ey’okuba wekka, toyonona kaseer’ako ngo olowoza ebibi. Twala omukisa gw’omwagaany’ogwo okusalawo kati, mungeri endala kyusa endowoozayo osobole okutebereza Katonda kyayogera. Empisa eno ejja kukyusa obulamu bwo. Katonda afaayo nnyo ku kukulaakulana kwo okusinga ku bugumu bwo. Yetaaga okutegeera kwaffe — ekyo kye kigendererwa ky’okuba ffekka.


Okukkiriza Enzigi Ezisiddwa n’Okusonyiwa Abantu


Mutandiikwa nayogera ku mukwano gwange mukozi munaffe ow’amagezi  nze ne Char twakolagana naye  mulbuminsani bwaffe obwasooka. Yakozesa emmotoka, ate ffe twasota bugali. Yalina ensimbi ez’omulimu ez’okuyambako abagenyi, ate ffe tetwalina. Yalina omuwandiisi amuyambako olunaku lwonna eranga abeeranga neffe mu nnyumba! Naye newaakubadde nga twalaba obutali bwenkanankana, twagumira embeera yaffe. Twawulira nti enkolagana z’abantu mu mulimu gw’obuminsani zitera okuba n’obuzibu, era twamalirira okuweereza mu bwesigwa. Twasabira embeera eyo, ne tugumiikiriza, era twali tutambula bulungi.


Lunaku lumu, omusomesa omugenyi okuva mu kibiina ky’ezzikiriza yaffe yatukyalirako munnyumba yaffe. Mu kisa ky’obusumba, yatubuuza oba waliwo ebizibu bye twagala okuteesako. Yatugamba nti ategeera nti emirundi mingi abaminsani babeera beetaaga omuntu gwe bayinza okuteesa naye. Yatuwa omutima gwe n’okuwulira emirrembe muffe. Mpolampola ne tutandika okumutegeeza ku nkolagana yaffe nemunaffeffe, omuwandiisi eyayamba  omulala naye nga abeera mu nnyumba yaffe, emmotoka yavuga nga naye ffe nga tusota bugali, ’esasanya y’ensimbi z’ez’omulimu nga ffe tusasula byonna okuva mu nsawo zaffe. Omugenyi waffe yagamba nti ayagala okusaba naffe ku nsonga zino zonna. Twawulira nti okwagala kwe okutegeera eby’omunda mu bulamu bwaffe bw’abaminsani kumaze okumatizibwa era ne twesonyiwa ekintu ekyo. Era kyakoma awo.


Amangu ddala ng’omugenyi avudde mu nsi, munaffe eyali alina ebirabo byonna yampita n’ansaba nze ne Char tugende ewuwe. Twategeezebwa mu lwatu nti twamenya amateeka g’obuminsani bwaffe olw’okutegeeza omugenyi ku nsonga z’omunda mu mulimu gw’obuminsani. Twagambibwa nti tetwalina kukubaganya ku nsonga z’obuminsani n’abagenyi nate. Newaakubadde nga twawulira nti tetwategeerwa bulungi, twaddamu okugumiikiriza. Mu myaka egyaddirira, twayiga okusonyiwa n’okuleka ebigambo ebyo. Tweyongera okuweereza mu ngeri ey’ebibala mu Korea okumala emyaka munaana oluvannyuma lwamunaffe oyo okugenda. naffe twaddayo mu Amerika  oluvannyuma lw’okuleka ekkanisa mu mikono gyabbanansi ba korea.

Bwe twadda mu Amerika, twatandikawo ekkanisa mu nzikiriza yaffe. Mu kiseera kino, namaliriza emisomo gyange era ne tuyamba batabani baffe okutandika amasomo ga yunivasite n’okugoberera ebirubirirwa byabwe. Oluvannyuma lw’emyaka etaano, twalowoza  okuweereza mu kitongole ky’obuminsani ekyezikiriza yaffe. Oluvannyuma twazuula nti tetukyayanirizibwa. Tetwamanya lwaki, naye tweewuny’oba  kyava mubutakanya n’enkolagana ezibu gyejjogendeko wagulu. Bwe tunulako emabega, Katonda atatera okugala olujji olumu okutusikiriza okuyigirira mu lujji olulala. Olw’olujji ogw’obuminsani mu nzikirizza yaffe okugalwa, twagenda mu China nga twetegese ffe ffekka. Twayigayo ebintu eby’omuwendo ennyo ku mubiri gwa Kristo bye tutandisobodde kuyiga singa twasigala mu zzikiriza emu. Ekkanisa mu China egamba nti kati babeera mu kiseera eky’a byazikiriza, era ekyo kitufu nnyo. Kati mu mbeera ey’ensi yonna n’eby’ezikiriza ebitali bimu, ntendeka abaminsani n’abasumba okuva mu nzikiriza ezenjawulo n’amasomero agatali gazikiriza okuva mu mawanga mangi omuli ne Amerika. Katonda akola bulungi nnyo wonna we tumugondera — munda oba bweru w’enzikiriza.


Obutategeeragana kutera okubaawo, era Katonda akukozesa okugala ezijji. Mu nkola y’okugala ezijji, tulina okuyiga okulaba omulimu gw’omukono gwe era tetufuuka babbi eri abantu ababadde mu nsonga eyo. Agala  olujji olumu kubanga alina ezijji endala zayagala okutuggulirawo. Singa twemulugunya ne tukaaba  olw’olujji olugalidwa — oba ekisingawo okugezaako okulumenya — tetujja kubeera beetegefu okusanyukira okunoonyereza n’okuyingira  muzijji Katonda zagguddewo mu kisenge eky’okumpi. Ezijji ezegguddwa zisanyusa nnyo okuyingiramu. Naye mu kusonyiwa abo abaziba ezijji, tuyiga amasomo agatutekateeka okuweereza mu mikisa emipya. Olujji lwonna olugaddwa lusobola okuba akabonero nti Katonda alina ekintu ekirala. Obukambwe n’obutasasira bitunuulira ebyayita era bivaamu okufa kw’enkulaakulana. Teekateeka amaanyi go mu kunoonya “ekintu ekirala” Katonda ky’alina. Kisinga obulungi okufuna enyinnyonyola ennungi ku buli lujji olugaliddwa.


Okwefuga kuyamba okwewala okwemulugunya. Nga tukyali mu mbeera eyo, tulina okubeera abasomeseka. Tuteekeddwa okwebuuza bulijjo nti, “Katonda ayagala nngige ki mu mbera  eno?” Okufuga endowooza zaffe mu nsonga zino kutuyamba nga tuyiga okwefuga mu bitundu ebirala muby’obulamu bwaffe. Mu ssuula eddako, tujja kwekenneenya empisa enkulu ey’okwefuga okutusobozesa okuba n’ebibala mubifo bingi ebyenjawulo. Empisa y’okwefuga n’okwegoberera zituyamba okuba n’ebibala mu bitundu bingi eby’obulamu — ebimu ku byo bigenda kukwatibwako mu ssuula eziddako.