EMPIISA EY’OKUSATU: YIIGA OKWEFUGA


Empiisa z’Abakristaayo Abakola Obulungi Ennyo

“… leka buli busobozi bwona bugateko … okwefuga … kubanga singa gwe ofuna emiganyulo gino mu muwendo ogwogedwako, kijja kukuuma  obutaba muntu antagatako muwedo era abatabala bibala…” 2 Peter 1:5–9


Ekitabo kino kiva mu byayita byange okuva ku ssemaziga ssatu wamu n’emisomo emikulu okuva mu Bayibuli. Twekenneenya omutwe gw’okweyongera mu bukugu mu bitundu ebikulu eby’enkulaakulana y’omuntu, okusaba, okusiiba, eby’obulamu, eby’ensimbi, eby’obufumbo, okulera abaana, okukuleembera abantu eri Yesu, obuwulize n’okugumiikiriza eri Katonda. Tukirabye nti okwefuga mu kuyigira mu bumanyirivu bwaffe kuleeta enkulaakulana mu bulamu bw’omuntu. Kati, essuula eno mubujjuvu etwajulira omutwe gw’okwefuga. Era okuyita mu kusoma kuno, tujja kulaba enkozesa nnyingi ez’omuwendo ez’okwefuga. Awatali kwefuga, tetusobola kufuuka kising kuffe obulungi nga bwe twadisobode. Okweyigiriza okuba abempisa mubuwereza bwaffe nga tuwereza  Katonda kitwetaagisa okwekebera ffe kenyini. Abakristaayo tebetaga kwewandiisa budde bwe bakolerede mu, wadde omuntu kalabalaba okubasaba obukakafu obulaga obudde bwebamaze kubuvunanyizibwa bwabwe. Mu buweereza bw’Abakristaayo, tuteekwa kuba bantu abetandikira. Kyangu nnyo obutaba wa mpisa. Bwe tutolotooma mu kifo ky’okuyiga, oba okwebaka mu kifo ky’okusaba, tewali alina kutulanga ku nkomerero. Tewali nomu ajja  kutugambako “tewali ajja kugamba atukozesa” — ye yakimanya dda. Naye mu buwagwa bwonna mw’obeera, abo abagala okwesamu empsa  bamaliriza n’obuwaguzzi ku nkomerero.


Okweyigiriza empisa nga gwe, nkola yabulamu bwona. Empisa mu kifo ekimu mubulamu bwafe kitumbula okwagala empisa mu bifo ebirala. Okufuba okuba abasinga obulungi kulw’ekitiibwa kya Katonda kutufuula okutegeera enkolagana y’empisa okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala. Empisa ennungi mu kitundu ekimu eky’obulamu bwafe zireeta emirembe n’ebibala mu bitundu ebirala. Bwe tumala okufuna ebirungi ebiva mu nkola n’enteekateeka mu kitundu ekimu eky’obulamu bwafe, mangu twetaga ebirungi ebyo mu bitundu ebirala ebyali bitakola bulungi.


Emigannyulo Gya Buli Lunaku


Tosannyuse  nti tolina kusalawo ddi, wa, oba oteerez’otya enviiri zo buli lunaku? Sikyangu nga tolina kusalawo ddi, wa, ommwe otya oba okusala ekirevu kyo buli lunaku? Genda bugezzi ku lugendo olwo lukuggaana mukifo ekyesude ewalako, kino kikyakalanya enkola zino ezigobererwa buli lunaku era kikuwalirize okuteekateeka n’okulowooza ku ngeri gy’oyinza n’okubikola mu. Kino kijja kukujjukiza ebanga lingi litya elyononebwa mu kukola okusalawo okutali kukulu nnyo. Enkola ezabulijjo zisobola okukozesebwa obulungi mu kukekkereza obudde olwekigedererwa, era tetulina kweganya ennugi. Singa enkola ezabuli lunaku ziba tezitwala budde mu songa etono mu bulamu,awo ziba n’obusobozi mukutasa obudde obusinga nemunsonga ennene.


Bye tudiggaanabulijjo, osobola okulowooza mu, salawo omuludi gumu,oluvannyuma olyoke obitekese mukola buli lunaku, buli wiiki, oba buli mwaka. Mu kusalawo mpisa ki z’okutrrkawo, ekola . Bw’omala okulonda enkola, kisigalawo okugoberera eyo ey’omugaso etadiika okusa mukola. Bw’osalawo  ekola ey’okudiggaana ekintu buli lunaku, efuka songa yakugoberera kasera kona. Nnateranga  okukyawa okulabula omusawo wamannyo. Nalin’elinnyo oba abiri agali galina okujjuzibwa, era saayagalanga kusomesa butya bwenina okulogosa amannyo gange akasenya gye katasobola kutuka! Mu kyeya kya 1983 bwe twali mu kuwummula, nakola omulimu munene ku mannyo gange ogw’okugalongoosa. Oluvannyuma lw’ekyo, nasalawo okweyongera mu nkola yange ey’okusennya emirundi ebiri buli lunaku n’okukozesa akaguwa okusobola okujayo ebiwagamidde mumasekati gamannyo akasennya gye katasobola kutuuka bulijjo. Okuva olwo, sadamu kuba nalinnyo dwadde okumala emyaka 19 bweddu. Lwakuba nejjusa singa nasalaw’okola ekyo mubulamu bwange obwasooka, ndi musannyufu nti nakisalawo mangu nga bwenasobola. Sikyalina buzibu nakusalawo oba sennyese kasenya oba kukozesa akaguwa okulongosa amannyo gange — nkola byombi bulijjo olw’ekusalawo kwe nakola lumu. Kino kiyinza okulabika ng’eky’okusagirira, naye kiraga obulungi okugannyulwa kw’enkola yabuli lunaku.

Ebintu ebikulu bye by’omusingi ku nkola ennungi. Ebikoma kumutima n’ bitera okepulira eyejjawulo tebyesigamwako nnyo kubintu ebiskiriza mukukola okusalawo okulungi. Essuula eno etuwa ebifo ebiwerako bye tusobola okwekenneenya n’obwegendereza. Bw’otandika okuteekateeka olugendo lwo, nobwegendereza kola okusalawo ngosiziira kubintu ebikulu era eby’omugaso, wabula sikugoberera mopurira ya mutima gwa yoka. Oluvannyuma okole buli kusalawokwo ng’okigenderede, kola ekirala kimu — yiga okugoberera kye wasalawo. Okusalawo okulungi kutuletera “okubukira mubire” okutuuka ku kifo ky’etuuko yaffe. Okugeza, eno y’enkola yange eya buli lunaku: ngolokoka ku maky’ennyo, nsaba, nsoma Bayibuli, nsiba olunaku lumu buli wiiki, nsoma, nteegekera ebibiina byesomesa, kuuma obudde bwa ofiisi, ziramu okukubira abo ababa bakubide kusimu yange, nzanya essero oba nziruka, nkola diyiro, era ku naku za sande mpumula. enkola zino ezabli lunaku zikuuma omubiri gwange mu mbeera ennunji , era mungeri eyawagulu ennyo zigasiza embeera y’obulamu bwange.


Ku Kulowooza n’Okukaliriza amaso


Nasalawo lumu nti sijja kwesigama ku birowoozo ebibi. Nkozeseza okusalawo kuno emirundi mingi. Ekyawandiikibwa kikirambika bulungi nti tulina “okumenya empaka zonna nabuli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n’okuteegera  kwa Katonda, era nga tujeemulula buli kirowooza okugondera Kristo” (2 Abakkolinso 10:5). Nnasalawo kino nga bukyali. Kati, bwe mbeera mu ndowooza embi, nteeka mukola etegeeka yange ey’okusaba, okwefuga, empisa ez’omwoyo, n’okwesigama ku Katonda. Ne mu kusaba — nga ndi nzekka oba mu kibinja — emirundi egimu mba n’ebirowoozo ebibi oba eby’obuwemu. Nasalawo nga bukyali nti bwe binnzijira, nzija kubiziyiza, okubirwakanya era biwagule.


Abamu bagamba nti newaakubadde nga badayimoni tebasobola kumanya birowoozo byaffe byonna, basobola okusikiiriza ebirowoozo bya ffe. Kino kitegeeza nti badayimoni bayinza okuteeka ebirowoozo ebimu mu ndowooza yaffe —naddal’ebyo byetutayagala. Twetaga okubifulumya. Okufuga ebirowoozo byaffe kwetaaga okwefuga. Badayimoni ddala tebalina maanyi manji nnyo ob’obuyinnza okutukema n’ebirowoozo ebibi nga Abakristaayo abamu abatya zidayimoni bwe bagamba. Naye badayimoni nga beeyambisa ebirowoozo ebiva mu magezi g’abantu ang’ebirowoozo ebibi. Bagezaako okwogera kububi bw’ebirowoozo ebibi okuba ebw’amaanyi ennyo oba okwongera kubanga okusinga bwe twandibadde tubirese mu kufuba kwaffe okw’okubeera abatukuvu n’abatuukirivu. Tulina okubiwakanya.


Nga ndi n’ekifaananyi kyange ekizadde nnyo, nkola ebirowoozo ebibi ebyenough nze kennyini nga sikyetaga buyambi bwa Sitaani. Alina obusobozi okwetuusa ku ndowoozo yange entono ennyo embi n’agyongerako amaanyi okutuusa lwe gifuuka ndowoozo mbi nnyo. Nasalawo okwewaayo okugoba omutandisi gw’ndowoozo eyo wamu n’omugenyi atambula nayo mu bwongo bwange. Olugendo lw’obulamu lwanguyira nnyo nga tetulina bakozi batambula naffe abatetaagisa. Sitaani bwe yeeyongera mu kukola kwe, ayongera obubi mu bulamu. Bwe mmutegeera mu bubi bwe, nteeka amaanyi gange mu kkubo ery’omulembe. Mu kusattulukuka kw’okusanyukira n’okukyawa ebirowoozo ebibi, tufirwa obusobozi okusalawo. Ndaba nti kyangu okussa mu nkola ekisalawo kye nakola dda okusinga okukola ekisalawo ennungi nga ndi mu kisaafu kino. Ebisalawo byange eby’edda bifuga ebirowoozo byange — n’okutunuulira kwange.


Ekifaananyi kyange mu kufuga okutunuulira kwange kiva mu ssuul’emu Yobu mw’ayogerera ku mpisa ze:

 “Nalagana namaasogange obutatunula nakwaka eri omuwala.” (Yobu 31:1).

 Nga kyakulabirako kyamugundu! Emirundi egimu abayizi abawala gye nkola ku yunivasite kino tebakyaguya. Nandyagadde okulowooza nti tebandyabadde ngoye ziraga mibiri gyabwe obugiye obubatipa bwebaba nga bamanyi kino bwekiyisa abasajja. Naye, kikakatibwako  okufuga okutunuula kwange ko n’ebirowoozo byange. Nasalawoko akaseera akamu emabega nti bwe mba njogera n’abakazi, nzija kutunuulira amaaso gaabwe obutagassa wansi wabwe wona. Nkozesezza enteekateeka eno emirundi mingi mu kaseera katono nnyo. Mukaseera katono ekola eteekateeka eno nali tandiise okukizula mukaseela katono emirundi egisinga, ebirowoozo bw’okwaka bwe bimbaka,  ngezaako okulaba omwoyo gw’omukazi, okwagala omwoyo gwe, n’okumusabira nga Katonda bw’adyagade nkole. Era nasalawo nti singa mba n’obuzibu okukikola, tegeeza mukyala wange Char ne musaba tukisabire. Annyambye nnyo mu biseera nga ebyo, era bulijjo badde musanyufu kuba mbade mwerufu gy’ali.

eky’okulabirako kikino eky’omuwendo gw’okukola okusalawo ng’obudde tebunayita n’okumala okweyigiriza empisa ffe ffeka ng’embeera zituyinze obunene. Ku yunivasite gye mpeereza, tulina ekifo eky’okufulumizamu ebiwadiiko ekirimu emigogo esatu egy’abantu we balindirira okuwerezebwa. Lunaku lumu nnali tuse mukifo webakolera kuba kasitoma nga nindiride ebiwadiiko byange, omu kubaliko abayinzi  bange abatikirwa oluvanyuma lw’okumaliriza emisomo gyabwe, yajja gyedi okwogerako nange. Enyambla y’engoye zze yasanyusa nali nasalawo dda  okukuuma amaaso gange ku maaso ge n’okukuuma ebirowozo byange mungeri  entuufu eri bawala  ba Katonda. Nafunamu kukabebereza nemukusaba kwange ne Char mu kawungeezi ako. Mu kiseera ky’embeera, essanyu, oba okwesanyusa okw’omu kaseera, tetusobola kukola kusalawo kulungi. Tuyinza okukkiriziganya ne Yobu. Tuyinza okukola endagaano n’amaaso gaffe. Eyo ye nteekateeka yaffe ey’amagezi. Okuva awo, tugoberera ekyo kye twasalawo — era kino twasobola okukisalawo nga bukyali okukikola mu bwangu.


Okumalirira Okusiba


Essuula ey’okutaano ne y’omukaaga zinyonyola ku kusiba mu bujjuvu, naye eyekuumi nebiri egenda buzibba ku mize gy’okulya n’ebikwata kubulamu. Nawakubadde nga tunnyonyola songa emu eyemize gy’okulya wano kubanga kyesigama n’okwefuga era kikosa  obweteegefu bwobumalirivu bwaffe okusiba. Kikwata ku kunywa ebiintu ebiretera emitima gyaffe okukubira okumukumu e’ebuntu ebyongera kukuduka kwo musayi  n’eddagalalyobulabe eri obulamu bwaffe.


Abantu abamu bakutira nnyo okwewala kaawa okumala ennaku eziwera nga tonnasiba. Kino kiyamba omubiri obutaba mutamivu nnyo ku kikozesebwa kya kawa era kyaguyayaguya enkyukakyuka okuva mu kulya okudda mu butalya mmere. Okwewala kaawa nga bukyali kirungi okusinga okuleka kaawa, sukaali n’emmere byonna mu kiseera kimu. Okulumwa omutwe olwokuleka kawakaawa mu lunaku olusooka oba olwokubiri kitataganya era kinyigiriza. Newakubadde nga kisinga bulungi okwewala okuba omutamivu  ku sukaali oba kaawa okuva ku ntandikwa. Olwo obeera wadembe ddala.


Jjo juzi, nasiiba ennaku ssatu. Char bweyali agenze mu Alaska okukyalira abaana baffe okubayambako mu kwaniiriza muzzukulu waffe omuwala omupya mu maka gaffe. Nnali mu wiiki y’okuwummula mu masomo era nnali nfuga byonna ku nteekateeka y’emirimu gyange. Mu makya g’olunaku olusooka olwomukaaga, ne ntegeera nti nnali wandembe okusiiba ennaku ssatu eziddirira singa mba  njagadde. Kubanga saalya ku sukaali, tewaali kulumibwa mutwe olw’o“kuleka sukaali.” Era kubanga sanywa kaawa oba kola, saafuna bulumi bwa kaawa. Nnali mwetegefu okusiiba ennaku ssatu nga sirina kweteekateeka nga newala okunnywa kaawa oba sukaali. Bwe tulya emmere ey’amaanyi era ne twewala ebireteera omitim gyaffe okubira okumukumu ekyongera eziruka yomusayi, kisoboka okusiiba mu bwangu — oba kusiiba olunaku lumu buli wiiki oba ennaku ssatu buli mwaka.


Abantu abamu tebasiba kubanga balwana nnyo ku lunaku olusooka olw’okuleka ebikozesebwa eby’eddagala. Okubeera ku ebiretera omitima okukubira okumukumu si kyakulabirako kirungi okuva ku ntandikwa. Kisinziira ku mugaso gw’omanyi  okw’omwoyo butya bwekkiri eky’omuwendo ennyo okusiiba kwe kuleeta. Singa ky’oyita okukola empisa ezikufuula okusiiba okuba okwangu kikutwalira obudde bungi, ensonga yokka gye wadyetaaga okugumira mu kutateekateeka kwe kugamba nti, “Okusiiba tekundiko muwendo munene.”


Okusiiba si kyangu, naye kuleeta ebivaamu eby’ekitalo. Okusiba kutusobozesa okuteeka ebirowoozo ku kusaba, okutegeera Ekigambo kya Katonda, n’okuwulira eddoboozi lye mu bwangu. Okusiiba kwetaaga okwefuga — okusalawo okusiiba n’okugoberera ekyo ky’osalawo byombi byetaaga empisa. Naye okusiiba sikizibu nga bwe tukifula nti bwekiri. Ekizibu kiri nti okulya bulijjo ebyo ebiretera emitima gyaffe okukubira okumu kumu n’ebikozesebwa eby’eddagala kuleetera okusiiba okuba okw’amaanyi. Ekizibu kirabika mu kusiiba, naye mu butuufu okusiiba si kye kizibu; naye ekizibu gy’emize emibi mukulya.


Essuula ey’okutaano esimba esira ku kusiba mu bujjuvu n’olwekyo tetujja kukugenda nnyo buzia wano. Jjukira bujukizzi nti okwefuga n’empisa ez’obuntu ezitekebwa mukola mu kitundu ekimu eky’obulamu zongera amaanyi mu bitundu ebirala. Nayiga okwefuga mu kusaba nga bukyali nga sinnatandika kusiiba buli wiiki. Bwe namala okukola empisa emu, nnali mwetegefu okutandika endala ennungi. Okwefuga mu kulya emmere entuufu buli lunaku kuntendeka okusiiba nga ndi mwetegefu. Endowooza y’okufuga omubiri n’endowooza by’okusalawo okusinga okwegomba ziva mu mpisa z’okulya ennungi. Eky’obusungu, okwesigama ku sukaali ne kaawa kubba abantu abamu essanyu n’obuwanguzi bw’okusiiba. Okusiba kwa mugaso nnyo era kwa mwendo nnyo okutuusa nti kisaanidde okutegeka emize gyaffe egy’okulya egya buli lunaku okusobola okukikola mu bwangu.

Okwefuga kwe tukola n’obuwanguzi bwe tufunamu mu kulwana n’okwegomba kw’emmere okuyita mu kusiiba, newaakubadde nga bya mugaso byokka, biba bitundu ku buwanguzi obusinga obunene: emyoyo gyaffe gye gifuga; emibiri gyaffe si gye gifuga. Emmere etuweereza; tetugireka kutufuga. Tusobola okugamba nti, “Kya muwendo nnyo gye ndi.”


Okusalawo Obungi ki Bwe Tunasaba


Bulijjo Okusaba buli lunaku kyekisawe ekisinga okuba ekyomugaso mu byetaagisa okwefuga. Mu myaka gyange egyasooka mu ssomero lya Bayibuli, bazadde bange bampa ebitabo bibiri ebikwata ku kusaba ebyawandiikibwa Leonard Ravenhill, ebyankwata ennyo ku mutima. Bwoba osobola okubifuna, bisome. Ekimu kyayitibwa lwaki okudizibwa obujja kulwawo ate ekirala kya basajja. Mu baluwa eyav eri kitange gyenafuna mukaseera kekamu, yateesa nteekeewo omuze gw’okusaba essaawa emu buli lunaku. Bulijjo kirowozako nga kinewunyisa nti Katonda yakozesa ebbaluwa eyo okuva eri taata okunnungamya ennyo bw’ati. Okusinziira ku kyenamanya, taata ye teyalina muze ogwo. Taata yali musajja mulungi, naye maama yalina amaanyi n’okutegeera okw’eby’omwoyo okusinga. Naye ekigatta ekitabo kya Ravenhill n’amagezi ga taata byankubiriza okutandika omuze gwe nkuumye okuva mu mwaka gwange ogw’okubiri mu ssomero lya Bayibuli (1963–1964).


Sijjukira ddi lwe nakyusa, naye mu bwangu naggya ku kusaba essaawa emu buli lunaku ne ntandika okusaba essaawa bbiri buli lunaku. Kino nkikuumye nnyo okumala emyaka mingi. Nkukubiriza osalewo obuwanvu bw’oyagala okusaba buli lunaku. Tosaba ku bintu by’owulira byokka. Abantu abasinga bayongera okusaba bulijjo singa beesalira ebiseera eby’enjawulo eby’okusaba. Era tusaba okumala akaseera akawanvu okusinga bwe tuba twesalidde okumaliriza nga tumaze okufuna obuwulize.


Yesu yayaniiriza abayigirizwa be okusaba naye okumala essaawa. Omuwandiisi David Wilkerson ayogera ku “kuwa ekimu eky’ekumi” kussaawa zaffe eri Katonda — ezo ziba essaawa bbiri n’eddakiika amakumi abiri mu ena buli lunaku. Nze nalonda okusaba essaawa bbiri buli kumakya. Salawo ekisinga okukugasa, olwo ky’osigala nakyo kwe kwefuga okutuukiriza ky’osazeewo.


Okukola kino, oyinza okwetaaga okukendeeza ku biseera by’oyita mu bintu ebitalina mugaso nnyo. Ssaali nnyo mulabi wa TV. Bwe twali abaana, teyalinawo mu maka gaffe kubanga bazadde bange tebaalowooza nti yandibadde n’omugaso. N’olwekyo, tekyandikoze buzibu kunteeka ku ludda. Nnalonda obuwanvu bw’essaawa zange ez’okusaba nga ndi wa myaka 19, nga sirina mize mibi mingi egy’okuleka. kyangu okutandika emizze emirungi nga bukyali okusinga okulinda jebugya mumaso eyo.


Okusaba buli lunaku kye kimu ku mize emirungi gy’enina okukuuma. mu kyo mwe muva emize emirala emirungi mingi.ejjo egibadde omukisa omunene mu bulamu bwange. Mazima okumala esawa enyingi mukusaba siye songa; ekikulu kwe kusaba.


Mu kiseera kye tweteegekeramu okusaba, twetaaga okwefuga nga tulowooza ku kiki kye tukola. Kino kitufu oba nga tusaba mu ngeri ey’enjawulo nga Omwoyo Mutukuvu atulungamiza oba okusaba mu kola yafe eyabulijjo. Okukumira ebirowozo byaffe ku songa y’okusaba akaseera kona kitwala okwefuga era nempisa . musula eyo’kutaano tuja kizula nti okusaba mu mitendera omukaaga egy’esala ya mumukama waffe okusiziira ku nkola ya Larry Lea ebadde nkola yamaanyi nyo era nga eyabye bangi ddala. Ekyo kitukumiira kumulamwa era ne tula kumusomo ogumu okuda kumulala. okusala wo banga dene kyekana ki lye ttunasabiramu kitukibiriza okusaba ennyo kubanga kafuka kalobolobo kaffe okukozesa okaseera kaffe ketwalagaana mubujuvu. Esonga yo kwala akaseera kwekwongwera kusaala. Tuja kukola nga bwekisoboka   okufula buli ekituyamba okusaba obungi no kusingawo.


mukusalawo ddi n’obungi bw’okusaba, oluvannyuma nosalawo okugoberera enkola eyo, okuddamu okwetegereza enkola yo n’ogikyusa bwe kiba kyetaagisa. Lumu nasalawo nti nnaki netaaga okuzukuka ku ssaawa 11:30 ez’okumakya okumala akaseera akawera mu kusaba. Naye oluvannyuma lw’ennaku nnya, nnali mukoowu nnyo sasobola kusaba oba okukola ekintu kyona ekirala. Nasalawo okudayo fune okuwumulako okulungi okwekiro sobole okusaba n’omubiri oguwumudde obulungi ne birowozo nga bitadde kukitu kimu. Abamu kubasabi banakiku basobode okusaba kumakye ennyo, naye buli omu kimugwanira okumannya kiki ekimusigira okumukolera obulungi mu kukuuma engeri Katonda gye yatukolamu.

Bwe nziruka empaka z’emisinde, nziruka nnyo nga bwesobola era fuba okukuma obugi bw’emisinde gyange mpaka nga mpaka z’emisinde ziwede. Singa ngenda mangu nnyo amagulu gange gatadiika okunuuma oba obubonero obumu buzzijukiza nti sirina kuduuka nnyo. singa funa ekifu kumaso netuuka nokusooba, manya nti sikora kisinga era sijja kukuma kadde kange kezirukiramu, nayiga okuwuliriz omubiri gwange era neziruka mangu nga bwesobola mumirembe emikuume. Neyigiriza empisa yo butaduuka nnyo mu mayiro 20 ezisooka mumisidde. Okukuma sipidi mumiside gyona kyekisinga obukulu okusinga okuduuka ennyo. Okusaba n’emize emirala mu bulamu bw’Ekikristaayo bifuula obulamu bubeere nga empaka zemiside mubuna byalo okusinga empaka zembiro. Funa omutedera okukusigira mumisidde era ogwekumire ko.


Okusoma Baibuli


Okuva mu kyeya kya 1963, nakola empisa y’okusoma Bayibuli yonna okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero buli mwaka. Nakola empisa eno oluvannyuma lw’okusoma ekitabo Through Gates of Splendor ekyawandiikibwa Elisabeth Elliot. Mu kitabo ekyo, yalaga engeri omwami we, Jim Elliot, bwe yayagalanga ennyo Ebyawandiikibwa era n’abisoma bulijjo.


Mu butuufu, mu kiseera ekimu nakola empisa zombi — okusoma Bayibuli yonna buli mwaka n’okusaba essaawa emu buli lunaku. Mu kyeya ekyo nnayitamu enkyukakyuka ennene mu by’omwoyo era ne nsalawo nti eby’omwoyo byali bya muwendo okusinga ebintu ebirala byonna. Okusaba bulijjo n’okusoma Bayibuli byali ebiva mu kukyuka okwo okw’omutima n’endowooza.


Okuva mu 1963 okutuuka leero, nsomozedwa nnyo ebiseera byange eby’okusisinkana Mukama buli lunaku. Sikyetaaga kwebuuza buli lunaku oba nina okusoma oba kusaba — nkola  okusalawo kwe nnakola edda. Emirundi mingi nsanga ekigambo mu kusoma kw’olunaku ekimpereza mu butereevu.


Bayibuli yange erimu empapula 1,094 ez’Ebyawandiikibwa. Bwe nsoma empapula ssatu buli lunaku okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano, n’empapula nnya ku Ssande, nsobola okusoma Bayibuli yonna mu nnaku 365. Oyinza okubalirira mu empapula za Bayibuli yo n’ozigabanya mu 365 okufuna enteekateeka yo. Waliwo emikutu mingi egy’okusoma Bayibuli mu mwaka omulamba, era waliwo ne Bayibuli ezirondebwa mu ngeri y’ebyafaayo ezigabanyiziddwa mu bitundu bya buli lunaku.


Ekikulu si ngeri gy’osomamu, wabula kwe kwekakaasiza okutuukirira Ebyawandiikibwa bulijjo. Ebitundu ebimu mu Bayibuli si byangu kusoma, era ekyo kyennyini kituwa ensonga ey’okusalawo okusoma byonna — si bitundu byokka bye twagala.


Omwoyo wa Katonda ayogera okuyita mu Kigambo kye ekiwandiikiddwa — Bayibuli. Kijjuza endowooza zaffe, kituukirira obulamu bwaffe mu ngeri entuufu, mu mazima, mu maanyi, era kituyamba okuba n’obulamu obutuukirivu. Mu by’omwoyo, tuba bye tusoma. Okusoma Ebyawandiikibwa mu ngeri ya bulijjo kintu kikulu nnyo mu kukulaakulanya abaweereza bwa Katonda.


Okuziyiza ebisukulumye


Ekitabo kino tera okuteekamu eby’okulabirako eby’obulamu bwange byennyini. Bino bituyamba okutegeera engeri gye tuyinza okukozesaamu eby’okuyigiriza eby’Ebyawandiikibwa mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Kyokka ebyafaayo bino ebiddako biraga ebiseera eby’enjawulo — ebiseera Katonda by’ayagala tuleke era tusanyuse obulamu bwaffe. Okwefuga kintu kirungi, naye nakyo kyetaaga okukozesebwa mu ngeri ey’ekigero, mu kisa, n’okutunuulira obulungi embeera.


Katonda yawa abantu ekirabo ekinene mu ssaawa y’okusanyuka okw’omubiri mu bufumbo. Naye abantu abamu abalina ebigendererwa ebirungi era abalungi bennyini bakozesezza okwefuga mu ngeri ey’okwekwawula okwetaagisa — nga beekanya ne bawakana ekirabo Katonda ky’ayagala mu bufumbo bwabwe. Kiba kirungi abafumbo bwe baba bakkaanyiiza okumala ekiseera ekigere ku kigendererwa ekimu, naye ekyo si kyentunuulidde wano. Abaebbulaniya 13:4 egamba nti, “Obufumbo bubeere bwa kitiibwa eri bonna, n’obusiru bw’abafumbo bubeere bulongoofu …” Mu nkyusa nyingi, olunyiriri luno lutwalibwa ng’ekiragiro, naye mu lulimi Olugereeki luyinza n’okutwalibwa ng’ennyonyola. Kale n’okuvvuunulwa nti, “Obufumbo bwa kitiibwa eri bonna, n’obusiri bw’abafumbo bulongoofu,” kuyinza okuba kukkirizibwa. Mu mpisa, obusiri bw’abafumbo bulina okukuumibwa bulongoofu. Kyokka mu bufumbo bwa Bakristaayo bangi, bulongoofu bubaawo dda. Okubukuuma bulongoofu kyetaagisa, naye okuba nti bulongoofu bwa butonde ky’ekikulu ennyo. Singa abafumbo balina obwesabadde n’obulungi mu ngeri yaabwe, obusanyizo mu bufumbo bwandibadde bungi, obwenzi bwandikendedde, n’okwawukana kwandibadde kutono.


Ebyawandiikibwa mu Ngero ne mu Kitabo kya Sulemaani byogerera ddala bulungi ku nsonga eno. Ebyawandiikibwa bikubiriza abafumbo okusanyuka mu mibiri gyabwe. Katonda yagenderera okuba nti okwegatta okw’omubiri kuba kusanyusa era kukolebwa emirundi mingi. Ekirabo kino kirungi nnyo okukyanga, era kya muwendo nnyo okulaba nga Sitani takyiba. Mu kwegatta okw’omubiri, abafumbo balina okuwummula, okuba n’obuyiiya, n’okufuna obudde nga bakkiriziganya, era basanyuke.

Obufumbo bwe buyingirwa mu bulongoofu n’obutaliimu mibi, entandikwa y’okunoonyereza n’okuzuula ebintu ku kiro ky’obufumbo eyinza okugenda mu maaso okumala emyaka mingi. Ebintu bino birina okusigala mu bufumbo bwabwe, nga bwe tulina okuba abalongoofu, abawombeefu, abegendereza, n’okwefuga ennyo mu mpisa zaffe eza bweru w’obufumbo. Okusikirizibwa okwenzi kwandibadde kutono singa abafumbo babadde tebategerekereza nnyo mu bufumbo bwabwe era nga bateekateeka ebintu ebisingawo okusanyusa munda mu bwo. Nga bwe twogedde, Bayibuli egamba nti obufumbo bwa kitiibwa, obusiri bulongoofu, n’okwegatta kuli mu mikisa. Waliwo ebiseera n’ebifo ebirina okubeeramu okwefuga. Naye okwegatta okw’omubiri mu bufumbo kye kimu ku bifo Katonda bye yawadde omukisa, omuntu n’ataswala mu maaso ga Katonda, nga bafumbo bombi bawulira obulungi.


Mu byafaayo byange eby’obufumbo, bino byonna byabadde bituufu, era ebyafaayo bibiri ebiddako byongera okubinyweza.


Olumu bwe twali mu Amerika ku luwummula, twakyalira ekkanisa mu bitundu bya wakati mu ggwanga. Mukyala wa paasita yayigiriza ekibiina ky’abantu abakulu ku Ssande. Okulaga obukulu bw’okwegulira n’okusaba, yagamba nti ye ne bba bakkaanya okulekera awo okwegatta ku Lwomukaaga ekiro babeere n’obudde bw’okusaba ku lwa Ssande. Mu mutima gwange ne ndowooza nti, “Nze nsanyuse nga tetulina mateeka ago, naye mazima babeera begulira nnyo.” Emyaaka mingi bwe gyayita, ne nnyumirwa nti paasita yali ayingidde mu bwenzi era ekkanisa ne eyawukana. Waliwo ebirala bye sirina kumanya, kyensonga lwaki ssiwagala kusalawo mangu. Naye bulijjo nneebuuza oba okwefuga kwabwe (okwakkirizibwa eri Katonda) kwakoma ku kweyongera ne kuba okwekwawula okw’ekikambwe — ng’ekintu omulabe kye yakozesa. Mu kufuba kwaffe okwewala obulabe ng’obwo mu bufumbo bwaffe, kirungi okusanyuka mu bisuubizo by’obufumbo.


Mu buto bwange, nnoonya amagezi okuva eri omusajja omutukuvu gwe nnassaamu ekitiibwa ennyo. Nalina obuzibu mu nsonga z’obusajja n’obukazi, ekizibu ekituuka ku bavubuka bangi abatalina bufumbo. Omuweereza oyo yansaba okukyamala nti okwefuga kwali kwetaagisa ne mu bufumbo. Yagamba nti omuntu tasobola kweyagala mu budde bwonna olw’emirimu n’obuvunaanyizibwa. Emyaka emu n’ekitundu bwe gyayita, nkyali sirina bufumbo, ne nnyumirwa nti mukyala w’omuweereza oyo yali ayingidde mu bwenzi. Yagamba nti omusajja omulala yamulaga okufaayo n’obulungi okusinga bba. Nze ne nnyiga nti okwekwawula okutetaagisa kuyinza okuleetera abantu okuba abangu okukosebwa.


Ekikulu kye nayiga kwe kuba nti okwegulira okungi kuyinza okuleetera okuzikiriza okw’empisa. Ekyo kyanyamba okutegeera nti okwefuga kwange okwabadde okulungi kwali kumpitirirako ne kuba okwekwawula okutetaagisa.


Ekigendererwa ekikulu mu ssuula eno kwe kukukubiriza okwongera ku nteekateeka n’obukugu mu bulamu bwo ng’omukristaayo nga okola ensalawo eziteekeddwa mu magezi. Oluvannyuma tuba tutambulira ku nsalawo ezo. Naye tetuli makina. Tulina enneewulira era tulina okuzitunuulira. Waliwo ebiseera abantu bye babeera byetaagisa okusinga enteekateeka zaffe. Okumanya ddi lw’olina okukyusa enteekateeka yo kyetaaga obukugu.


Ekibala ky’Omwoyo — okwefuga — kye kisumuluzo ky’obulamu obulongoofu era obukola bulungi. Katonda ayagala abaweereza be basanyuke mu bulamu obulina enteekateeka, kyensonga lwaki atuyigiriza okutegeka endowooza zaffe n’okwefuga. Okwefuga kye kisumuluzo. Obusobozi bwaffe kwe kuba nti tusobola okukola ebisingawo, era okwefuga kwe kukkaanya ne tukituukiriza. Bwe tugamba nti tusobola okukola, tuba tusobola singa tukyagala. Era y’ensonga lwaki ekibala kino eky’Omwoyo kya muwendo nnyo.