EMPIISA EY’OKUNA: Saba Okusinziira ku Nteekateeka ya Katonda


Empiisa z’Abakristaayo Abakola Obulungi Ennyo

“buno bwe bumalirivu bwe tulina mu kutukirira Katonda: Nti singa tusaba ekintu kyonna okusinziira ku kwagala kwe, atuwulira. Era bwe tumanya nti atuwulira – buli kye tusaba, – tumanya nti tulina kye twamusabye.” — 1 Yokaana 5:14–15


Endagiriro kulu nnyo okusinga obwangu.

 Nebwoba n'obusobozi obwekanawa obungi oba obwangu obutukidwako, singa endagiriro teba tuffu,  tetusobola kutuuka ku kigendererwa kyaffe.singa tuwuliriza, endagiriro yabuli lunaku, okusalawo  kusobola okufuluma mu biro byaffe eby’okusaba. Tuli bamukisa mu kukola okuyita mu byona ebyetagisa okukola, — nga tusaba okulagirirwa kwa Katonda era nga tumusaba ku by’ensonga n’enkola zaffe eza buli lunaku. Emirundi mingi  nga alamu oba akade akavuga okunzukusa nga kavudeko, newaliriza okuva mu buliri bwange nempulira nga sisobola kukola kitu kyona olunaku olwo. Naye akaseera kemaliramu okusaba, nzikiriza  nti tewali kye ssisobola kukola. Ebbanga lye mmala mu kusaba liteekawo engeri olunaku lwonna bwerunatabula. Oluvannyuma lw’okusaba, ebisigade kulunaku kuba kutabulira mwebyo ebimaze okukwasaganyizibwa ku mutedera ogw’omwoyo. Okusaba kufaananako nga olujegere lwe kyesubo ekisitula abantu abangi nga kitabula mpola mpola okumala akabanga, lweyongera emisidde — ebisigaddewo mu lunaku  luba lugendo lwakunyumirwa. Okusaba kufaananako ng’okutekako kompyuta zaffe. Ebikozesebwa mu yo bwebiba byonna nga byetegekese okukola, omulimu gubeera mwangu nnyo.


Obwangu sibukulu nnyo. Funa, okugenda mu maaso singa  nekumira kundagiriro ettuufu, ne bwemba nga nkola mpola mu kusoma ebiwandiiko, e-mail, oksoma empapula zamawurire, okusoma ebitaabo, mu masomero, oba mu nteekateeka z’okusisikaniramu abantu. Etekateeka ya Katonda nolwekyo, si yendagiriro yoka mu kusaba kwange, wabula okuyita mulunaku lwonna. Mu kusaba n’oluvannyuma lw’okusaba, ye Katonda — so si nze — aba alina obuvunaanyizibwa ku nteekateeka y’olunaku.


Nnayiga endowooza eno mu kiseera ky’abasumba mu kambi y’abavubuka mu Canada mu kyeya kya 1965. Okuva olwo, nakola ekigendererwa ekikulu okutegeera Katonda ky’ayagala era nsabe okusinziira ku kyo. Kino tekikoma ku makubo ge tusaba, wabula n’ensonga zennyini kwe tusabira.


Okwemalirira kwa Katonda n’Okusaba


Mu lusirika olwe kyeya, nayiga ku George Muller. Yali Mungereza era omutandiisi w’amaka g’abaana abataliko mwasirizi agawera, eyateekawo ekola yokusaba Katonda ebyetaago by’abuli lunaku. Muller yamalanga ebiseera bingi nga asaba okutegeera  okwagala kwa Katonda. Oluvannyuma, yasabanga akaseera katono okusinziira ku kwagala kwa Katonda okumaliriza omulimu. Kino kyankwatako nnyo era kyanzigulirawo amakubo mangi okusinga bwe nnali nsobola okulowooza. Amangu ango nateekawo enkola yange ey’okusaba. Buli lunaku mpka kati, kyetaga okuteegera Katonda kyaliko sobole okusaba nga sinziira kwekyo.

Nze ne Char nga tukyabeera mu Beijing mu myaka gye 90,  twasalawo okusaba mu bwesimbu era mu bugenderevu eri gavumenti ya China. Twalodawo okubeera mu Beijing’ kubanga esonga endala twayagala okusaba mu ngeri ey’omugaso mu kibuga ekikulu. Mu Beijing, okusalawo ebitwala mumaso eggwanga bikosa nyo abantu bangi okusinga mu kibuga ekirala ekikulu ekye nsi kyonna ku zissemazinga zona. Lumu’ twagendako ku Tiananmen Square okutambula era nga bwe tusaba nga twetolola ogusenge ogunene abantu mwebakunganiira ku ludda lw’obuvanjuba olwa sikweya. Kino kye kizimbe Tabamiluko ya gavumenti esalawo eby’okutiko wetula era abakuggu ba Gavumenti we basisikanira abagenyi ababa bakikiridde amawanga amalala. Nga tutabula era nga bwetusaba okwetolola ekumbo lyaffe mu kizimbe kino, twagezaako okuwulira Mukama ngya tulungamyamu okusaba. Twali betegefu okulwana olutalo olw’Omwoyo eri omulabe atalabika. wabula, twafundikiira tutendereza Katonda olwebyo bye yali akola mu Chaina.mukwejukanyamu, nzikiriza nti kyali kyamugaso nnyo ffe okulemera kweekyo ekyamazima ang’Omwoyo agatalabika — mu mbeera eno, okutendereza Katonda — mukifo kyo kuyuza olutalo olw’ebyali mu ndowooza n’omuzanyo ku lutalo gw’omwoyo. Omuntu omu yali yegayiride kulwaffe.Entalo ezamanyi zali zilwanidwa era nga ziwagulidwa. Twali betegefu okuyiingira olutalo olw’Omwoyo era twayagala okwegayirira. Naye, twawulira nga kyamugaso nnyo okusaba okwagala kwa Katonda okusinga esala ffe gye twalowoza nti yeyali yetagisa okusaba mu Chaina. Twafudikira tutendereza Katonda kubyeyali akoze kulwo buwaguzzi bwe eyo. Ekitu kyekimu kyatukawo mu kaseera kobunyogovu mu mwaka gwaffe ogwasooka mu Chaina. Twagenda e Qufu, ekifo Kofisiyasi gye yazaalibwa era nazikiibwa era ewali esizizo lye edene elyabulwamu erinnya lye elikyayimiride okutusa lero. Omutima gwange gwali gwenyisse kulwa Chaina mu biro we nasomera ku makka ga Kofisiyasi emyaka mingi emabega. Mazima nakomwako nnyo ku buzibu omukyala ono ebyafayo gwebyogerako nti yayiganyizibwanyo mu mbera eno. Obwesibu obusokerwako bwetagisa abazade nebajajja mu maka okuzala obuzibu obwamanyi mumasekati g’abami n’abakyala. (Kino kinnyonnyoledwa nnyo mumbozi esoka musula ey’omunana.) Nate era kyali kigedererwa kyaffe okusaba nga tuwalwanyisa amanyi agekizikiza agali gazibye amaso gaba Chaina okumala ebyasa bingi. Nze ne Cha buli omu yatandiika okukumba nga yetolola munda w’ebisenge byeesizizo lya Kofisiyasi. Twali betegefu okwegayirira, betegefu okulwana n’omulabe mu nsi ey’Omwoyo mu sala.

Buli omu yatabula nga akwata oluda olwawukana nolwamune nga tusaba bwe tutabula. Nebweenagezako tya, sasobola kusaba kitu kyona kubawa nebwe negayirira tya oba okufuba mu Mwoyo nga mpakanya emyoyo emibi. Lwade nga nali nga sobola okwefula nti waliwo okubotola, naye nali nayiga dda obutakola kintu ng’ekyo eri Mukama,   Naye nga tutambulira mu kifo ekyo nga tusaba, byonna bye nnasaba byali kutendereza Mukama olw’ebyo bye yali akola mu China. Nat’era, kyali kikulu okusaba okusinziira ku mazima ag’omwoyo okusinga okwefula amaanyi ennyo okusiga Katonda kye yakolera ebyetago bya ba Chaina. Abakiriza mubiseera ebyayita,aba olyawo ekumi za ba kurisitayo aba Chaina mu myaka gyetwakakuba emabega, bali basaba esala egatako. Nge ekyokudamu okusaba kwabwe, wali wabadewo ekyukakyuka ey’Omwoyo mu Chaina. eno eyiza okuba esonga lwaki bangi bajja eri Kurisito okuyita munsi yona? Katonda yalina okwagala kwe era neteegeka yabuli mwaka. Tulina okuzula Mukama kye yali akola mu mumyaka gyafe mu Chaina era tusabe nga tusinzira kwekyo. Omulembe ogwali guyise gwali guwereza ekigedererwa kya Katonda era nga guwagudde entalo eziwerako ekyali kyetagisa mubiro ebyo. Mu mulembe gwaffe twetaga okukola kyekimu. Okuwagula obuwaguzi obuwerako’ twetaga okumanya ekigendererwa kya Katonda mukaseera ako era tusabe nga tusinzira kwekyo. Ebiseera ebimu tukola okwagala kwa Katonda — ebanga dene oba mu kifo ekikyamu. Katonda agenze ku sula edako, naye ffe nga  tukola era tukyasaba ku kyetago ekikade. Ob’olyawo tusabira kyetago kitufu, naye nga ekye taago ekyo kiri mukifo kirala –  simukifo wetuli. Tulina okwebuuza “kiki Katonda kyayagala okukola wano mukaseera kano kenyini okuyita munze?” Okuyiga ekyokudamu EKyo ekikuulu ennyo, mungeri eye kikugu tulina okuyiga okwewerayo dala mu kusaba okusinziira ku teegeka ya Katonda. Mu by’okulabirako byombi wagulu, nasaba nga sinziira kundagiriro ya Katonda, naye nalonda wo esonga gye nasabira. Ate ebiseera Omwoyo watulungamiza okusaba okusiziira sikundagiriro endala yoka wabula,  n’esonga eyejawulo byona wamu? Ebiseera ebisinga, tetumamya bumanya kyetulina kusabira; Omwoyo Omutukuvu ye bulijjo amanya. Asobola okutuyamba Okusaba okusingawo mutegeka ya Katonda ey’ekeitiibwa. Kino kimbadeko emirundi mingi. Nawe oyinza okuba ng’obiyisemu, kiba kirungi okufuna akaseera n’ekifo bulijjo wosabira mudembe nga toziyizibwa munkola yona ekussingira. Okusabira wagulu kinyamba okuteeka ebirowoozo byange ku kintu kimu. Ntera okusabira mu galangi yaffe oba mu kibiira ekirinanye amaka gaffe. Ku lunaku lwa Ssande kumakya mu mwezi gw’omunana nga 27, omwaka gwa 2000, nali ntabula nga bwe saaba era nga ntendereza Katonda. Nali mwetegefu Okusaba nga mpita mukola yange eyabulijjo ku songa ye saala yange bwenawulira bulungi nnyo munda muzze okuyitibwa okusabira ekintu ekirala.  Nagenda mumaso n’okusaba oluvanyuma lw’okulungamizbwa Omwoyo bulungi nnyo okutuka ne musawa eyokubiri. Kivirayo ddala bulungi nti  nali saba ku suula zosoma kati. Bwenava mu buliri kumakya g’omwezi gw’omunana nga 27, salina kirowoozo kya kusabira song’eno. Naye akseera ke twavira mu nnyumba okugenda ku kanisa amakya ga ssande eyo, nalina olukalala lw’emitwe  egiwadikidwa. Okusaba okusinziira ku Katonda ky’ayagala kye kisumuluzo ky’obuwanguzi mu kusaba. Naye waliwo esonga endala ekuussike egatibwa kukino. Katonda atuwa eddembe elyokwesalirawo lingi. kisoboka  okusaba ekintu ekikyamu nodibwamu ekyokudamu nga kikyama ekitali kyamugaso jetuli. Bayibuli etuyigiriza okusaba okusinziira ku kwagala kwa Katonda. Ebyokulabirako bingi bitulaga akabate akali mukusaba obubi singa kyali tekisoboka kufuna kyakudibwamu kikyamu olwe saala ekyamu, olwo ekiragiro eky’okusaba okusinziira ku kwagala kwa Katonda kufuka okutalina mugaso. Singa asazaamu buli kusaba okutali mu kwagala kwe, olwa twadisabye nga tetwefirayo, eno siyesonga. Tusobola era tuyinza okusaba obubi ne tubonabona olw,eby’esaala ebbi singa tuba tugisabye.

Ebyokulabirako Okuva Mu Byafaayo bya Yisirayiri


Eneyisa ya Yisirayiri bwe baali mu ddungu kye kyokulabirako ekyekukunara bibki ebiva mu kusaba okubi n’okufuna EKy’okudibwamu Katonda kyatadiyagade ffe kufuna. Abayisirayiri baali babuzayo lunaku bunaku okutadiika olugendo lwabwe ebuvajuba w'ekibangirizzi kye nyanja emyufu. Bemulugunya olw’obutasobola kutuula kwetolola nsuwa za nnyama n’okulwa ekika kye mere yona kyabagala…” (Okuva 16:3). A kawungezi ako obugubi bwajja nebujuza olujja,  era ne manu nerabiika. Oluvanyuma lwemyaka, Abayisirayiri ne beyoongera okwemulugunya olwo bugabirizi bwe mere yabwe, era Katonda n’abaddamu n’abasindikira obugubi (Okubala 11:10–32). Kyokka okusinziira ku byavaamu, okwemulugunya kwabwe kwasunguwaza nnyo Mukama. Ennyama bwe yali ekyali mu mannyo g’abantu, nga tebannagimira, Mukama n’abakuba n’ekirwadde olw’obutasiima bwabwe (Okubala 11:33). Ebyafaayo by’Abebbulaniya byogera nti, “... tebalindiranga magezi ge ... ne bagoberera okwegomba kwabwe ... ne bakema Katonda. Naye n’abawa kye baamusaba, n’abasindikira endwadde nezibaggwako namaanyi” (Zabbuli 106:13–15). Baagaana okulindiranga Katonda, ne bagoberera okwegomba kwabwe, era Katonda n’abawa kye baagala, naye kyali kibi gyebali.


Ekifaananyi eky’okubiri era  ekirungi ennyo kiri mu mu lugero lwa Keezekiya mu 2bassekabaka 20. Katonda yatumira Keezekiya obubaka okuyita mu Isaaya nga amugamba ateeketeeke ennyumba ye kubanga yali agenda kufa. Mu kifo ky’okukkiriza, Keezekiya yakyukira obwenyi bwe ekisenge, n’atandika okusomera Katonda ebintu ebikulu bye yamukolera. Joli nti okusaba kwaffe kudibwamu lwa bintu byetukoze. N’akaaba nnyo. Okukaba okumu kulaga kujeema; sikugonda. Era ddala, Katonda n’amuwa emyaka 15 emirala egy’obulamu. Mu bagga elye myaaka 15,Keezekiya n’afuuka wamalala era eyefako yeka. Bwe yafuna ababaka abaali bamutumiddwa okuva e Babulooni bwe baamujjira, mungeri yokweraga nti wamanyi, yaboolesa eterekero ly’e by’obyobugagga ne lye by’okulwanyisa bye, naye n’atabalaga yeekaalu gye yasabira Katonda okununulibwa. Bweyali kyaje abere mukulumbibwa, Kezekiya mubuwobefu yasaba ku yekalu. Bwe bamukulisa okufuna okudibwamu, neyewanisa amanyi g’ebyefuna bye na majje ge. Isaaya n’amutegeeza nti eby’obugagga byonna nabamu ku baana be bajja kutwalibwa e Babulooni oluvanyuma nga amaze okufa. Keezekiya teyarabika kufayo nnyo kubanga ebyo byonna byali bijja kubaawo nga ye amaze okufa (2 Bassekabaka 20:19). Yabeera mu bulamu obwamwongerwako mungeri yobutafa ku mulembe gudako.


Manase Mutabani wa Kezekiya yazaalibwa emyaka esatu oluvannyuma lwa Isaaya okugamba Kezekiya nti yali wakufa. Yafuuka kabaka nga wa myaka 12, n’afuga bubi okumala emyaka 55. Oluvannyuma mutabani we omubi Amoni n’afuga  bubi emyaka 2. Kitegeeza nti Yisirayiri yayita mu myaka 72 emizibu olw’okusaba kwa Keezekiya okwokweyagaliza. Abantu ba Katonda baabonaabona olw’ebyava mu kusaba okwo okwokweyagaliza. Nga maliriza, emirembe esatu oluvanyuma lwa Kezekiya, Yosiya, mutabani wa Amoni, yasombola okuleta ekyukakyuka ez’Omwoyo ezimu olw’okutendekebwa kwa Helukaana, kabona omukulu. A bantu ba Katoonda bafirwa nnyo olwe kibi ekyaliwo okumala emirembe esatu mirabbirira kubanga Kezekiya teyakiriza kwagala kwa Katonda wabula nalemera kukusaba okwagala okukwe. Yisirayiri ne Kezekiya bandibade bulungi nnyo singa Mukama yasazamu busazi esala ya Kezekiya eyali ekyamu. Manase ne Amoni, ob'olyawo tebandizalidwa. Wetaga kusoma biseera bya Kezekiya ebyasooka, “esala eri ku kirubirirwa kya Katonda,” etunuride ekitibwa no kumanyisa erinya lya Katonda mu mawanga ekiwadiikidwa mu 2Bassekabaka 19:19 okulaba engeri gyeyali yefako yeka bweyali afuusse mu.


Ekyenjawulo, Yakobo yateegeka okudayo munsi ya bwobwe okusisinkana muganda we Esawu, Yakobo yalina esonga enuungi lwaki atya Esawu, namegaana ne Katonda ekiro mukusaba. Bwe yasisinkana Esawo olunaku olwadako, ebintu byagenda bulungi nnyo kumutendera ogwa bulijjo. A boluganda bobbiriri basalawo okuteeka ebyayita era n’ebintu byona ebibawula kubali bagende nebyo ebibagata nga a boluganda basobole okubera mumirembe mu musi awatali kulwanagana. Naye nga wali wabadewo okumanya okw’Omwoyo n’okusaba okwa mazima ku luda lwa Yakobo ekiro ekyali kyakayita. Kyali kyelaga lwatu nti Yakobo siyeyali mu mitambo gy’okusaba kwe ekiro kye yameganamu ne Malayika wa Mukama.  Okuv’olwo Yakoba yatabula nga alina obukakafu bwokudibwamu mu kusaba oluvanyuma lwebyo ebyali bimutuseko era neyeyongera okwolesa obuwobefu n’obuwulize, yali amaze okufirwa Omwoyo omuwakanyi. Ekintu ekibi muye kyafa. Wabula atera ekintu ekirala ekirungu ne kitandika era munda muye. Mu kugondera okugoberera okwagala kwa Katonda ne kigendererwa kye mu kusaba kitufula nyo abawulize eri Katonda era abakozi naye wamu n’abantu abalala.Yava mu kusaba okwo nga azina.

Eky’okulabirako ekirala, si bagga dene nga Dawudi afuuse kabaka, Abafirisuuti ne bajja okulwanagana ne Yisirayiri. Dawudi yali musajja munamajje, kabaka era omuduumizzi owokutiiko. Awatali kuwananya kwona yandibade agenda bugeezi buterevu mu lutalo. Naye yasooka nga okwebuuza ku Katonda olwo nalyoka alwana era nawagula olutalo. Omuludi ogw'okubiri, a ba Firisuti lwe balubba wadigabye nti yadiirubye nga bulumbi nga yesigama ku buwaguzi bweyafuna emabega sako ne ekiragiro ekyamugabibwa Katonda okufuna, naye teyakikola, wabula yadagamu neyebuza eri Mukama. Omlundi guno yalagirwa okwetolola balabee be emabega alidiirire okukutta kwe buyaga mu butabi bwe mitti gy’obusaana. Ebuyaga yali elaga nti egye lya Katonda lyali lifulumye okumegana ne gye lya ba Firisuti obuwaguuzi bwa Dawudi mu nsi etarabiika, yava nga mu kwagalakwe okwo kulidiirira nga Mukama, okuwulira edoboozi lya Katonda, okusaba okusinziira ku teekateeka yakatonda, no kulidiirira amajje okuva munsi etalabika. Zino ngero zamanyi ezinyonyola okuyiga okwamanyi okuli mukusaba okugatako. Ziyimusa okuyayana nti Katonda ajja okutuyamba okumanya mu ngeri etukiiride okuzula kiki kya kola, tusabe nga tusinziira kwekyo era tukole naye.


Era Eliya yali mukugu nnyo mu kusaba owamanyi era wa kkizo “(Yakobo 5:16)” mu bulamu bwe obw’okusaba kubanga yakolagana nga ne Katonda mu kusaba era nasaba nga sinziira ku teekateeka ya Katonda. Endagaano ekade etubulira nti Eriya yali muntu nga ffe. Teyalina nyo njawulo naye yamanya okusaba nga asiziira ku kigendererwa kya Katonda, yasaba ekubba obutatonya. Ekirubirirwa kya Katonda nga kiwedde mu kyeya, katonda wa kanani owe kubba, Bayali, ajuguludwa (yamanyibwa nga talina kyasobola). Era abatu ba Yisirayiri ne badda eri Katonda. Oluvanyuma Eliya nasaba nga sinziira ku mutedera gwa Katonda ogudako mu teekateeka ye nga asaba ekubba okutonya. Omutendera ogw'okubiri gwali gwetagisa Eriya okusaba nga akyusizamu mungeri ye ey'okusaba: okusobola okutukiiriza ekigendererwa kya Katonda ku mutendera ogudako. Mu mbera yona yali agoberela teekateeka ya Katonda mu kaseera akageere. A magezi ga Katonda, ga bona, gasukuluma ag’abantu. Eno ye songa Lwaki tulina okuwayo okwagala kwaaffe eri Katonda.  Era tunoonye eteekateeka ye ku buli muteedera ogudako. Okuyita mu bulamu bwobuwereza Eriya yali muntu nga ffe, naye yamanya okusaba okusinziira ku Katonda ky’ayagala. Yasaba enkuba ereme okugwa, era bwe kyatuuka Katonda ky’ayagala ne kituukirira, n’asaba enkuba ne tonya. Buli kimu kyali mu kusaba okusinziira ku Katonda ky’ateekateeka mu biseera eby’enjawulo. Obulungi bwa Katonda busukkuluma nnyo enteekateeka z’abantu. Kyetugwanira okukola kwe kusuubira Katonda, okuwaayo ebirooto byaffe, n’okunoonya enteekateeka ye mu buli mutendera gw’obulamu n’obuweereza.


Omwetololo mu kukolagana ne Katonda mu Kusaba


Okusaba okw’enkolagana kutandikira mu mutima gwa Katonda.

Okuyita mu Mwoyo Omutukuvu, Katonda atutunuliza okwagalakwe, era ne tumusaba gyali, mu linnya lya Yesu, ye alyoke akole. Katonda bw’awulira okusaba okw’ekika nga kino, sigwe mulundi gwe ogusooka okuwulira okusaba okwekika nga kino. Akitegerera ddala nga ye kenyini yeyakutuwa. Alaba ekirowoozo kye nga kikirizidwa a bantu abalina okuyayana, akola ng’okwagala Kwe bwe kuli. Okuyita mu Mwoyo Omutukuvu, akolera mu bitongole bya bantu — ebiseera ebimu omuntu eyamusaba esala mu linnya lya Yesu. Ekivaamu kiri nti okutendereza olw’okuddamu okusaba kudda eri Katonda. Ekirowoozo kitandikira na Katonda, afuna amaanyi okuva gy’Ali, era kiddamu eri Katonda mu kutendereza olw’okukituukiriza. Eno y’enkola yomwetololo gwo kukolagana ne Katonda mu kusaba bwerin’okola. Tusobola okwongeramu ebyokulabirako bingi mu mwetololo guno. Katonda yakirowooza, ggwe nokifuna mu mutima, wakisabira, Katonda yakiwulira, Katonda n’akiddamu, ffe ne tukifuna, ate ekisembayo Katonda n’akkiriza okwebaza kwaffe ko n’okumutendereza. Kijja kyetolola kityo — era kintu kirungi nnyo.

Ekizibu kiri nti okusaba okumu kutandikira mu mitima gyaffe, si mu mutima gwa Katonda.

Katonda awulira ekirowoozo ekimwajulidwa mu linnya lya Yesu. Ku lwa Yesu, “elinya esaala mwesabidwa,” Katonda atuwa ekyokudamu, era netukifuna. Kikoma awo, naye, kubanga ekididwamu si kirungi gye tuli, tekireeta kitiibwa eri Katonda, era Katonda tafuna matendo. Bantu bameka abalina emirimu egitadiibade gyabwe, abageze mu masomero gye batandiigenze, oba abawasiza ob’okufubirwa be batandiifumbidwa? Okuba nti Katonda yabawa “ebyokuddibwamu bino” tekitegeeza nti kwali kwagala kwe. Kiraga bulazi nti okusaba kwa maanyi.

Ekibuzo kiri nti Katonda munafu nnyo okuba nti tusobola okumusendasenda okukola EKyo ekikontana no kwagala kwe? Nedda.


Katonda wa maanyi nnyo era tetusobola kumutiisatiisa. eddembe ly’atuwa lituyigiriza obuvunaanyizibwa obw’okukorera mu buyinza. Oluvannyuma lw’obulamu buno okuuggwa, Katonda aliteeka abantu abawulize n’abavunaanyizibwa mu bifo eby’obukulembeze n’obuyinza mu bwakabaka bwe obutaggwaawo. Nga tukyali ku nsi, Katonda atuteekateeka okutuuka ku mbeera eyo ey’olubeerera.


Mu kyeya kya 1988, nali mu lugendo ne mutabani waffe ow’okubiri, Joel, ku luguudo olunene mu Michigan ekiro.


Yalina emyaka 16 era nga avuga emmotoka, naye yali tanamanya  makubo. Nnalina okuba nga netegereza entabula yebiduuja ku kuubo, obubonero ku luguudo, ekyukakyuka ye misitale ku luguudo, we bafulumira newebakyukiira. Nze naye twakaanya nti yali mwetegefu olwobuvunaanyizibwa obusinga ko awo: yali mwetegefu okugenda kumutendera ogudako ng’avude ku kuvuga obuvuzi ekiduuka okutukiira ddala ku kulungamya ekiduuka okuyita mukakuniizo ke kuubo epavu erijjude ebiduka. Tetwageda wala nyo okutuusa lwe yabula we yali alin’okuwetera, nalidirira akaseera n’oluvannyuma ne mutegeeza. Mazima ddala twayina okugeda ku kifo we bafulumira ekiddako, ne twetolola, ne tugoberera ekkubo mpaka wetwabulide era ne tudda ku luguudo olutuufu. Teyayiga bingi mu mbera eyo okusinga nze bwenandimulaze buli kabonero ku lugudo oba okumulaga buli kuubo lye tulin’okuyita mu? Ndowooza nti yee.


Katonda afaayo nnyo ku kulaakulana yaffe okusinga bwe tutegeera.

Atuwa eddembe lingi nnyo. Talemesa kusaba kwaffe okutali kutuufu si lwakuba nti munafu, takulemesa lwa song’enuungi  kubanga ye Musomesa Omukulu era Omutendesi w’obusobozi bwaffe. Okusaba nakyo kisawe kya kuyigira mu bey’obulamu bwaffe Katonda by’akozesa okutuyigiriza. Atuleka tukole ensobi tulyoke tuyige. Kiringa omuzannyo gwa katemba oba oguzanyibwa ku kituti Katonda mwanyumirwa okukola naffe, alinga omuteesiteesi oyo akulenberamu omuzanyo, mubisera ebyokwegezamu, awa abazanyi be akaseera akedembe n’esobbi ezimu kwebyo ebirin’okugobererwa ayinza okuzireka mu kaseera ako —  kiyamba abazanyi n’omuzanyo gwenyini okuleeta omugundu. Omutesiteesi womuzanyo omumalirivu aleka abazanyi okuyiggira mu sobi zabwe. Katonda ye muteesiteesi omumalirivu.


Okwewayo n’okusaba


Enkola yange ey’okusaba gye nsinga okukozesa kwe kusaba nga mpitira mu Ssaala ya Mukama waffe (Esala Ya Kitaffe Ali Mugulu). Ebintu omukaaga ebiri mu ssaala eno binnyamba okusaba ku byonna bye mba nkyetaaga ku lunaku:


1. Okutendereza n’okusinza Katonda

“Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.”


2. Okuteekawo obwakabaka bwa Katonda n’okugondera okwagala Kwe

“Obwakabaka bwo bujje, okwagala kwo kukolebwe ku nsi nga bwe kukolebwa mu ggulu.”


3. Okusaba ebyetaago byaffe

“Tuwe leero emmere yaffe ey’olunaku.”


4. Obutakaanya n’abantu

“Tusonyiwe ebibi byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatukola obubi.”


5. Olutalo olw’omwoyo

“Totutwala mu kukemebwa, naye tulokole mu bubi.”


6. Okutendereza n’okusinza Katonda nate

“Kubanga obwakabaka, n’amaanyi, n’ekitiibwa bibyo emirembe gyonna. Amiina.”


Eno elina ensengeka emu yokka ey’okusaba buli lunaku, era esobola okutambuza ebyetaago byo byonna. Yesu yennyini ye yagituwa, era nnungi okugigoberera. Waliwo n’enkola endala ennungi; kozesa buli ekikuyamba okusaba obulungi. Okutereeza okusaba mu nteekateeka kiyongera amaanyi n’obulungi mu kusaba, ne bwe kiba nga tusigala nga tugondera Katonda.


Naye okugondera okwagala kwa Katonda mu kusaba tekiba kyangu, kubanga naffe tulina okwagala kwaffe. Singa tetweteeka okwagala kwaffe wansi ne tugoberera okwagala kwa Katonda, tuba n’ekizibu ekikulu. Ekifaananyi kyange kye nsinga okwagala ku nsonga eno kikwata ku kusalawo kwange ku mukazi wange ow’obulamu bwonna.


Mu Agusito wa 1963, nga ndi mu mwaka ogw’okubiri mu somero lya Bayibuli mu Ohio, nasisinkana Char Holmes, omuyizi omupya. Nali ndi mukuyiga nanga mu kisenge kye kibiiba kumwaliriro ogwokubiri waggulu, n’ansaba oba asobola okusoma amawulire gge  mu kisenge kyekimu nga nange bwe jiga enanga. Ogwo gwali mutawana gwenyini.  Omuwala omulungi okusoma amawulire nga ndi  mu kugezako okuyiga enanga kwali kunzigya kumulamwa!  Naye era omuntu ayinza atya okugaana okusaba ng'okwo?


Wadde nnali kwanyeko abawala abalala , Char ye muwala gwenasooka okutwala ewaka. Maama wange yambuulira nga Char bweyali amwanjulide bazadde be — Vernon Holmes ne Henrietta Barlow (taata wa Char ne maama we) — emyaka 25 emabega! Char nange twamala emyezi ebiri nga tuli mu kwagalana, nga twenyumiza ku kuyitibwa kwaffe kw’obumisani eri amawanga amagwira nga tukyali baana bato. Naye, oluvannyuma, nasalawo okukomya enkolagana eno. Nga bwonokiraba mumaso awo,  engeri yange genakikolamu yali ya kito nnyo.

Mu mwaka gwange ogw’okusatu mu somero lya Bayibuli, nagwa mu mukwano omungi n’omuwala omulala omulungi eyali ompya ku somero. Etutumu ly’ekifo kya kitawe kya fula okumukwana okuba ekye ssanyu elingi. Twayagalanira emyezi egiwera nga tuli mu ssanyu, naye oluvannyuma nansulawo. Nnakaba nnyo mu kyama era enakku yazijula; omutima gwange gwamenyeka. Nge ekijukizo kye emisomo gyange gyona, Nasigala kyamwagala nnyo, nelwakubadde nga yali Alina omuleezi omulala gwebali bagalana naye. Okumala emyezi egyo egyali emiwanvu, nasiiba era nemusabira okumala emirundi mingi. Mpaka lwe bafumbiriganwa nga kyeje tikirwe nedyoka panika okumusabira ye okuda mukuteegera kwe “bu” ademu okufayo gyedi nate. 


Mu kufuba kwange kwona okumusabira okukomawo gyedi, naye era namaliriza nga okusaba kwange kwona nekigabo nti mubyona okwagala kwa Katonda kukolebwe okusinga ekiroto kyange okutukiirira era nasaba nga Katonda okukola ye kyeyayagala nga okukola okusinga ekyange. Zzijjukira lumu nasabira ko n’omwami we gwali funa mu biseera ebyomumaso —  nti Katonda awe omukisa omukwano gwabwe. Nawulira nga nali mutukuvu nyo ebiseera ebyo! Yafubirwa omuvubuka oli omulala — omusajja eyali ansingako — era bawereza nga bona nga abasumba bekanisa.


Emyaka mingi bwe gyayita nga tukomyewo mu America muluwumula lwaffe olwasooka okuva mu Korea okuva mu 1977-78, twakyalira ekanisa yabwe na maka gabwe. Era nga kiraga nti byona Byali bitabula bulungi.


Emyaka egiwera bwejayita nga nze ne Char tubade mu Korea emirundi egiwera, twawulira nti omuwala oyo yava mu bufumbo bwa bba we n’abaana be. Twategezebwa nga bweyali akoz’ekyo mbu “assobole okwezula ki kyeyali”. Ne nneebuuza, nti singa yali nze nabaana bange beyaleka? 


Mu myezi gyokusiiba n’okumusabira, nali tunuulide byakugulu, wabula Katonda yamanya embala ye. Yakuuma okuva eri omutawana ng’ogwo. Bwaba nga yalekawo omwami we eyali obulungi nga lina nekanisa enuungi mu America, mazima ddala yadisudewo nengendo zange ezobumisani. Kisannyusa nnyo nti nasaba okwagala kwa Katonda okukolebwa okusinga okwange. 


Esonga y’okusaba ng’osinziira ku kwagala kwa Katonda si kintu kyangu bulijjo — nadala nga esonga zikwata ku mutiima oba omulimu, ebirubirirwa bibawo. Okusobola okwewala ebizibu ebigwa bitalaze — leka okwagala kwo kukolebwe wabula sikwange. — Katonda amanya ddi lwetukiteegeza ne lwetutakiteegeza.

Mu mwezi ogw’okubiri 1968, nga ndi mu kifo ky’omusumba adirira a sooka e Gettysburg, Pennsylvania, nategezebwa omusumba omukulu nga ekanisa bwegenda okuza  abafumbo ababiri (omwami n’omukyala) mu kifo kyange. Kino kyali kityo kubanga nze sali mufumbo mubuwereza. Atera nali kwanyeko kumpi buli muwala mukanisa naye nesiwasako wade omu. Kyalabika nga sikyabwekanya kumulimu gwange okuba nga siri mufumbo.

Newayo okunoonya Mukama nga bwesimunoonya nga ko olwo mukyala.

Nawandiikira omukyala womulungamya kugobolola gwenalowoza nga ssobola okumwesiga n'esonga enzito ng’eyo.

Nga nekubagizza olwobutali bwekanya.

Yampadiikira nga ategeza nga mukwano gwange omukade Char Holmes bwe yali atadeyo okusaba kwe okufuna ebiwadiiko ebimutwala a Gwatamala nga omuntu ayamba omumisani. Nangaba nti Char yadiibade asayo busa kusaba kufuna biwadiiko byakuuffubirwa. Mu kaseera kamatikira gomwaka gumu n’ekitundu emabega abantu munana nga kwogase nono mukyala womulungamya banegayirira mpase Char era yali yassaba obutava mu somero lya Bayibuli nga siri na Char Holmes. Kino kyadetera okwongera okugaana ekirowoozo ekyo.

Enakku nyingi zayita.

Bwenali saba n’okusiiba ku Lwakutaano, mu mwezi ogw'okubiri nga 23 omwaka gwa 1968, nagalamira wasi mu ofisi yange kumaky’ennyo nga negayirira Kitange owonugulu. ndabika nasumagiramuko  kubanga nazukuka kumpi ng’obudde bwamalya gkyamisana. Nalaba nga swade nyo mumaso ga Mukama Kubanga nali nebase mukaseera kenali ngerezamu nga bwesobola okumunoonya mu kusaba. Emyezi egimu emabega nali nkoze olukala lwabawala musavu abo benalowoza nga nti balina ebisanyizo ebisobola obufumbo. Kumabali gabuli linya ly’omuwala, natekawo ekigabo ekikwata kuki kyalinamu amaanyi era nebimukwatako. Omu yalina ekitogole ekiri mumanyage, ekigabo kumulala kyali nti yali wakulusegere, omulala kyali nti akwatibwako nnyo, omulala yalinako “kukiriza”. Elinya lya Char lyaliko buwereza era nga Ali ku lunyiriri lwa kuna era kati amanyi okukigeresa nti ye yali mumasekati kubanga bali musanvu.

Nga zukuka mu tulo twange otutagasa wansi wa ofisi yange, nasemberera desike okusikayo olukalala lw’abawala omusanvu nga njagala sabire omu kwomu. Naye nga sinabba nakutuuka ku desike okujayo olukalala lwange, nagamba “Mukama, abantu bano bona bagezako okungamba nti Char yeye. Batuufu?” Mu mutiima gwange, nawulira Okudiibwamu bulungi nnyo nga bwenali pulideko okuva eri Mukama, “yee.” Katonda oluvanyuma natwala obuvunanyizibwa obwo mumaso nze ne mpanika jjali. Katonda natadiika okundaga Omwoyo gwa Char. Engeri yoka gyenyiza okugerageranya kye “nalaba” kwekukozesa ebigambo, naye ebigambo tebisobola kukijayo bulungi kyenayolesebwa. Kale, Katonda yandaga okusasira kwa Char eri abo abalumwa, okwagala kwe myoyo egibuze, okwagala okusabira abantu, okuyayana okubakulembera eri Yesu, n’ekirabo kye ekyokwaniiriza nokulabirira abantu.

Okumala edakiika 10 oba 15 ebirowoozo bino byajula obwogo bwange. Namanya nti Katonda ayogera nange. Najuza n’obutabala obuwera amaziga.

Nategeera nti Katonda yali amanyi bulungi omuwendo gwa Char okusinga bwe nnali mmanyi. Nayogedeko emabega engeri gyenali gyawukanye ne Char mu ngeri eye kito okumala emyaka nga ena n’ekitundu emabega. Okusigiira ddala nalowoza nti yali tamanyi kulonda ngoye zakwambala kubanga yayambala ng'ezo ezikoledwa mumaliba amerere zoka. Naye amazima amatufu gali nti amanyi okwambala obulungi lwakuba yali asinga okusako essiira ku kusasula ebisale bye somero okusinga okwambala emisono gye ngoye egiriko.

Abawala abalala abali besasulira ebisale bye somero, era abamu kubo bakolera nga mu supa maketi yemu Char naye mweyakolera nga. Bakozesa nga ogumu ku musala gwabwe okwegulira emisono gy’engoye eziriko. Wabula Char yasasulira nga byetango bya somero. Balina engoye, wabula Char yalina embala! Bwezijukira essomo lyange lyenayiga nga saba okuyita mu kino, tewali kiyita ku Katonda nga tategedde. Ayagala, buli kaseera, okutulaga butya bwetuyinza okusaba nga tusiziira ku kwagalakwe okuva okutadiikwa n’okweyongerayo. Ekyokudiibwamu kyange ekisinga ku kusaba —  bwendeka Katonda okusigaza eteekateeka — kinyonyola kino.


Okuleka Katonda Ave mu Kasanduuko


Kino kyekyali ekyewuunyo ekirala Katonda kye yampa bwe namulekera okusigaza eteekateeka. Mu ttumbi lya 1996, nali kyafa kubikwatako mu Beijing nga nsoma olulimi n’ennono z’Abachaina ng’omumisani omulungi. Ku lunaku olumu nafuna essimu okuva eri munange gwe nasomaga naye mu diguli eya waggulu. Yandaga obubaka nga ambuuza oba nali nsobola okwegatta ku mulimu gwe mu somero lya  Bayibuli Oral Roberts University (ORU)  mu Tulsa, Oklahoma. Namuddamu nti sirowoza nti ndi mwetegefu, naye nemugamba nti gya kukisabira ndabe.

Okuva ku myaka mukaaga, nali njagala okuba omumisani. Bwe nali ndi mu kusumululwa okuva mu bulwadde bwo musujja gwe nnyingo, nagamba jjajja wange bwenali nesibye tawero ku mutwe nti,

 “Bwe ndikula, nja kugenda mu Misiri. Gya kwesiba ekitambala ku mutwe nga abatalabani bweti mbulire abaana abo buwala nabo’bulezzi ku Yesu.”

 Okusaba kwa jjajja wange okuba omumisani asinga obulungi nga bwekisoboka yabanga munnyeenye yanga enungamya mu bulamu bwange bwonna. Ezo zezali nga engero nze ne Char  ze twangabanako nga twakagalana. Mu ndowooza yange, nnali gyagala okuba omumisani okutuusa ku nkomerero y’obulamu bwange. Nakaaba bwe twava e Korea, era ne nsanyuka nnyo bwe twaddayo  mu buwereza mu myaka etaano egyaddirira mu kifo mwe nawulira nti mwegwanira okubera. Twalina obwetaavu bwe by’ensimbi mu myaka gyetwali e China, naddala mu mwaka ogw’enkomerero, era twasabanga nnyo tusigale nga tuli besigwa ku mulimu gwafe eyo. Okwo kwekwali okwagala kwa Katonda mu myaka egyo etaano, naye byali binatera okukyuka. Ssaategeera nti mu kugumira mu kusaba kwange okw’okusigala mu China, nnali mpola mpola ntadde Katonda mu kabokisi.


Nga bwekyabawo, mutabani waffe omukulu, Dan, yali agenda okumaliriza emisomo gye ku ORU mu bir’ebyo. Nasalawo okudda mu Tulsa okuva mu China okwetaba mu mukolo gwe ogw’okumaliriza emisomo n’okwetegereza ku mukisa ogw’okuyigiriza ku yunivasite eyo. Nali njagala nnyo okusigala mu China, naye naalaba nga si kirungi okwewala akakisa ako. Nalaba nga nadiibade nga ekinyonyi maya nga kwese omutwe gwage mumusenyu obutagezesa mukisa ogwo. Naye era nayagala okusigala nga mperereza Wabweru. Nasalawo okugenda mu kugezesebwa n’okubuzibwa ebibuzo mubukugu bwange (entaviyu) nali gyagala kugiyitamu buyise male nedireyo ku mulimu gwange mu Beijing.


Mu wiki Dan mwe yali Alina okutikiirwa, nze nomukwanaganya wabayizi, twakyalira akakiko akanonyereza ate era akabuuza oyo eyetaga omulimu butya bwadukanya omulimu gwaliko okusobala okumumanya.  Bwenabuzibwa butya bwezirukanya omulimu gwange mu China, nadamu nesanyu lingi nnyo — lingi nnyo ekyaletera nomu kubakakiko okubuuza “bwoba ng’oli musanyufu nyo era ng’ogasa mu China, Lwaki oli wano ku entaviyu eno okufuna ekifo kino? “Kitegede nnyiza obutaba muntu wamwe ddi musanyufu mu China. Ddi wano kumanya bumanya kwagala kwa Katonda.”


Okubeera omumisani kyali kintu kirungi. Naye era nali ssobola okukiraba nti nokubera Omutendesi waba misani nakyo kintu kirungi. Okusalawo tekyali kintu kyangu. Nolwekyo na megana nokusalawo okutabagawo mu kwenali nkoze. Okusigala wabweru ng'omumisani oba okuda ku ORU okutendeka abamisani Olunaku lumu mu wiki eyo, nayatula, “Mukama, amazima wakiri sigala ku mulimu gw’obumisani.” mukaseera ako kenyini Katonda yazziramu mu ngeri etegeerekeka obulungi nti,

 “Esonga Lwaki oyagala okusigala ku mulimu gw’obumisani, yesonga yemu lwaki njagala okukukozesa mu kibiina ky’amasomo!”  Katonda nange twali mu mboozi eyobwesibu ddala, era kuba nali mpulide okuva jali, nali musanyufu okuleka eteekateeka gyali.


Okuva awo nava ku kusaba okw’okusigala mu China n’entandika okusaba ku ngeri y’okutandikira omulimu ku ORU. Okusabira omwaganya okusigala e China kwali kufuse kwabuli lunaku. Okusigala nga nenyigira mu teekateeka ya Katonda nalina okukola olukyuka lwa sipidi 180, mu kusaba kwange. Kino tekwali ng’okusaba kw’Eriya kwetwalabyeko edda mu sula eno. Mu 1 Bassekabaka 18, Eriya bweyasaba ekuba okutonya, kyali kikotana ne sala ye gye yasaba ekuba obutatonya mu 1 Bassekabaka 17. Ate nga Eriya yali mutufu ebiseera byona. Nakyusa endagiriro y’okusaba kwange okukatiiriza omutendera gwe teekateeka ya Katonda ekusike edako. Kyava mu ku kyukirawo ku sipidi 180 mu ndagiriro yo mulimu gwange.


Sijja kwewanisa nga atalina bukyamu, naye njagala nnyo  okuwayo omulimu gw’okusaba ne endagiriro eri ekigendererwa kya Katonda. Mungeri eyo, okukula kwe sala kutukiriza  enteekateeka ya Katonda era nekumuretera ekitiibwa.  Nayiga okuleka Katonda ave muka bokisi. Kimannyi bulungi nti tewali amuteka mu ka bokisi mu bugenderevu. naye mu butamanya tukikola. Kubanga Ye Musomesa  Omukugu, ebiseera ebimu Atuleka.


Okwawula mu masekati gebirowozo no kukuleberwa Omwoyo Omutukuvu.


Si bulijjo nti amangu ago kyetuba tusabira, tusaba nga tuluŋŋamizidwa Mwoyo Mutukuvu. Naye nkakasa nga kirungi nnyo okusaba nga tukwatagana n’enteekateeka ya Katonda, ne bwe tuba nga tetumanyi bulungi kye tusaba, okusinga okubera nga fuga byona byesaba era nga saba okusiziira ku kumanya kwaffe okutono. Okwawula okwagala kwa Katonda  ne Doboozi Lye kintu kya bukugu kye tuyinza okuyigira mu myaka. Mu by’okulabirako byona bye mpadde, nandigenze mumaso  ne nteekateeka yange mu kusaba. Wabula nalondawo okwesiga okuluŋŋamizibwa kwo Mwoyo Mutukuvu ne nnoonya enteekateeka ya Katonda. Ne yongera okusaba okumanya okwagala kwa Katonda, olwo nsobola okusaba nokummanya okusiziira ku kwo.

Okutebereza kwaffe kusobola okutuwabya okutuja ku kugoberera eteekateeka y’Omwoyo. Mu kugezaako okubeera aberufu eri Katonda kyatukuleberamu okusaba, oluusi tuyinza okugoberera endowooza zaffe mu kifo ky’okugoberera Mwoyo Mutukuvu. Kino kyongera okutulaga ensonga lwaki tulina bulijjo okwongerako ekigambo eky’okwewaayo:

 “Naye si nga bwe njagala, wabula nga gwe bwoyagala.”

 Tuyinza okuba nga tusobya, era bwe kityo tusaba Katonda asazewmu okusaba okutali kutuufu. Katonda amanyi emitima gyaffe, era bwe tumusaba, ayagala nnyo okukyusa oba okusazaamu okusaba kw’amanyi nti tekulina mulamwa. Omulimu gwaffe kwe kwagala nobwesigwa okwagala kwe.


Mu kusiba kwange okwe nnaku essatu okw’emyaka egyayita, namala ekiseera kinene nga nneerowooza mu ngeri etali ntuufu ku kifo kyange mu by’obumisani ku yunivasite. Kyantwalira okufuna amagezi okuva eri omukwanaganya wabayizi wange n’okuwulira mukyala wange olwo netegeera nti teyali Mwoyo Mutukuvu annungamya wabula endowooza yange. Naye okusaba kwange tekwafa busa — kubanga Nasigala sabiraku byombi ebinavamu. Tewali nomu okuguka mu bukugu buno mu butuufu bwonna. Waliwo obukugu bwokwawula mu masekati ge domboozi lya Katonda n’okwagala Kwe. Waliwo obutebekevu mu kuwabulwa, nolw’esong’eyo njagala nnyo okwogera n’abantu abagezi abanetolode, era abo Omwoyo wa Katonda mwatula. Batera okulaba ebintu nze bye siraba.

Waliwo emitendera ebiri egy’olutalo lw’obulamu bwona: eby’omwoyo n’obw’omubiri. Ebintu byagu nnyo okukolebwa obulungi ku mutendera gw’omubiri singa tusooka okulwanira ku mutendera gw’omwoyo. Okusaba kulongoosa ekkubo ery’o kutukiriza ebintu mu nsi  yebirabika, kale tulina okuwa Katonda obukulembeze bw’enteekateeka y’okusaba. Okuwa Katonda obuyinza ku nteekateeka y’okusaba kitegeeza nti tetunoonya ky’ayagala ku nsonga zaffe zokka, naye tumuwa n’obuyinza ku nsonga z’ateeka mu mitima gyaffe. Buli kimu mu kusalawo kwaffe kiba wansi w’obukulembeze bwe — gwe tuwasa, gye tubeera, engeri gye tuweerezaamu, bye tusabira, esonga yokumutendereza, gye tukolera, bye tufako, ne bye twesonyiwa. Ekitugasa mukino, bino byona bisobola okukolebwako munsi ey’omwoyo — eri okwanirizibwa kwaffe, ne Katonda okusoka okubera ne kiragiro eri ekigendererwa ky’okusaba era oluvanyuma, ekyokubiri, okubera ng’olina obuyinza kwebyo ebivamu. Abaana ba Katonda bafuna obumanyirivu obubagasa obwamanyi bwe basaba nga basiziira ku kwagala Kwe.

Abegayirizi mu kusaba basobola okukyusa ebyafaayo. Guno gwe mutima gw’omukurisitayo agatako omuwedo mubulamu. Okusabira mu kwagala kwa Katonda ob’olyawo gwe muze omukulu  mu kitabo kino. Emirala gyonna ngigoberera bugoberezi.

Obunyiikivu, amaanyi n’obutuufu byonna bikulu mu kusaba. Era buli kimu kirina okwagala kw’obunyiikivu n’obutuufu. Naye bwoba ngoli wakulonda wo wakati wokunyikira no kutukirira, kirungi okusaba ku bintu ebituufu mu ngeri etuufu okusinga okufuna amaanyi amangi ku bintu ebitali bituufu. Katonda asobola okukola ebisingawo ennyo bye tusaba oba bye tulowooza (Abaefeso 3:20). “Era nga ensi bweli ewala negulu, bwegatyo namakubo gange bwe gali ewala namakubo gamwe, nebirowoozo byange bwebiri ewala ne birowoza byamwe.” (Isaya 55:9). Tuteeka mukatyabaga amagezi Ge bwe tutanoonya kuwabulwa Kwe kuki kyetulina okusabira era tusabe tutya. Bwetutamubuuza, ebikolwa byaffe bimulaga nti ffe tulowoza tumanyi okusinga ye bwamanyi. Kino kinafuyiza ddala esala era esala enafu eyonona amanyi. Esala ezomulamwa tezimalamu manyi era zigasa nnyo. 

Okusaba mu kwagala kwa Katonda kugasa nnyo mukasenge kabalwadde nga ne mu bifo ebirala. Kitange yali akuliride era nga anafuye bwe twamukyalira ewaka nga twakava mu China. Nga twakatuka mu munnyumba ya muganda wange  kitange gyeyali abera, tetwasaba kumuwonya, wabula twayimba oluyimba olutendereza Katonda ne tumusaba amwanirize mu ssanyu mu ggulu Lye. Mu ssaawa 12, Kitange yagenda eri Mukama okuba naye. Ne ku nnyina wa Char nga akuliride era nga agenda anafuwa, twakola ekitu kyekimu akawugezi akamu.  Mu malya gekyemisana olunaku olwaddako, yali agenze okuba ne Mukama. Si kwagala kwa Katonda okuwonya buli kiseera. Mungeri endala, kikulu nnyo kwewayo n’endowooza eterede mu kusaba bwekuli, tetulina  kukakasa mubuli kusaba. Nga tusabira omulwade, tekisizirwa ku mpulira ya kukiriza kwabwe mu Katonda okusobola okufuna ekyamagero nga twegayirira Katonda, bwekuba nga si kwagala kwo okuwonya omutu oyo, teetwetaga okuzimba okukiriza kwabwe mu bye tusaba. Mu song’eyo, nebirowoozo byaffe bisigala nga bigodera Katonda, n'okusaba kwaffe nga kwakukiriza. Byona sibya komerede; tolina kwatula bwatuzi byona omuludi gumu. Bwomanya Katonda kyayagala okukola, osobola, era olina, okugezesa okukiriza era onyikire mu kusaba. Essomo mu kugondera ku kwagala kwa Katonda mu kusaba kutukuma okuva eri okweyagaliza; tekulina kuba nga kukotana no kukiriza.

Mu ssuula eziddako ojja kusoma engeri gye nnazuulaamu ensobi ennene nzenazuula mu bulamu bwange obw’emirimu, ne nkozesa okusiba n’okusaba okumala ekiseera okudda mu kkubo etuufu. Olwokuba EKyo kyali kizibu naye nga kyamusaso okuyigira mu, obulamu bwange bugwa mu  bitundu bibiri — okusebayo era oluvanyuma okusoka.