Siba ng’okigederede era ng’okikolede eteegeka
Empiisa z’Abakristaayo Abakola Obulungi Ennyo
“… era Kitaamwe alaba ebikolwa mu kyama, alibawa empeera.”— Matayo 6:18
Mu mwaka gwange ogusooka mu ssomero lya Bayibuli, nafuna okumu ku kuwabulwa okukyasinze obulungi ku kusiiba okuva kwomu ku basomesa bange. Yampa amagezi bulijjo okuntandiika n’okusiiba okutono okusinga okugezako ekintu ekiwavu oba okukola ekintu eky’obuzito awatali kwetegeka kumala, empisa, n’obwetegefu. Nagoberera amagezi omukyala oyo ge yampa. Mu kyeya ekyaddirira, natandiika empisa ey’okusaba n’okusoma Bayibuli buli lunaku.oluvannyuma nali mwetegefu okuntandiika omutendera omulala bulijjo ogwa wagulu ogw’okunoonya Katonda mu kusaba n’okusiiba.
Abantu abamu basagira ku kusiiba. Abalala bakwewanisa nnyo. Endowooza ezo zobbi zifula okusiiba okwalayisi era mungeri etali nungi kusobola okukosa abantu abadyagade okukukola. Omuludi gumu mu mingi, ojja kusaga abategeera amannyi agali mu kusiiba n'okusaba. Esong’ey’okusiiba n’okusaba bwebawo okwagala kw’abantu nga bano abakutegera ebirungi bye kuleta, mu kunyumya kwabwe kweyongera, bagabana obumanyirivu n’okukakasa okwekitalo. Bamanyi amanyi agali mu kikozesebwa kino eky’omuweddo.
Ekitabo ekikyasize obulungi kyenali somye ku kusiiba nomutwe gwakyo “OKUSIIBA KATONDA KWEYERONDEDE” ekyawandiikibwa Arthur Wallis. Kyagerekerwa, mu by’omwoyo, n’ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo. Ekitabo ekyo kyali kyamuzizzi nnyo mu kuteekateeka endowooza ennungi ku kusiiba n’okusaba. Okuva kuntobo y’omutima gwange, kukutiira gwe okukisoma. Ebimu ku birowoozo ebiddirira biva mu kitabo kya Wallis.
Okusiiba kulinga obukugu bwona oba omulimu ogwetaaga okuzibwa. Bw’oba ng’oli mu pya mu kusiiba, wadyagadde okutandiika n’okwakaseera akatono era, okwa buli kaseera osobole okwongera obusobozi bwo n’obwesige. Bw’oyongera okufuna obumanyirivu, osobola okwongeza ebbanga ly’okusiibira mu mpolampola. Mu mpisa y’okusiiba, tufuna amaanyi ag’omwoyo, obusobozi bw’okukumira ebirowoozo byaffe awamu mu kaseera kokusaba, n’okwongera okutegeera Ebyawandiikibwa bya Katonda. Abantu bangi batya okusiiba oba bali bawulidde ko ku ngero ezitiisa. Abalala tebakitegeera nti engeri zaabwe ez’okulya ezabulijjo zateekateeka emibiri gyabwe okugaana okusiiba. Abamu tebawulidde buwulizi bujulizi bulungi buli mu kusiiba. Abangi tebakirowoza nti kigumikirizika, balaba nga tekisoboka — naye kisobokera ddala. Nkomekereza essuula eno nga njogera ku kusiiba kwange okw’ennaku 40, mwe nayiigira ebintu bingi eby’omugaso mu by’obufuzi, ebyemirimu egyemikono n’amasomo geby’omwoyo, era mu bulamu bwa buli lunaku. Obumanyirivu bwange bwali bulungamizibwa era nga buteekedwa teekedwa n’Omwoyo Omutukuvu, ku lwange mu mbeera gye nnalimu mukaseer’ako.
Okusiiba Mu Bayibuli
Wadde ng’okusiiba kulungi nnyo gye tuli, kukontana n’enkola y’omubiri ogulina byegwagala. Bayibuli egamba nti, “Tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, wabula oyo aguliisa era agufuga” (Abefeso 5:29). Tulina okukola okusalawo okusinziira ku by’ensonga era ebikulu. Bw’oba oyagala emmere okusinga okwagala okuddibwamu kw’okusaba, kale lya. Wadde ng’okusiiba kukontana n’okwegomba kw’omubiri, tekukontana n’okwegomba kw’omwoyo. Okusiiba kulagibwa mu ngeri ennungi mu Bayibuli, mu by’okulabirako n’endagiriro. Ekimu ku byeyongera ku bukulu bwa Musa, Dawudi, Eriya, Danyeeri, Kaanna, Anna, Yesu n’Abatume, kyava ku kusiiba.
Okusiiba okwa bulijjo kitegeeza okwewala emmere n’ebyokunywa, naye ng’onywa amazzi. Mu ssuul’eno, tujja kwogera nnyo ku kusiiba okwa bulijjo. Bayibuli egamba nti mu kiseera Yesu kye yasiibiramu, “teyalya kantu konna,” era nti yali muyala” (Lukka 4:2). Tekiraga nti teyanywa kintu kyona (nga bwe kyali ku Musa ne Pawulo) oba nti yali muyonta. Okunywa amazzi amangi nga tolina ky’olya kiyamba okuyonja omubiri mu kiseera ky’okusiiba. Okusiiba okwa bulijjo kwe kusinga okwogerwako mu Byawandiikibwa era kwe kusinze okutuyitibwa okukola.
Okusiiba okw’obutalya kintu kyonna kulabikirwa ku Pawulo, eyayogerwako nti, “yamala ennaku ssatu nga talaba era nga talya newankubadde okunywa ekintu kyonna” (Ebikolwa 9:9). Mu mbeera yakatyabaga, abamu basobola okusasula omuwend’ogwo. Pawulo ne Musa bombi baali n’ensonga ez’enjawulo nga tezewalika ekyabaletera okugumira okusiiba okw’engeri eyo.
Okusiiba okw’ekitundu kitegeeza okulya emmere eyekika ekimu n’otolya ndala yona, oba okunywa ebyokunywa nga juusi naye nga tolya mmere. Kino kyalagirwa ku Daniyeri mu Daniyeri 10:3: “Ssalya mmere nnungi, newakubade e nyama wadde omwenge tegwatuukako ku mimwa gyange, era ssesigako mafuta okutuusa ennaku ssatu bwe zaayita.” Eriya ne Yokaana Omubatiza bombi bakozesa okusiiba okw’okulya emere eyekika ekimu. Okusiiba kuno kwamanyisibwa nnyo mu mirembe egiyise omugenzi Bill Bright owa Campus Crusade for Christ. Kukiriza obutanywa olusi, era abantu bangi balabika nga bagala okukugezako. Omuwendo gw’okusiiba guba kusalawo kwo.
Yesu yalagira abayigirizwa be okugaba eri abaavu, okusaba, n’okusiiba. Yakozesa ekigambo “ddi,” tolina “oba”: “bwogaba eri abaavu,” era ddi lwo saba,” era “lwo siiba” (essira lyange). Ekirabikirawo kirinti Yesu yatusubira fee okukola ebitu bino. Kukomerero ya byona, ebiragiro bino byonna bikomekkerezebwa n’ekisuubizo nti, “Kitaawo alaba ebikolebwa mu kyama, alikuwa empera” (Matayo 6:18). Yesu yagamba nti ekiseera ky’okusiiba kya kaakano, mu naku zaffe, oluvannyuma olw’Omugole okuggibwawo. Mu naku za Yesu, Omugole yaliwo, era okusiiba tekwaali kwamulamwa nnyo. Kirabika nti Yesu n’abayigirizwa be beekaanya okusiiba okwabuli mwaka, n’abantu a Bayudaaya abalala, naye tebaakolanga okusiiba okw’emirundi ebiri mu wiiki ng’Abafalisaayo bwe baakolanga. Wadde bibeera bityo, Yesu yagamba nti, “Ekiseera kirijja Omugole lw’aliggibwawo; olwo balisiiba” (Matayo 9:15).
Mu bifo okusiiba we kukkirizibwa, kutera okukolebwa olw’emiganyulo gy’obulamu obulungi n’okufuna amagezi n’amaanyi ag’omwoyo. Bino bye birungi ebiva mu kusaba n’okusiiba okulungi, naye kisoboka nemukuyayana kwaffe kw’eby’omyoyo n’ebitusikiriza, omuntu n’aba nga yeekubiriza. Tulina okwebuuza nti okusiiba kwaffe kwa Kristo oba kwaffe? Ekigendererwa ekikyamu kisobola okwonoona byonna. Yesu emirundi mingi yayigiriza nnyo ku bigendererwa, ng’ogaseko neby’okusiiba. Yayogerako ku Mufalisaayo eyasaba nti: “Katonda, nkwebazza kubanga siring’abantu abalala — ababbi, abeeyisa obubi, abenzi — oba nga ono omusoloza womusolo. Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki era nkuwa ekimu eky’ekkumi ku byonna bye nfuna” (Lukka 18:11–12). Bayibuli egamba nti Omufalisaayo yasaba nga yeyogerako oba ng’asaba eri ye kennyini. Bwe kiba nti yali asaba eri ye, kitegeeza nti yali asaba mu kyama, naye ne bwe kiba bwe kityo, ekigendererwa kye kyali kikyamu — yali yeemanyi. Kisobokera ddala nti omufarisayo yali yefula Katonda ekifula ekigendererwa okwongera okuba ekikyamu ennyo. Mu ngeri yona okusiiba mu kyama kuyamba okutuggyamu okwegomba okutenderezebwa abantu, naye n’ekyo tekimala. N’olwo nate, tulina okukikola ku lulwe.
Ekigendererwa ky’obulamu bwaffe bwe kiba nga kutendereza Katonda mu byonna bye tukola, okusaba kwaffe n’okusiiba tekurina kufuba kukakatika kwagala kwaffe ku Katonda, wabula kirina kubeera ngeri ya kwekwata ku magezi ge, amaanyi ge, n’okwagala kwe mu mbeera zonna. Okusiiba kikozesebwa kyamanyi nnyo, era amaanyi ago galina okusigala nga gaggiddwa ku kwagala kwa Katonda, nga bwe kiri ne mu kusaba. Okusiiba si ngeri ya bufusa eyokudyekadyeka ensi ey’omwoyo. kiduuka abayiriza mwe bagolokoseza Katonda okukola ku lwabwe. Okusiiba bwerufu eri Katonda era no kumusaba — so si kulagira. Mu kusoma kuno okw’eby’omugaso gy’okusiiba, tetulina okutandiika kusiiba, mu ngeri eyokwagala kwaffe, olw’ekigendererwa kyonna mu kiseera kyonna. Tusobola okutandiika okusiiba nga tukiteeka mu mikono gya Katonda, oba Katonda yekennyini ayinza okutuyita okusiiba ekisiibo. Mu mbeera zombi, amaanyi gano ag’omwoyo galina okugondera okwagala kwa Katonda. Tuyinza okulowooza nti twagala ekintu bubi nnyo okutuusa lwe tukisiibira n’okukisabira, nay’era Katonda ayinza n’okutulagira obutasiiba. Okugonda kusinga ssaddaaka.
Emigaso gy’Okusiiba
Abantu abamu basiiba olw’ensonga ezitali za mwoyo. Ne mu mbera yebyesi, waliwo ebintu bingi ebiraga emigaso gy’okusiiba eri obulamu bw’omubiri. Newakubadde ng’okusiiba kulabika ng’okuvuganya n’e apetayiti y’omubiri, kirungi eri obulamu bwaffe. Newakubadde nga ndi mu kuwandiika ku kusiiba kubanga empisa egata ku bulamu bwaffe obw’omwoyo, kiyinza okukuzzaamu amaanyi okumanya nti waliwo abasiiba nga ekigendererwa kyabwe ekisokera ddala kiri ku bulamu bwabwe.
Bulijjo, tusiiba okusobozesa okusaba n’okwegayirira, naye oluusi tusobola okusiiba“ olwa Katonda Katonda” — kubanga tumwagala era twagala okumugulumiza. Bw’osiiba mu nkola eteeketeeke, okugeza ng’omulundi gumu mu wiiki, oja kutwala wiiki eziwera nga tozude mutawana gwona gwonoonya kugojola. Mu nsong’eno, tusiiba nga kulwa Katonda, okumunoonya, okumumanya, n’okufuna obudde obw’enjawulo bw’okwegata Naye.
Amalala songa ya mwoyo. Okulumwa enjala kireeta okukakana kw’omuntu, okumanya okwesigama nga ku Katonda, n’okuteegera obunafu bw’omuntu. Ku ludda olulala, bwe tuba tumaze okukutta, twongera okumanya nga tetusobola buli kintu ffe ffeka. Noolwekyo, amalala n’okuwulira ng’okuse bisobola okuba omutego ogw’ amanyi. Katonda yakola mu kiseera kye kimu ku mwoyo gwa Isirayiri n’olubuto lwabwe “Yakukakkanya n’akuleetera enjala” (Ekyamateeka 8:3). Katonda amanyi amalala agali mu mutima gw’omuntu, okututaasa okuva eri ffebennyini atulabuula nti: “nolwekyo, bwonoomalanga okulya nokkuta, era ng’omaze okuzimba ennyumba ennungi n’otuulang’omwo, era ente zo n’embuzi zoo nga zaze, era n’efeeza yo ne zzaabu ne byekubisamu, n’ebyo byonna by’olina ne byekubisamu, kale omutima gwo guleme nga okwegulumiza, ne weerabira Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nnyumba ey’obuddu” (Ekyamateeka 8:12–14). Okusiiba kye kikozesebwa ekyamanyi agasukulumye kwago ag’okunsi Katonda gakozesa okukakanya amala mu mutiima gw’omuntu, okuyigiriza omubiri empisa, era okukakkanya ememe. Ezera yamanya emigannyulo egiri mu kwewobeeka mu kusiiba: “Eyo ku mugga gwa Yakava nnalanggirira okusiiba, tusobole okwewobeeka mu maaso ga Katonda waffe …” (Ezera 8:21).
Okusiiba kuyamba okufuna eby’okuddibwamu mu kusaba, nga n’ekyokulabirako kya Ezera bwe kiraga: “Awo ne tusiiba ne tusaba Katonda waffe ku nsong’eyo, n’atuddamu” (Ezera 8:23). Kirabika nga waliwo emitendera egy’enjawulo mu buzibu bw’okufuna eby’okuddibwamu ebimu mu kusaba. Mu bimu ku biwandiiko by’Endagaano Empya, eyongeramu ebigambo “era n’okusiiba” mu kugoberera ebigambo bino, okwongera nti okugobera wabweru emizimu: “Ebyengeri ngeyo tebivengawo awatali kusaba na kusiiba” (Matayo 17:21). Bayibuli ezimu munaku zino ziteeka akawandiiko akalaga nti olunyiriri luno teluli mu biwandiiko eby’edda ebiwera. Naye okuba nti lwali mu biwandiiko ebiddiriddwa, kiraga nti mu mirembe mingi egy’ekkanisa abantu baategeera nnyo omulamwa gw’okusiiba. Tusaba nga tusiiba, era tuloopa obwesigwa bw’emitima gyaffe kubanga twagala eby’okuddamu okusinga emere. Mu kusiiba, omubiri gwonna gusaba. Mu kitabo ekiyitibwa Ne Yesu Musomero Ly'Okusaba (With Christ in the School of Prayer), Andrew Murray agamba nti:
“Okusiiba kuyamba okwolesa, okunyweza, n’okukakasa okusalawo kwaffe nti tulibetegefu okuwaayo ekitu kyona, n’okwewaayo ffe fennyini, okusobola okufuna bye tunoonya ku lw’obwakabaka bwa Katonda.”
Okusaba lutalo. Okusaba okumegana. Waliwo amaanyi agakontana n’emyoyo egikubagana. Bwetwanjula omusango gwafe mu kkooti ey’omu ggulu, n’omulabe waffe akikirirwa. Tulina okuwagula oluda olutuvuganya. Yesu yagamba nti, “Obwakabaka obw’omuggulu bubade bwakuwakanira, era ab’amaanyi bebabutwala” (Matayo 11:12). Mu kusiiba, Katonda ayongedde eky’okulwanyisa eky’amaanyi mu by’okulwanisa byaffe eby’omwoyo. Naye mu busiru oba mu butamanyi, abamu bakifudde eky’edda oba ekyagwako era eky’okulwanyisa EKyo ne kirekerwa okutalagira mu nsonda.
Okusiiba kuleeta eby’amaanyi eby’omu ggulu mu mbeera zaffe ez’obwetaavu. Kusumulula abasibe. “Sikwekuno okusiiba kwe nalonda: okusumulula enjengere ezobutali bwekanya n’okusumulula emiguwa ngy’ekikoliggo, okufula abanyigirizibwa abedembe, n’okumenya buli kikoliggo?” (Isaaya 58:6). Abantu basibiddwa nemize, emmere, omwenge, ebiddagaladdagala, okwegata mu kikolwa kya bafumbo, engigiriza ye bidinidini, obulogo, eby’emizimu, eby’obugagga, okutwaliriza obudde ne byokwekyakaza, empisa z’ennono, okukkiriza obunafu, amalala, obusungu, n’obukawu bw’omutima. Mu mbeera ng’ezo, enjiri yaffe eri mu bunafu? Nedda — naye bwe tuli.
Kisoboka okusonyiyibwa ebibi naye ng’okyetaagisa okusumululwa. Abakurisitaayo bonna balokolebwa okuva mu kusingisibwa omusango, naye si bonna nti basumululwa okuva mu manyi g’okukemebwa Kwe kibi. Simoni ow’e Samaliya, ng’ekyokulabirako, “yakkiriza n’abatizibwa, era n’agoberera Firipo buli we yagenda,” naye yagezaako okugula amaanyi g’omwoyo wa Katonda assobole naye okugabira abalala Omwoyo nebirabo bye. (Ebikolwa 8:13). Peetero yamugamba nti, “Kubanga ndaba ng’oli mukawu nnyo era osibiddwa mu kibi” (Ebikolwa 8:23). Okusonyiyibwa kirabo kyamukisa nnyo, naye si kitudutudu mu buwereza bwa Kurisito n’obubaka bwe. Yesu yayogera ku ngeri nnyingi ez’okulekebwa, nga mu lunyiriri luno olwettutumu: “Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubulira abaavu amawulire amalungi. Yantuma okulangirira abasibe eddembe n’abazibe bamaaso okuddamu okulaba, okuleka abanyigirizibwa okuba abedembe, n’okulangirira omwaka ogw’omukisa ogwa Mukama” (Lukka 4:18–19). Enjiri erina amaanyi okulokola, naye emirundi egimu tuba twetaaga okusiiba okufuna amaanyi ku kukemebwa, obulwadde, oba obusibe obwekika kyona ekirala.
Omugaso omulala ogw’okusiiba kwkufuna okubikkulirwa. Danyeri yazula obunnabbi bwa Yeremiya era yayagala okumanya enteekateeka ya Katonda. Yawandiika nti, “Nze Danyeri nategeera mu Byawandiikibwa, ng’ebigambo bya Mukama byeyawa Yeremiya nnabbi, nti okusaanawo kwa Yerusaalemi kwandimaze emyaka nsanvu. Ne nkyukira Mukama Katonda ne mmwegayirira mu kusaba n’okwegayirira, mu kusiiba, n’okwambala ebibukutu n’okwesiga evvu” (Danyeri 9:2–3). Emboozi ya Danyeri teyakoma awo: “Yandagira era n’aŋŋamba nti, ‘Danyeri, kaakano nzize okukuwa okutegeera n’okumanya’” (Danyeri 9:22). Guno gwe mutwe omukulu ennyo gwetujja okuddamu okunyonyolwa mu kitundu ekisembayo eky’essuul’eno.
Mu Yopa, petero yagenda ku kasolya kennyumba yomukulu eyali amusuziza okusaaba ku ssaawa mukaaga ez’emisana. Awo n’afuna okwolesebwa okw’amaanyi era okukulu ennyo okuva eri Katonda ng’olubuto lwe lukalu. “Nafuna enjala nawulira nga ayagala kulya; era nga emmere erimukutegekebwa, natwalibwa mu nsi ey'omwoyo” (Ebikolwa 10:10). Tewali kubuusabuusa nti enkyukakyuka eno mu enteekateeka ya Petero ey’okusaba yavaamu enkyukakyuka mu kugaziya ekkanisa y’Abakulisitaayo. Endowooza ya Peetero ey’Ekiyudaaya yatandiika okukyuka ng’alumwa enjala, ng’asaaba era ng’alindirira okulya.
Pawulo awandiika ku bumanyirivu bwe obw’obuntu mu 2 Abakkolinso essuula 11 ne 12. Kisoboka nti okusiiba kwe yajjuliza mu ssuula 11 kwali kwetegekera oba kwali kubeera obusobozi bw’okubikkulirwa okwawandiikibwa mu ssuula 12? “Manyi ng’enjala n’enyonta bwebiruma, era emirundi mingi mbawo kko nga siride meere” (2 Abakkolinso 11:27). “Nina okwelagamuko; wadde nga tewali kintu kyona kya kuganyulwa mu, njja kwogera ku kwolesebwa n’okubikkulirwa okuva eri Mukama” (2 Abakkolinso 12:1).
Tetumanyi bulungi ngeri Abaluumi bwe baali balisamu abasibe babwe e Patumo. Naye kisoboka okuteeberezebwa nti Yokaana yali tasiiba ku Patumo bwe yafuna “Okubikkulirwa kwa Yesu Kulisito.” Bwe tuba twetaaga ebyokudibwamu by’okusaba, bwe tuba twetaaga okubikkulirwa, bwe kirabika nti bye tukola tebimala kuleeta maanyi, okubeerawo n’amagezi ga Katonda mu mbeera zaffe, tuba tuyinza okuddayo mu ggwanika ly’ebyokulwanyisa ne tusangulako efufu kukyokulwanyisa kyafe kino ekikadde naye ekyesigika. Buli kye tuba twetaaga okuwaangula — ebisenge byebyo ebituyiganya oba enkuba y’emikisa — okusiiba kujja kubireta wansi.
Emize gy’okusiiba
Twetaga ekigambo ekipya oba eddoboozi okuva eri Mukama buli wiiki, naye okukola okusalawo okusiiba sikintu kyangu. N’olwekyo nze njagala okusalawo lumu n’okukiteeka mu nkola buli wiiki. Enkola ey’okusiiba olunaku lumu buli wiiki ekkola bulungi, kubanga sirina kuwakana na kusalawo, kulowooza, oba okulwana n’ensonga eyo buli mulundi. Enkola eno ennyamba okutunula mumaso kubuli lunaku lwenina okusiiba. Buli wiiki tusisinkana okusoomoozebwa n’ebizibu bye tusobola okusabira ku lunaku lw’okusiiba. Ebizibu bino biyinza okulabika nga si binene nnyo okuba nga byandituleetedde okubisiibira n’okubisabira, naye kubanga tuba twasiibye dda, tubikolera mu okusaba n’okusiiba. Mu ngeri endala, ebizibu byaffe biba bikolebwa n’ekyokulwanyisa eky’amaanyi okusinga bwetwadyejusiza nti singa kale tubade tusiiba n’okusaba bulijjo. Okusiiba buli wiiki kituwa obuvumu nti okusiiba okumala ebbanga eddene kusoboka.
Mu mwezi gwa Janwali mu mwaka gwa 1965, nga ndi mu mwaka gwange ogwokusatu mu ssomero lya Bayibuli, natandiika okusiiba ennaku ssatu ku ntandiikwa ya buli mwaka. Okuv’olwo, yafuuka ekola yange eya’buli mwaka eyokwewayo okwagala n’okunonya Katonda. Buli mwaka twetaaga okulungamizibwa okupya n’okutegeera okupya. Olusooka lwabuli mwaka, buli muntu ategeera nti obudde buyita n’okubikulirwa kw’ebiseera ebituli mu maso. Katonda aba buyambi bulijjo mu biseera ebyetaagisa, n’olwekyo okudda gy’ali mu bujjuvu ku ntandiikwa y’omwaka kirabika nga kikwatibwako era nga kya mwoyo okukikola. Kitufu nti ebiseera by’okusiiba by’ongera ku busobozi bw’okusaba okubeera okw’amaanyi era okw’okutunuulira. Naye era kituwa omugaso omulala ogwekanakana kubanga kutuyamba okuwulira bulijjo by’aba tugamba singa tuba tumukiriza.
Okusiiba bulijjo kola etuteekateeka eri mu okusiiba okuwanvu singa kuba kwetagisiza — okulongosa omwoya Obumanyirivu bw’okuwangula mu kusiiba okwa bulijjo okumpimpi kutuyamba okutegeera nti okusiiba si kubi nga bwe kulowozebwa. Emyoyo gyafe giyiga okusa omuwedo mu bunafu emibiri gyafe gyegiyitamu mu kaseera akatono. Ebinwa bifuuka byamanyi olw’okugezesebwa; era n’emibiri gyaffe giyiga okwetereza mu biseera ebitalimu kulya. Ng’emyoyo gyaffe gigenda ginyweza okusalawo munda yaffe, emibiri gyaffe giyiga okubeerako nga tegirina mmere. Emyoyo gyafe giyiga okusiima emigaso egiva munkolagana y’okubera okumpi ne Katonda ekulira mu biseera by’okusiiba. Okusoomoozebwa okunene n’ebeera ekkakali bwesituka, tuba betegefu, — tuli bakakamu, bamalirivu era tetumala gatisibwatisibwa. Tuba betegefu okusiiba okumala akaseera akanene Mu 1979, ebizibu by’okuddukanya emirimu mu kkanisa yaffe mu Korea byeyongera nnyo. Mu kiseera ekyo, nnali nakamaliriza okusiiba ennaku essatu egyabuli mwaka, era nnali mwetegefu okusiiba okumala embagga edene elya wiki enamba. Okusiiba okwa wiiki eyo kwampa obuvumu kuba oluvanyuma lwemyezi egiwera, nnali mwetegefu okuteekateeka okusiiba okumala ennaku ana (40). Obuvumu bwange bweyongera olw’obumanyirivu.
Ebizibu by’Omubiri
Waliwo endowooza ekyamu nyingi okusiiba kyekuyinza okukosa emibiri gyafe. Okusiiba sikukalubo ku mubiri omulamu — kulungi gye tuli. Emibiri gyaffe gitereka amasavu agamala okutuyamba okubeerawo nga tetulidde okumala wiiki eziwera nga tewali buzibu bwonna. Nay’era, empewo, amazzi, n’okwebaka byetaagisa mu bulamu bw’omubiri okusinga emmere. Amasavu n’obutafali bw’omubiri obukaddiye bulibwawo nga omubiri gukozesa emere gyeguterese mu “kyangi.” Engamiya zisobola okubeera ennaku nnyingi mu ddungu nga tezirina mazzi. Abantu basobola okubeera ennaku nnyingi nga tebaliidde. Kisinziira ku muntu, naye oluvannyuma lw’ennaku 21 okutuuka ku 40 oba okusingawo, omubiri guba gumaze okukozesa amasavu era gutandiika okufa enjala. Yesu naye yawulira enjala oluvannyuma lw’okusiiba kwe.
Bangi ku ffe mu nsi ez’Ebugwanjuba tetumanyi bulumi bwa njjala. Abazadde baffe bafuba nnyo okulaba nga tulya bulungi. Bwe tutandiika okusiiba, emibiri gyaffe egirabiridwa obulungi gitandiika okutulaga obubonero bw’obutali butebekenvu. Kino si kintu kirala wabula kwe kuwona kw’omubiri okwava mu myaka mingi egy’ennono z’okulya. Katonda ayagala tufeyo nnyo eri emibiri gyaffe n’obulamu bwaffe tayinza kutwagaza oba kutukubiriza okukola ekintu ekituviirako akabi. Okusiiba kufaanana nga “okulongoosa kw’obutonde” mu mibiri gyaffe. Emirundi mingi emibiri gyaffe gigaba emyoyo gyaffe nti, “Nz’afuga wano, era njagala kulya.” Okusiiba guba mwaganya gwa myoyo gyaffe okuddamu nti, “Nze afuga, era njagala okweyongera okutuusa lwe nkugaana.” Waliwo bingi ebibawo mu kusiiba okusuka “kubirowozo ku songa,” naye esonga eri kitundutundu ku kyukakyuka. Bwe tuba nga twagala emmere okusinga okukula mu by’omwoyo, tulyenga. Naye bwe tuba nga twagala okukula mu by’omwoyo okusinga emmere, omubiri tugumme emere era tulabe emyoyo gyaffe nga gikuula. Tulina okulondawo okulya oba obutalya nga nendaba ey’omwoyo mu birowoozo byafe, si kumala galya kubanga tuli mu mpisa yakulya.
Katonda ayagala abaana be babeere balamu mu mibiri gyabwe; okutabuliza obulamu ngo sinziira ku Bayibuli kikukuuma ng’oli mulamu bulungi. Tekirina kutwewunyisa nti okusiiba kugata ku bulamu obulungi, so si kubuziyizza. Kisobokera ddala nti omubiri gufunamu obulamu okuva mu kikolwa ky’okusiiba, era Katonda awonya omubiri ng’ansinzira ku ssaala esabibwa n’obulabulukufu mu kusiiba. Bino byombi bisoboka, era bisobora okuleetera Katonda ekitiibwa.
Endagaano Enkadde etubulira ku Munamawanga eyawonyezebwa mubunafu bwe oluvannyuma lw’ennaku ssatu ezokulumwa enjala. Omuddu ono Omumalaki omulwade yali asulidwawo mukama we . Oluvanyuma lwe naku satu, Dawudi n’ebassaja be bwe bamusanga ne bamuliisa, yadizibwa bujja, yafun’amanyi era nga ategera bulungi era asobola okuuebela basajja ba Dawudi eri ekibijja ky’Abamalaki abaali bakubiddwa. Ennaku ssatu nga talidde wadde okunywa zamuwonya. Oyizza okuba nga wawulira ekigambo ekigamba nti, “lya emere ofune amanyi oba siiba okuwonya omusunja.” bameka ku ffe abadyagade okuba n’omusujja? Arthur Wallis mu Okusiiba Katonda Kweyelodede (God’s Chosen Fast) okusinzira ku ddokita w’Abamisiri ow’edda eyagamba nti abantu baba balamu olwebyo bye balya ekitundu kimu ku kya kuna ku mmere gye balya, era abasawo bafun’okuwumula. Kisoboka okuba nti ebirwadde ebimu ebiva mu kulya ennyo bisobola okuwonyezebwa nga abantu bafuga obulungi eby’okulya byabwe, ate ebirala bisobola okuwonyezebwa okuyita mu kusiiba?
Okusiiba nkola oba muzze ogwokulongosa — mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. Twakiraba nti amalala gakwatagana no kubeera nebingi nokwemanya. Mu kiseera ky’okusiiba, omwoyo ayawulibwako a malala, okwesalirawo, okwetongola, okwemalirira, n’obukoodo. Mu kiseera kye kimu, omubiri gwawulibwako amasavu agasuse, ebinywa ebivunda, n’ebirala ebitagasa mubiri. Mu kiseera ky’okusiiba, omubiri teguba mukuwesa mmere mpya, wabula kujawo byonna ebitalina mugaso. Obutali butebekevu omubiri gwafe bwe guwulira mu kiseera kino, kuba kulongoosebwa kwannyumba olw’obulamu obulungi ekiyamba ne kulususu, akamwa, amawugwe, esiggo, ekibumba, n’amasowani. Akawowo akava mu kamwa, olulimi olulabika obubi nebikyafu, n’okwewulira obubi mu kamwa ko’muntu — byonna biba kitundu ku nkola y’okulongoosebwa.
Oluvannyuma lw’emitendera egyasooka egy’okusiiba, n’omubiri nga guyize okubawo awatali emmere, okusiiba okw’ebbanga eddene kuleeta amaaso amatanganvu, ebirowoozo ebirungi, okusa okulungi, olususu olunyirila, n’omwoyo ogw’amaanyi. Kututeekateeka okufuna okumanya okusukulumye mu kutegera Kwe bya wandiikibwa Ebitukuvu. Ekigambo kino kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako ekiyitibwa “Enkola ya Katonda ey’Okuyigiriza Omuntu–Omuntu.”
Mu nkola ey’okusatu, twayiga nti okwewala kyayi wa kawa, n’emmere ewomerera ennyo (sukaali) kuyamba nnyo okukendeeza oba okuggyawo obulumi bw’omutwe obuva mu kusiiba. Batono nnyo abayinza kwogera nti Okusiiba kusanyusa. Naye okwefuga mu biseera by’okulya kigederevu kikendeza engeri enkakali ey’okusiiba. Mazima waliwo akabonero k’obutali butebekevu mu mubiri, naye era kano kayamba nnyo okutujjukiza nti tuli mu mulimu gwa kusaba. Kiyamba okussa essira ku kusaba n’okusoma Bayibuli.
Mu kiseera ky’okusiiba, omusaayi n’amaanyi g’omubiri tebiba nnyo kumulimu gwa kutambuza mere eri ekibumba ekiyaba ku kukola ekirungo ekigatibwa mu mere okugeda mu mubiri gwona wabula biteeka essiira ku bwongo bwaffe. Kino kiwa edembe omusaayi n’amaanyi okukola mu bwongo. Okussa essira ku kusaba kuba kwangu, ebirowoozo biba bitangaavu, n’Ebyawandiiko Ebitukuvu biba nga biri biramu nnyo.
Katonda assanyukira nnyo ebikwatibwako okusinga era tayagala kisuse kugenda wala. Taatutegeka kukola bintu ebisukka oba ebikyamu. Bweguba ng’omubiri gwo simulamu bulungi, tosiiba. Katonda tayagala kuzikiriza mibiri gyaffe. Bw’oba n’obuzibu mu by’obulamu, okusiiba okw’ekitundu kuyinza okuba kwewetaaga. Ebagga nga lya myaka mukaaga, nnayagala okusiiba naye nnali sisobola olw’obulwadde bw’omumiro gwange. Katonda tatusaba kyetutasobola kukola, naye nnasanyuka nnyo bwe nnakizuula nti ndi mulamu era nasobola okuddamu okusiiba.
Ekisinga Obukulu
Okusiiba okumala ebbanga eddene guba mukisa mukulu nnyo. Okusiiba okumala akaseera akatono kituteekateeka okukol’ebyo. Waliwo abasumba, abagoberezi, n’amakanisa agamu abasiiba okumala ebbanga eddene buli mwaka kubanga bakiraba nti kuleeta ebirungi — ekintu abamu ku ffe kyetwayiga n’obumanyirivu bwaffe.
Mu mwaka gwa 1978, twadda e Korea omulundi gwaffe ogw’okubiri ng’abamisani. Nnaweebwa obuvunaanyizibwa bwokubeera ssentebe w’akakiiko k’eggwanga n’omuwabuzi omukulu w’omulimu, naye obukulu bwo “muwabuzi omukulu ow’ekiseera.” Abakorea baalaba nga kino nga ekifo ekinafu. Ekirala okwolesebwa kwange kwali kukubiriza basumba abato be twali tutendese mu ssomero lyaffe elya Bayibuli okutandiika amakanisa amapya. Mu myezi mitono gyokka, kyeyoleka nti endowooza yange yali mu kukotana n’endowooza nakakudi akalala mu kibiina kyaffe. Bbo baayagalanga okussa amaanyi n’ensimbi mu kkanisa emu ennene ey’omu makkati.
Oluvannyumalw’ekyo, ebijjogerwako ebibi mu baluwa nga zisidwako emikono butya bwezirukanya mu obukulembeze bwange abantu abasoba mu 300 byatuuka ku kitebe kye kibiina kyaffe mu Amerika. Awo ne mmanya nti okuva ku juyi zobi eza ssemayanja wa Pasifiki, nnali nganidwa nekola ekyali waggulu ennyo ku buyinza bwange kyekitongole nga esuse kwekyo kyesobola okufuga. Abasumba abato omulamwa gwabwe gwennali njagala okuwereza, ekyagu Salina manyi gabyabufuzi gamala. Ekintu kyoka kyenali nina okukola kyali kwekubira ndulu mu koti ekulu — koti y’oMugulu. Kyaneyoleka bulungi nnyo nti abantu abalungi era abesibu bali bafunye bubi.
Olw’obumanyirivu bwe nnali nafuna edda mu kusiiba n’okusaba, ne nsalawo okutandiika okusiiba ne saba okwogezebwayo akade. Emabegako emyaka egiwera, twali tusasudde ddoola 700 akayumba akatono ennyo akokuwumuliramu akali kazibidwa kulusozi yunivasiti gye bali bawade lizi yolusozi eri abamisani. Eno famire yaffe gye yadukiranga olwo musana omungi era n’okuwumulako wiki entonotono mu mwezi gwo munana buli mwaka. Oluvanyuma lwokuzuula nti ndi mu katyabaga akamanyi, era olwe ndagaano ya Char, nagenda mu kayumba ako nesiiba enakku anna (4)
Enteekateeka ya Katonda ey’Okutendekera Omuntu mw’ebyo Byayitamu
Erinnya ly’akanyumba kafe ak’okulusozi kali kayitibwa Charon, erinnya eriva mu kugatta erinnya lya Char n’erinnya lyange. Akatabo kempandiika mu ebitu ebikulu byemba mpisemu mu bulamu bwange, nadala kulupapula olusokera ddala ebiyinza okukola amakulu mukugabana obumanyirivu bwange buno. Ebikwata ku kkanisa ye Korea bikwatagana n’ekibiina ky’ekkanisa kye nnakoleramu. Amannya g’abantu agali mu kitabo kino si mannya gaabwe amatufu.
Charon, Chiri San, omwezi gw’okutano mu 1979 Saawa 2:10 ez’ekiro, ku lunaku olusooka olw’okusiibira ennaku 40. Nali nenteegekede okumala wiiki ssatu era nga mmaze wiiki nnya nga ntegeera nti nali nyanirizibwa Kitange ow’omu ggulu okulopa omusango gwange mu kkooti esukulumu. Newakubade omukono gw’abuntu (munsi ng'eno kitongole kyange) kisobola okuvamu, Ye Katonda tasobola kundeka. Era nga ndi mu Hong Kong, wiki nnya on’olunaku lumu emabega ko, nzikiriza Yandaga nti sisobola kwesigama ku Jeff [omukulembeze w’emirimu gy’obumisani] okumpa edembe lyange oba ekanisa ye Korea okuva eri obusibe bwabo abali batukulebeera beyalimu, naye nalina okutwala omusango gwange mu kooti ensukulumu kati kye nenteegekede okukola
Mu kubo lyange okugenda ku tiko yo lusozi , nali musanyufu nnyo okulowooza nti enkya okuwulira omusango omuludi ogusooka kuyinza okutandiika, era nga ne kkooti eya waggulu Mugulu nayo etudde okuwulira, nja kusobola okutwala omusango gwange eri Omulamuzi Omutuukirivu era nsuubire okuterezebwa kw’obwenkanya bwange obutali bugenderevu okukyamu era okuwonyezebwa kw’ekkanisa gye njagala ennyo okulaba nga etereedwa mudembe lyayo n’eyongera okukula nga bwe lina, bwetekwa era mukukiriza enggya.
Nga nongoosa a kayumba kafe kali akatono ku lusozi, ebintu ebijude efufu, n’okulongosa amadinisa, nasanyuka nnyo muli okutegeera nti kya mukisa nnyo okuba nga ndi nzekka ne Katonda mu nnaku ezo esatu. Omukumi wekifo yajja nayunga emiwatwa gy’amazzi era n’aŋŋamba nti mukazi we yali aweredwa obudde bwalina okufiramu olw’obulwade bwakkookolo we kibumba (liver cancer). Katonda bw’aba ayagala okumuwonya, nja kwetegeka okusaba, naye bwekiba nga sibwekiri, nzikiriza okusigala nga ndabirira ekifo kino nga bwamutwala wansi mu kiwonvu okuba nabomumaka ge okutuusa lw’alifa. Nsobola okulabirira ebintu wano ne mulekela edembe lye okugenda bwaba ayagala.
Emese enamusizako mututu lyalero nge eringa egamba nti, “Ha! Tulin’omugwira ayingira munda — era mazima ddala asitude efufu n’akuba enfuufu buli wamu era akola kerere mpitirivu.” ndi wakutekawo obumasu era ngifune ekya.
Mu nnaku zonna 40 ez’okusiiba kuno, nnawulira nga abali feka babiri ne Katonda ku lusozi. Nali musanyufu nnyo nti nasobola bulijjo okutwala obudde okumanya biki e byali wo mu buli lunaku n’ebyo bye nnayiga. Olw’ekifo ekitono, sisobola kubategeeza byonna, naye nnaagabana mu bitundutundu wano ne mu ssuula eddako. Ekigendererwa kyange kwe kubalaga ebyokulabirako okuva mu bumanyirivu bwange nti okusiiba n’okusaba si ku teeka Katonda kuninga okukola ekintu kyono, wabula era kaba kadde kakuyiga. Nsobola okujulira, ng’abalala, nti mu kusiiba embera yakyuka olw’obulungi. Naye era nze nakyuka nnyo okusinga embeera bwe yakyuka.
Enakku tono nnyo mu song’eno, nakizula nti mu ngeri ey’obuziba obukulu bw’okulekera Katonda okuba nenteekateeka yonna.
Ku lunaku olwo 5 (olw’omukaaga, omwezi ogw’okutaano nga 12), nawandiika nti:
Nnakomebwako nnyo mu kusoma mungeri endala mu kusiiba n’okusaba okwo ,birin’okutandiikira ku Katonda. Katonda addamu okusaba kwaffe? Oba Katonda atuyisizamu okusaba olwebyo by’ayagala okukola n’aleetera okusaba mungeri Ye olwebyo byayagala okukola olwo nalyoka akola nga bweyali akitegese mu kusooka? Nzikiriza nti byombi bitufu, naye eky’oluvanyuma kiyinza okwetaaga okunyonyolwa ennyo. Kale, ndi mumatiivu nti kino Mukama kyatade ku mutima gwange. Era mbade mannyi obwetavu bwokubeera omwegendereza ng’ osaba ogoberera okulungamizibwa kwe. Yensonga Lwaki okuwandiika ebintu bino buli lunaku kikulu, kubanga mu buli songa yona, ensonga z’okusabira ziba ziwereddwa Mwoyo wa Katonda.
Kati, kulwebyo ebyogedwa, olwaleero nasabye omulundi ogusooka mu kusiiba kuno ku lwo kusumululwa kw’Ekkanisa ya Korea okuva mu busibe bwabo abagikulebera bweyitamu olw’endowooza ez’abantu abamu ku kakiiko kabajikulebera. Nga sirina bubi eri muntu yenna ku lukiiko olwo, nga saba bwe kkulukusa amazziga mu maaso gange, nti ekkanisa etebwe. Mukukatiriza, omlundi ogumu nasaba nti ekkanisa yaffe esumululwe okuva mu kusooba, okusibwa, n’okukugira omusumba Bwana Park, era nti mu ngeri ya Katonda, okusumululwa kungi kuberewo. Era nasabye nti Katonda atuwe ffe ffena okugumiikiriza okutuusa ng’okusumulula kwe kuzze. Kino si kya kukendeeza kusaba Mukama kwa tulungamya mu nnaku ezisooka ennya, naye nzikiriza nti okusaba okw’olunaku olwo 5 kwe kukuba kw’omutima mukusiiba kuno. Kino kye mpulira mu kaseera kano, naye mazima Omwoyo Omutukuvu yali mumitabo gye naku 35 ezisigaddeyo, si nze. At’era nze amazima ddala ndubirirwa okusaba ku kuswazibwa, okunyolwa kw’omutima, okukula, n’okukuzibwa kwange. Wakyaliwo obudde bungi. Ha!
ssebye emirundi ebiri olwaleero. Okusoka nga nebaza Katonda olw’amazzi amalungi ne nyongerako nti — “ebyo byokka bye nneetaaga.” Mm!
Mutendera ku mutendera, buziba era buziba nawaguza mpaka ku mazima munda.
Ku lunaku olwe 10 (olunaku olw’okuna, omwezi ogw’okutaano nga 17), nawandiika nti:
Nnasalawo nti, ku mutendera ogusinga okutegeerekeka, Katonda yetaaga okuba mu bukulembeze bw’ensonga z’okusaba — si nga yali tabaddemu, naye nnatuuka ku mutendera nga maze okuwandiika n’okusaba ku bintu byonna bye nnali mmanyi okusabira, era nnali njagala okutandiikirawo okusaba ku bintu bye nnali simanyi. Nga bwe nnali nnayogeddeko mu katabo kange mwempandiika ebyesonga, okusaba kwa buli lunaku kwali kukulebedwa Omwoyo Omutukuvu, naye obudde bwatuuka okubaako ekitundu kye nnyingiramu mu bitamanyiddwa. Kale nnakkiriza nti nalina okusoma Bayibuli okusinga era ne nva ku kusoma ebitabo ebirala ku lunaku olwo.
Oluvannyuma lw’okusoma olusoma lwange olwa bulijjo (kaakano ndi mu Kitabo ky’Okubala era mu kiseera kye kimu nsoma Zabuli ttaano ne ssuula emu ey’Engero buli lunaku okumala ennaku 30), nasomako Abefeso, Abafilipi, n’Abakkolosaayi.
Nnywezeddwa nnyo okutegeera nti Katonda ayinza okukola ebisingawo ennyo bye tuyinza okulowooza — era nti tuteekwa okusigala nga tusaba era nga tusaba ebintu byonna ebikwatagana n’okusalawo kw’Omwoyo Omutukuvu. (Ebirowoozo bino byonna bisatu nabifuna mu kusoma Bayibuli okw’enjawulo.)
Natandiika okusaba okutuukiriza okwolesebwa kwange okw’ekkanisa mu bibuga ebikulu okutuuka ku bitundu ebyetoolodde. Mu ttuntu lyalero nasomye Abakkolinso era ne neeyongera okusaba okwolesebwa okwange okutuukirira — nga mulimu nesonga nti nsobole okutuukiriza nga mmaliriza omulimu gwange ogw’obumisani nga nze omuntu. Nali mumenyefu mukaseera ako era ne nfuna okusumululwa okw’amazima okusaba n’okukaaba ku by’okutuukirizibwa kwange.
(Nnandifunye wo akabonero singa Jeff yangamba nti ayinza okusindiika omuntu omulala okuba omukubiriza. Twandiigenze e wa Sawulo, naye omwoyo gwange gukyagenda mumaso okuwulira obuvunaanyizibwa okukkiriza Katonda era okusaba okusumululwa kw’ekkanisa eno, era siwulira nga nina okukol’eky’okulekera omuntu mulala okuwanirira ebizibu Ebyo!)
Omubiri gwange gubadde munafu nnyo olwaleero, era omunyogovu, nasigade munda awali omuliro. Sandiitadde mubiri gwange mu buzibu buno singa nnali sikiriza nti nnina obuvunaanyizibwa era nga njagala nnyo okulaba obuwanguzi bwa Katonda mu ggwanga lino! (Awo wenamenyekera ne nkaaba, kuba amazima nawulira okusiiba kwolunaku olwo.) Kaakano mpulira bulungi, era nsobola okugamba nti wadde olwaleero lubadde lunaku lukalubo, nzikiriza nti lubadde lunaku lulungi era Katonda ali mu kuwuliriza. Mutendereza!
Mu kusomezebwa kw’Omwoyo Omutukuvu okw’enjawulo, nnali ngiga okusaba ku mutendera ogwawagulu okusiziira ku kwagala kwa Katonda. Okubikkulirwa butya bwenina okusaba yatandiika okuva eyokwegendereza. emyaka gino gyonna egyayise oluvanyuma lwo kusiiba okwo 1979, nsobola okulaba nti Mukama kye yannungamya okusabira mu kusiiba kye kyatuukirira ennyo mu myezi n’emyaka egyaddirira. Mu bugenderevu, singa sali mukubiriza, lwaki nze okugenda mumitawan’ejjo jona okugezako okuba owobuvunanyizibwa bwesalina mu buyinza kukola ku mutendera gw’obuntu?
Ku lunaku olwe 14 (Balaza, omwezi ogw’okutaano nga 21), nawandiika bino mu bujjuvu ku nsong’eno:
Mu ngeri esikiriza era ng’ayita mu Kigambo Kye, nzikiriza nti Katonda andaze okulaga nti nja kweyongera okuba owobuvunaanyizibwa ku mulimu guno wano mu Korea, era emu ku songa lwaki nsaba n’obuvumu nga nsinzira kwekyo. Kino kirabika nga ekikakasa kyeyayogera okuwandiika mu bbaluwa eya Jeff nga wayiseewo kumpi wiiki emu. Bwekiti bwekyatukawo:
… Bwe nnali neyongera okusaba okw’okutuukiriza enkola y’Endagaano Empya mu kkanisa yaffe mu malya ge kyemisana, okusaba kwange kwagenda kukendeera. Kuno kwali ng’okusaba okutalungamiziddwa Mwoyo Omutukuvu, era samanya oba sigale nga nsaba, nnidde, mpulirize, oba kole ki. (Mazima ddala nneeyama okusaba kwebyo byokka Mukama by’akulembedde mu era byanungamya mu — ye yalina esonga, si nze. Ye yayita olukiiko luno olw’eby’ensonga eno, si nze. Nzikiriza ddala nti bwekityo bwe kirina okuba, era bwe kibanga wano.) Naye oluvannyuma nnasalawo okutambulira mu Bayibuli mu ngeri ya butanwa, ndabe Katonda ky’ayinza okunjogerako — omuze gwe nnali kozesa, era nga kumpi tegwabanga na bivaamu. Naye ku lunaku luno, ebiwandiiko bisatu byakwatagana nnyo ku mbeera yange, ate ebirala byali tebikwatagana nange.
Ekisooka kyali mu Kitabo kya Luusi, kye nasoma kyonna okuva ku ntandiikwa okutuuka ku nkomerero. Ekigambo “Luusi” mu lulimi lw’Abachaina kiwandiikibwa mungeri yemu ng’eriinya lyange mu Lukorea. Nawulira nga nze Luusi. Ebintu ebyetaagibwa okutegerezebwa byali bino: yali munnansi mulala, yafuna ekisa, era yavaamu ebibala. Bwe yayingira mu bufumbo ne Bowazi, abantu baamusabira okuba omukazi ow’ebibala nga Leeya ne Laakeli.
Ekitundu eky’okubiri kyali 1Samwiri 11, awali Sawulo yakola ekituufu n’ayamba okutaasa Yabesi-omugiriyaadi era n’awangula Abamwoni n’obuwanguzi obunene. Olw’ekyo, nakakasibwa nga ye kabaka. Nze nnalodebwa ngo “ow’ekiseera,” naye okudamu okakasibwa obuggya kuyinza okukyus’ekyo. Essuula eyo ekoma n’egamba nti, “Yisirayiri yonna yasanyuka nnyo.”
Ekitundu ekyokusatu kyali mu 2Ebyomumirembe. Kitandiika nti:
“Solemani mutabani wa Kabaka Dawudi yali kaakano mukulembeze wa Yisirayiri atalina avuganyizibwa, kubanga Mukama Katonda we yali amufuude kabaka ow’amaanyi.” (2Ebyomumirembe 1:1, Living Bible).
Essuula eyo yeeyongera okulaga Katonda bwe yasiima Solemani olw’okusaba amagezi okukulembera obulungi, era Mukama yanzijjukiza ennaku ntono emabega, nga bwenasaba nti, “Ssaagala tutumu, ssaagala ssente oba ebintu eby’obugagga; njagala amagezi okukola obulungi mu mulimu gw’ekkanisa, era njagala omukisa gwo mu kkanisa eno ne ku kkanisa eno yona.” Nzikiriza nti Katonda afunye okusaba okwo era kaakano afukako amafuta era anjawula ku lw’omulimu guno. Kyetowaza okuba nti nali nganidwa wano abantu nga Jeff, Ann, n’eba Park, naye wakiri mba n'amafuta ga Katonda era n’okwawulibwakwe okusinga okw’abantu. Bwe nninda n’obugumiikiriza, n’okw’abantu kujja-kkujja.
Mu ssuula ejja, tujja kwetegereza engeri Katonda gy’akozesa emitawana okutukulaakulanya. Ojja kusoma ebirala ku masomo ge nayiga mu mitawana gyange egisinga obunene. Naye nga tetunnagenda eyo, kikulu okwetegereza nti natandiika okusiiba ennaku 40 nga ntegeezeddwa nti waliwo omuddukanya omulala ayinza okusindiikibwa okudda mu kifo kyange mu Korea. Mu kusiiba okwo, nagezaako okusaba nga ngoberera eteekateeka ya Katonda. Katonda yandaga nti njakusigala nga ndi omukubiriza era avaamu ebibala era omugwira. Ekitongole kyange kyandaga ekintu ekimu (okwetegeka okukyusibwa ekifo), naye mu mwoyo gwange nawulira nga waliwo enteekateeka endala (okubeera mu kifo ekyo). Ndi nzekka ne Katonda, nasiiba era nesaba nga ngoberera kye nawuli ng’esibuko y’obwakatonda kye yali egamba. Enteekateeka ya Katonda yali ya njawulo ku ya bantu, naye mu nkomerero, enteekateeka ya Katonda y’eyatuukirizibwa. Nebuza muli n’okulowooza ku bintu orwebyandibadde bibaawo ku nze ne ku kkanisa ya Korea singa nasaba nga ngoberera enteekateeka ya bantu.Mu myezi egyaddirira, tewali mukubiriza mulala yasindiikibwa. Natikkibwa mu butongole okuba omukubiriza w’omulimu gwonna mu Korea. Twayongera okumala emyaka musanvu emirala nga tukola emirimu egy’obuvunaanyizibwa, okuyigiriza n’okutandiika amakanisa mu buwanguzi, okutuusa lwe twakwasa omulimu banasi bakorea be twakolagananga nabo, ne tudda mu Amerika.Singa nnali simanyidde kusiiba n’okusaba buli kiseera, nnandiibadde sinsobola kusiiba nnaku 40 olw’obuddukiro bw’ekkanisa yaffe mu Korea. Era singa tekwali kusiib’okwo, nzikiriza nti nnandiibadde sisobola kufuna okumenyeka kw’omwoyo okw’omunda. Mu kusiba okwo, nafuna obuvumu obw’amaanyi nti Katonda asobola era ayagala okukola mu mbeera zange singa ssida mu kubo Lye. Era njagala okukkiriza nti okusiiba n’okusaba kwange kwalina omugaso omutono no kuwonawo n’okukula kw’ekkanisa mu myaka egyaddirira. Oboolyawo kwakola okukula n’obulamu obulungi ekkanisa by’ensobola okunyumirwa mu myaka okuva fe abamisani lwe twagivaamu ne tugirekera abakulembeze bayo. Kaakano balina n’essomero lya diguli mu bya Bayibuli erikakasiddwa, mu kitundu ekinene olw’okulabira ewala kwa Rev. Park. Njagala nnyo okulaga obulungi bw’okusiiba engeri nje kuyambamu mu kusaba. Awatali kubusabusa, tewali nsonga ndala eyandiibadde empalirizza okubikula omutima gwange era kuwandiikire ebikwatako gy’oli. Ebizibu n’ebirungi bye nawandiika mu katabo kange ak’esonga zange mu wiiki omukaaga ezo ez’ekitiibwa naye nga za buzibu ku Lusozi lwa Chiri biraga ebyali bigenda mu maaso nga ntudde ku bigere bya Yesu ne manya okuva gy’ali nenkola Ze .Okumala emyaka 22, tewali gwe nali ngambye ku kusiiba kwange. Mu mwezi gw’okusatu 2001, omu ku bayizi bange mu Doctor of Ministry, eyakiririzanga mu kusiiba era nga yenyigira mu kusiiba, yankubiriza okugabana ku kusiiba kwange. Yanzinjjukiza nti abayigirizwa ba Yesu baamanyi nti Yesu yasiiba — alina okuba nga yabagamba. Olwo ne ntegeera nti — abasomesa bagabana ebintu eby’omunda n’abayizi baabwe kubanga bayigiriza, si kubanga beelaga. Si kigendererwa kyange okubuulira ku kusiiba kwange kyokka. Ekigendererwa kyange kwe kukozesa okusiiba kwange okulaga amagezi, okukula kw’omuntu n’okuddamu okusaba okusiiba kwe kusobozesa. Mu myaka egiyise, wabadewo amaloboozi matono nnyo agogera ku nsonga eno. Teka kumizani owewe by’osoma wano, obigeraageranye n’ebisuubizo n’enyiriri z’ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Oboolyawo ojja kwagala okuyingira mu mikisa emipya egy’obuweereza egisobozesebwa mu mpisa eno. Ani amanyi buwanguzi ki obutulindiride? Awatali mitawana gitutwala mu kusiiba, nnandiibadde sisobola kuggulawo ndowooza mpya ey’enjawulo ennyo gye nnali nfunye ku nkomerero y’okusiiba. Kino kitutwala ku mboozi yaffe mu ssuula edako ku ngeri Katonda gy’ateekateeka era gy’akozesa mu emitawana mu bulamu bwaffe olw’obulungi bwaffe n’olw’ekitiibwa Kye. Essuula edako gugenda kubeera mugate guno.
